Zekkaliya 3:1-10

  • Okwolesebwa 4: Kabona Asinga Obukulu ayambazibwa ebyambalo ebirala (1-10)

    • Sitaani aziyiza Kabona Asinga Obukulu (1)

    • ‘Nja kuleeta omuweereza wange ayitibwa Mutunsi!’ (8)

3  Awo n’andaga Yoswa+ kabona asinga obukulu ng’ayimiridde mu maaso ga malayika wa Yakuwa, ne Sitaani+ ng’ayimiridde ku mukono gwa Yoswa ogwa ddyo okumuziyiza.  Malayika wa Yakuwa n’agamba Sitaani nti: “Yakuwa k’akunenye ggwe Sitaani;+ Yakuwa oyo alonze Yerusaalemi+ k’akunenye! Ono talinga ekisiki ekyaka ekisikiddwa mu muliro?”  Yoswa yali ayambadde ebyambalo ebiddugala era ng’ayimiridde mu maaso ga malayika.  Awo malayika n’agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge nti: “Mumuggyemu ebyambalo ebiddugala.” N’agamba Yoswa nti: “Laba nkuggyeeko ensobi zo,* era ogenda kwambazibwa ebyambalo ebirungi.”*+  Awo ne ŋŋamba nti: “Bamuteekeko ekiremba ekiyonjo ku mutwe.”+ Ne bateeka ku mutwe gwe ekiremba ekiyonjo era ne bamwambaza ebyambalo; malayika wa Yakuwa yali ayimiridde kumpi awo.  Malayika wa Yakuwa n’agamba Yoswa nti:  “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Bw’onootambuliranga mu makubo gange, era n’otuukirizanga obuvunaanyizibwa bwo mu maaso gange, ojja kulamula abantu b’omu nnyumba yange,+ era ojja kulabirira* empya zange; era nja kukukkiriza okujjanga mu maaso gange ng’oli wamu ne bano abayimiridde wano.’  “‘Kale wulira ggwe Yoswa Kabona Asinga Obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go, kubanga balinga akabonero; laba! ndeeta omuweereza wange+ ayitibwa Mutunsi.+  Laba ejjinja lye ntadde mu maaso ga Yoswa! Ejjinja eryo liriko amaaso musanvu. Ŋŋenda kulyolako ebigambo,’ Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘era nja kuggyawo ensobi z’ensi eyo ku lunaku lumu.’+ 10  “Bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba, ‘Ku lunaku olwo buli omu ku mmwe aliyita muliraanwa we ajje batuule wansi w’omuzabbibu ggwe ne wansi w’omutiini ggwe.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “omusango gw’olina.”
Oba, “ebyambalo eby’ekitiibwa.”
Oba, “kuvunaanyizibwa ku; kukuuma.”