Engeri Musa Omuto gye Yawonyezebwamu
OLUGERO 28
Engeri Musa Omuto gye Yawonyezebwamu
LABA omwana omuto akaaba, era akutte ku lugalo lw’omukazi. Ono ye Musa. Omukazi oyo alabika obulungi omanyi y’ani? Mumbejja w’e Misiri, muwala wa Falaawo.
Maama wa Musa yakweka omwana we okutuusa bwe yaweza emyezi esatu, kubanga yali tayagala attibwe Abamisiri. Naye yali amanyi nti Musa ayinza okuzuulibwa, n’olwekyo kino kye yakola okumuwonya.
Yafuna ekisero n’akiyonda bulungi amazzi galeme kukiyingiramu. Awo n’ateeka Musa mu kisero, n’akiteeka mu bitoogo ku lubalama lw’Omugga Nile. Mwannyina wa Musa, Miryamu, yagambibwa okuyimirira okumpimpi alabe ekinaabaawo.
Waayita ekiseera kitono, muwala wa Falaawo n’ajja ku Mugga Nile okunaaba. Awo n’alaba ekisero mu bitoogo. N’agamba omu ku bazaana be: ‘Genda ondeetere ekisero ekyo.’ Omumbejja bwe yabikkula ekisero, nga yalaba omwana omulungi ennyo! Musa yali akaaba, era omumbejja n’amukwatirwa ekisa. Teyayagala mwana ono kuttibwa.
Awo Miryamu n’ajja. Oyinza okumulaba mu kifaananyi. Miryamu yabuuza muwala wa Falaawo: ‘Ŋŋende nkuyitire omukyala Omuisiraeri akulabiririre omwana?’
‘Genda omuyite,’ bw’atyo omumbejja bwe yaddamu.
Bwe kityo Miryamu n’adduka mangu okubuulira maama we. Maama wa Musa bwe yajja eri omumbejja, omumbejja yamugamba: ‘Twala omwana ono omundabiririre, era nja kukusasula.’
Bwe kityo maama wa Musa yalabirira omwana we yennyini. Oluvannyumako nga Musa akuze ekimala, yamutwalira muwala wa Falaawo, eyamukuza nga mutabani we. Eyo ye ngeri Musa gye yajjamu okukulira mu nnyumba ya Falaawo.