Zabbuli 47:1-9
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli y’abaana ba Koola.+
47 Mmwe amawanga gonna, mukube mu ngalo.
Mwogerere waggulu era muyimbire Katonda n’eddoboozi ery’essanyu.
2 Kubanga Yakuwa, oyo Asingayo Okuba Waggulu, wa ntiisa;+Ye Kabaka omukulu afuga ensi yonna.+
3 Assa amawanga wansi waffe;Ateeka amawanga wansi w’ebigere byaffe.+
4 Atulondera obusika,+Obusika Yakobo gw’ayagala bwe yeenyumiririzaamu.+ (Seera)
5 Katonda alinnye waggulu ng’abantu bwe bakuba emizira;Yakuwa alinnye waggulu ng’abantu bwe bafuuwa eŋŋombe.*
6 Muyimbe ennyimba ezitendereza Katonda, muyimbe ennyimba ezitendereza.
Muyimbe ennyimba ezitendereza Kabaka waffe, muyimbe ennyimba ezitendereza.
7 Kubanga Katonda ye Kabaka w’ensi yonna;+Muyimbe ennyimba ezitendereza era mwoleke amagezi.
8 Katonda afuuse Kabaka w’amawanga.+
Katonda atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka entukuvu.
9 Abakulembeze b’amawanga bakuŋŋaanye wamuN’abantu ba Katonda wa Ibulayimu.
Abafuzi b’ensi ba* Katonda.
Agulumiziddwa nnyo.+