Zabbuli 63:1-11

  • Okulumirwa Katonda omwoyo

    • “Okwagala kwo okutajjulukuka kusinga obulamu” (3)

    • ‘Mmatidde n’ebisingayo obulungi’ (5)

    • Okufumiitiriza ku Katonda ekiro (6)

    • ‘Nnyweredde ku Katonda’ (8)

Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.+ 63  Ai Katonda, ggwe Katonda wange, nkunoonya.+ Nnina ennyonta gy’oli.+ Omwoyo gukunnumira,Mu nsi enkalu era erakaasidde, etaliimu mazzi.+   Kyenvudde nkulaba mu kifo ekitukuvu;Ndabye amaanyi go n’ekitiibwa kyo.+   Kubanga okwagala kwo okutajjulukuka kusinga obulamu,+Emimwa gyange ginaakugulumizanga.+   Kale nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;Nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.   Mmatidde ng’omuntu alidde n’akkuta emmere esingayo obulungi,Kyennaava nkutendereza mu ddoboozi ery’essanyu.+   Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange;Nkufumiitirizaako mu bisisimuka eby’ekiro.+   Kubanga ggwe annyamba,+Njogerera waggulu n’essanyu nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.+   Nkunywereddeko;Omukono gwo ogwa ddyo gunnyweza.+   Naye abo abaagala okuzikiriza obulamu bwange*Bajja kukka mu kinnya eky’okufa. 10  Bajja kuttibwa n’ekitala;Bajja kufuuka mmere ya bibe. 11  Naye kabaka ajja kusanyuka olw’ebyo Katonda by’anaamukolera. Buli alayirira mu linnya lya Katonda ajja kujaguza,*Kubanga akamwa k’abo aboogera eby’obulimba kajja kusirisibwa.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “abaagala okunzita.”
Oba, “kwenyumiriza.”