Zabbuli 66:1-20

  • Ebikolwa bya Katonda eby’ewuunyisa

    • “Mujje mulabe Katonda by’akola” (5)

    • “Nja kusasula bye nneeyama gy’oli” (13)

    • Katonda awulira okusaba (18-20)

Eri akubiriza eby’okuyimba. Luyimba. Zabbuli. 66  Kubira Katonda emizira, ggwe ensi yonna.+   Yimba ennyimba ezitendereza erinnya lye ery’ekitiibwa. Muwe ekitiibwa era mutendereze.+   Gamba Katonda nti: “Bye wakola nga biwuniikiriza!+ Olw’amaanyi go amangi,Abalabe bo balikankanira mu maaso go.+   Ensi yonna erikuvunnamira;+Baliyimba ennyimba ezikutendereza;Baliyimba ennyimba ezitendereza erinnya lyo.”+ (Seera)   Mujje mulabe Katonda by’akola. Ebyo by’akolera abaana b’abantu biwuniikiriza.+   Ennyanja yagifuula olukalu;+Baasomoka omugga ku bigere.+ Twasanyukira eyo olw’ebyo byonna bye yakola.+   Afuga n’amaanyi ge emirembe n’emirembe.+ Amaaso ge gatunuulira amawanga.+ Abawaganyavu tebasaanidde kwegulumiza.+ (Seera)   Mutendereze Katonda waffe mmwe amawanga,+Era amaloboozi agamutendereza ka gawulirwe.   Atukuuma ne tusigala nga tuli balamu;+Ebigere byaffe tabiganya kwesittala.*+ 10  Otwekenneenyezza Ai Katonda;+Otulongoosezza nga ffeeza bw’alongoosebwa. 11  Watusuula mu kitimba;Watutikka omugugu omuzito. 12  Waleka abantu okutambulira ku mitwe gyaffe;Twayita mu muliro ne mu mazzi,Awo n’otuleeta mu kifo mwe twafunira obuweerero. 13  Nja kujja mu nnyumba yo n’ebiweebwayo ebyokebwa;+Nja kusasula bye nneeyama gy’oli+ 14  Emimwa gyange bye gyasuubiza+Era akamwa kange bye kaayogera nga ndi mu nnaku. 15  Nja kuwaayo gy’oli ebiweebwayo ebyokebwa eby’ensolo ensava,N’omukka gwa ssaddaaka z’endiga ennume. Nja kuwaayo ente ennume awamu n’embuzi ennume. (Seera) 16  Mmwe mmwenna abatya Katonda mujje muwulire,Nja kubabuulira by’ankoledde.+ 17  Nnamukoowoola n’akamwa kange,Era nnamugulumiza n’olulimi lwange. 18  Singa waliwo ekintu kyonna ekibi kye nnatereka mu mutima gwange,Yakuwa teyandimpulirizza.+ 19  Naye Katonda yawuliriza;+Yawulira okusaba kwange.+ 20  Katonda atenderezebwe, oyo ataagaana kuwulira kusaba kwange,Era ataagaana kundaga kwagala kwe okutajjulukuka.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “kutagala; kusagaasagana.”