Yesu Alongoosa Yeekaalu
OLUGERO 89
Yesu Alongoosa Yeekaalu
WANO Yesu alabika nga munyiivu nnyo, si bwe kiri? Omanyi lwaki munyiivu? Lwa kuba abasajja bano abali mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi ba mululu nnyo. Bagezaako okufuna amagoba mangi okuva ku bantu abazze wano okusinza Katonda.
Ente ennume ezo zonna n’endiga era n’amayiba obiraba? Abasajja bano batundira wano mu yeekaalu ebisolo ebyo. Omanyi lwaki? Lwa kuba Abaisiraeri beetaaga ebisolo n’ebinyonyi eby’okuwaayo nga ssaddaaka eri Katonda.
Amateeka ga Katonda gaali gagamba nti Omuisiraeri bwe yasobyanga, yalinanga okuwaayo ekiweebwayo eri Katonda. Era waaliwo ebiseera ebirala Abaisiraeri bwe baalinanga okuwaayo ebiweebwayo. Naye Omuisiraeri yandiggye wa ebinyonyi n’ebisolo eby’okuwaayo eri Katonda?
Abaisiraeri abamu baalina ebinyonyi n’ebisolo. Bwe kityo baali basobola okubiwaayo. Naye Abaisiraeri bangi tebaalina bisolo wadde ebinyonyi. Ate abalala baabeeranga wala okuva e Yerusaalemi nga tebasobola kuleeta bisolo byabwe ku yeekaalu. N’olwekyo abantu bajjanga ne bagula wano ebisolo oba ebinyonyi bye beetaaga. Naye abasajja bano baasabanga abantu ssente nnyingi nnyo. Baali babba abantu. Ng’oggyeko ekyo, tebasaanidde kutundira wano mu yeekaalu ya Katonda.
Kino kye kinyiiza Yesu. N’olwekyo avuunika emmeeza zaabwe eziriko ssente era ssente zaabwe zigwa wansi. Era, akola embooko okuva mu miguwa n’agoba ebisolo byonna okuva mu yeekaalu. Alagira abasajja abatunda amayiba: ‘Mugafulumye ! Mulekere awo okufuula ennyumba ya Kitange ekifo eky’okukoleramu amagoba.’
Abamu ku bagoberezi ba Yesu bali naye wano mu yeekaalu e Yerusaalemi. Beewuunya okulaba Yesu ky’akola. Awo ne bajjukira ekyawandiikibwa mu Baibuli ekyogera kiti ku Mwana wa Katonda: ‘Okwagala ennyumba ya Katonda kulibeera ng’omuliro mu ye.’
Nga Yesu ali ku mbaga ey’Okuyitako wano mu Yerusaalemi, akola eby’amagero bingi nnyo. Oluvannyuma, Yesu ava mu Buyudaaya n’atandika olugendo lwe okuddayo e Ggaliraaya. Naye ng’addayo, ayita mu ssaza ly’e Samaliya. Ka tulabe ekibaawo ng’ali eyo.