Zabbuli 55:1-23

  • Essaala y’oyo mukwano gwe gw’aliddemu olukwe

    • Avumibwa mukwano gwe ow’oku lusegere (12-14)

    • “Omugugu gwo gutikke Yakuwa” (22)

Eri akubiriza eby’okuyimba; egenderako ebivuga eby’enkoba. Masukiri.* Zabbuli ya Dawudi. 55  Ai Katonda, wulira okusaba kwange,+Era tolema kuwuliriza bwe nkusaba onsaasire.*+   Nzisaako ebirowoozo onziremu.+ Ebinneeraliikiriza bimmazeeko emirembe,+Era nsobeddwa   Olw’ebyo omulabe by’ayogeraN’olw’omubi okunkijjanya. Bansombera emitawaana,Bansunguwalidde era bampalana.+   Omutima gwange gunnuma nnyo munda yange,+Era entiisa y’okufa embuutikidde.+   Okutya n’okukankana bintuuseeko,N’okujugumira kunnywezezza.   Buli kiseera mba ŋŋamba nti: “Singa nnalina ebiwaawaatiro ng’ejjiba! Nnandibuuse ne ŋŋenda mbeera mu kifo omutali kabi.   Nnandiddukidde wala nnyo.+ Nnandigenze ne mbeera mu ddungu.+ (Seera)   Nnandyanguye ne ŋŋenda mu kifo eky’okwewogomamuNe nva awali empewo ekunta, ne nva awali omuyaga.”   Batabuletabule, Ai Yakuwa, era gootaanya enteekateeka zaabwe,*+Kubanga ndabye ebikolwa eby’obukambwe n’obukuubagano mu kibuga. 10  Emisana n’ekiro bitambulira ku bbugwe waakyo;Kirimu ettima n’emitawaana.+ 11  Akabi kali wakati mu kyo;Okubonyaabonya abalala n’obulimba tebiva mu kibangirizi kyakyo.+ 12  Omulabe wange si y’anvuma;+Singa bwe kiri, nnandibadde nkigumira. Oyo ampalana si y’annumbye;Singa bwe kibadde, nnandibadde mmwekweka. 13  Naye akola ebyo ye ggwe, omuntu alinga nze,*+Munnange gwe mmanyi obulungi.+ 14  Twali ba mukwano nnyo;Twatambulanga n’ekibinja ky’abantu nga tugenda mu nnyumba ya Katonda. 15  Okuzikirira ka kubatuukeko!+ Ka bakke emagombe* nga balamu;Kubanga ebintu ebibi bibeera wamu nabo, era bibeera munda mu bo. 16  Naye nze, nja kukoowoola Yakuwa Katonda,Era ajja kundokola.+ 17  Akawungeezi ne ku makya ne mu ttuntu mba mweraliikirivu era nga nsinda,+Era awulira eddoboozi lyange.+ 18  Ajja kumponya* abo abannwanyisa, era ampe emirembe,Kubanga waliwo bangi abannumba.+ 19  Katonda ajja kuwulira era abeeko ky’abakola,+Oyo atuula ku ntebe y’obwakabaka okuva edda.+ (Seera) Abo abatatya Katonda,+Bajja kugaana okukyuka. 20  Yalumba* abo abaali bakolagana naye obulungi.+ Yamenya endagaano ye.+ 21  Ebigambo bye bigonvu okusinga omuzigo,+Naye mu mutima gwe mulimu olutalo. Ebigambo bye biweweevu okusinga amafuta,Naye biringa ebitala ebisowoddwayo.+ 22  Omugugu gwo gutikke Yakuwa,+Era naye anaakuwaniriranga.+ Talireka mutuukirivu kugwa.*+ 23  Naye ggwe, Ai Katonda, olissa ababi mu kinnya ekisingayo obuwanvu.+ Abantu abo abatemu era abalimba balifa ng’ekiseera kye bandiwangadde tebannakituuka na wakati.+ Naye nze nneesiganga ggwe.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Era teweekweka bwe nkusaba onnyambe.”
Obut., “yawulamu olulimi lwabwe.”
Oba, “omuntu bwe twenkana.”
Obut., “kundokola okuva eri.”
Ono ye yali mukwano gwe ayogerwako mu lunyiriri 13 ne 14.
Oba, “kutagala; kusagaasagana.”