Zabbuli 60:1-12
Eri akubiriza eby’okuyimba; ya ku “Malanga ag’Okujjukiza.” Mikutamu.* Zabbuli ya Dawudi. Ya kuyigiriza. Bwe yalwana ne Alamu-nakalayimu ne Alamu-Zoba, Yowaabu n’agenda n’atta Abeedomu 12,000 mu Kiwonvu ky’Omunnyo.+
60 Ai Katonda, watwesamba; watusaasaanya.+
Watusunguwalira, naye kati tukkirize tukomewo gy’oli!
2 Wakankanya ensi; wagyasaamu.
Ziba ebituli byayo, kubanga egwa.
3 Abantu bo wabaleetera okulaba ennaku.
Watunywesa omwenge ogututagaza.+
4 Abo abakutya bawe* akaboneroBadduke baleme kulasibwa kasaale.* (Seera)
5 Tulokole n’omukono gwo ogwa ddyo era otuddemu,+Abo b’oyagala basobole okununulibwa.
6 Katonda omutukuvu agambye* nti:
“Nja kujaguza, Sekemu nja kumuwa abantu bange okuba obusika;+Ekiwonvu ky’e Sukkosi+ nja kukiwa abantu bange.
7 Gireyaadi wange ne Manase wange,+Efulayimu ye sseppeewo y’oku mutwe gwange;*Yuda ye ddamula* yange.+
8 Mowaabu ye bbenseni mwe nnaabira.+
Nja kusuula engatto yange ku Edomu.+
Nja kujaganya olw’okuwangula Bufirisuuti.”+
9 Ani anantwala mu kibuga ekizingiziddwa?
Ani anankulembera okuntuusa mu Edomu?+
10 Si ye ggwe, Ai Katonda eyatwesamba,Katonda waffe atakyagenda naffe mu lutalo?+
11 Tuyambe mu buzibu bwe tulimu,Kubanga obulokozi bw’abantu tebugasa.+
12 Katonda ajja kutuwa amaanyi,+Era ajja kulinnyirira abalabe baffe.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “obawadde.”
^ Obut., “bawone omutego gw’obusaale.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Katonda ayogeredde mu kifo kye ekitukuvu.”
^ Ekigambo ky’Olwebbulaniya kitegeeza omuggo omuwanvu ogukiikirira obuyinza omuduumizi bw’aba nabwo okuwa ebiragiro.
^ Obut., “kye kigo ky’oku mutwe gwange.”