A7-A
Ebintu Ebikulu Ebyaliwo mu Bulamu bwa Yesu ku Nsi—Ebyaliwo nga Yesu Tannatandika Buweereza Bwe
Ebintu nga Bwe Byagenda Biddiriŋŋana mu Njiri Ennya
Ku buli kipande kuliko mmaapu eraga eŋŋendo za Yesu n’ebifo bye yatuukamu ng’abuulira. Obusaale obuli ku mmaapu tebulaga makubo gennyini mwe yayita wabula bulaga engeri gye yatambulamu. Ennukuta “a.” etegeeza “awo nga mu.”
Ebyaliwo nga Yesu Tannatandika Buweereza Bwe
EKISEERA |
EKIFO |
EKYALIWO |
MATAYO |
MAKKO |
LUKKA |
YOKAANA |
---|---|---|---|---|---|---|
3 E.E.T. |
Yerusaalemi, yeekaalu |
Malayika Gabulyeri abuulira Zekkaliya ku kuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza |
||||
a. 2 E.E.T. |
Nazaaleesi; Buyudaaya |
Malayika Gabulyeri abuulira Maliyamu ku kuzaalibwa kwa Yesu; Maliyamu akyalira Erizabeesi |
||||
2 E.E.T. |
Ebitundu bya Buyudaaya eby’ensozi |
Yokaana Omubatiza azaalibwa n’atuumibwa erinnya; Zekkaliya ayogera obunnabbi; Yokaana wa kubeera mu ddungu |
||||
2 E.E.T., a. Okit. 1 |
Besirekemu |
Yesu azaalibwa; “Kigambo yafuuka omuntu” |
||||
Okumpi ne Besirekemu; Besirekemu |
Malayika alangirira amawulire amalungi eri abasumba; bamalayika batendereza Katonda; abasumba bagenda okulaba omwana |
|||||
Besirekemu; Yerusaalemi |
Yesu akomolebwa (ku lunaku 8); bazadde be bamutwala mu yeekaalu (oluvannyuma lw’ennaku 40) |
|||||
1 E.E.T. oba 1 E.E. |
Yerusaalemi; Besirekemu; Misiri; Nazaaleesi |
Abalaguzisa emmunyeenye; Yesu ne bazadde be baddukira e Misiri; Kerode atta abaana ab’obulenzi; bakomawo okuva e Misiri ne babeera e Nazaaleesi |
||||
12 E.E., Okuyitako |
Yerusaalemi |
Yesu nga wa myaka 12 abuuza abayigiriza ebibuuzo mu yeekaalu |
||||
Nazaaleesi |
Addayo e Nazaaleesi; yeeyongera okugondera bazadde be; ayiga okubajja; Maliyamu azaala abalenzi abalala bana, n’abawala (Mat 13:55, 56; Mak 6:3) |
|||||
29, ku ntandikwa |
Eddungu, Omugga Yoludaani |
Yokaana Omubatiza atandika obuweereza bwe |