Zekkaliya 5:1-11
5 Awo ne ntunula waggulu nate ne ndaba omuzingo nga gubuuka mu bbanga.
2 N’ambuuza nti: “Kiki ky’olaba?”
Ne mmuddamu nti: “Ndaba omuzingo nga gubuuka mu bbanga, ng’obuwanvu gwa mikono* 20 ate obugazi gwa mikono 10.”
3 Awo n’aŋŋamba nti: “Kino kye kikolimo ekigenda nga kiyita mu nsi yonna, kubanga buli abba+ nga bwe kyogeddwa mu kikolimo ku luuyi olumu olw’omuzingo, tabonerezeddwa, na buli alayira+ nga bwe kyogeddwa mu kikolimo ku luuyi olulala olw’omuzingo, tabonerezeddwa.
4 Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Nkisindise era kijja kuyingira mu nnyumba y’omubbi ne mu nnyumba y’oyo alayira eby’obulimba mu linnya lyange; kijja kubeera mu nnyumba ye kigisaanyeewo wamu n’emiti gyayo n’amayinja gaayo.’”
5 Malayika eyali ayogera nange n’asembera n’aŋŋamba nti: “Tunula waggulu olabe ekifuluma.”
6 Ne mmubuuza nti: “Kiki ekyo?”
N’anziramu nti: “Eryo ddebe lya efa* lye lifuluma.” Era n’agamba nti: “Bwe batyo bwe bafaanana mu nsi yonna.”
7 Awo ekisaanikira ekyetooloovu eky’erisasi ne kibikkulwa, era waaliwo omukazi eyali atudde mu ddebe lya efa.
8 N’aŋŋamba nti: “Omukazi ono akiikirira ebikolwa ebibi.” Awo n’amusindika n’addayo mu ddebe lya efa era n’alisaanikirako ekisaanikira eky’erisasi.
9 Awo ne nnyimusa amaaso gange, ne ndaba abakazi babiri nga bajja, nga babuuka mu bbanga, mu mpewo. Ebiwaawaatiro byabwe byalinga ebya kalooli. Ne basitula eddebe lya efa mu bbanga.
10 Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti: “Eddebe lya efa balitwala wa?”
11 N’anziramu nti: “Balitwala mu nsi ya Sinaali*+ gye banaamuzimbira ennyumba; bwe banaamala okugizimba, bajja kumuteeka eyo mu kifo kye ekituufu.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Omukono gwali gwenkana sentimita 44.5 (inci 17.5). Laba Ebyong. B14.
^ Obut., “efa.” Eddebe oba ekisero ekyogerwako wano kyakozesebwanga okupima efa. Efa yali egyaamu lita 22. Laba Ebyong. B14.
^ Kwe kugamba, Babulooni.