Zabbuli 37:1-40
Zabbuli ya Dawudi.
א [Alefu]
37 Tokwatibwanga busungu olw’ababi,Oba okukwatirwa aboonoonyi ensaalwa.+
2 Kubanga baliwotoka mangu ng’omuddo,+Era balikala ng’omuddo ogwakamera.
ב [Besu]
3 Weesigenga Yakuwa era kolanga ebirungi;+Beera mu nsi, era beeranga mwesigwa mu by’okola.+
4 Yakuwa abeerenga ensibuko y’essanyu lyo,*Era ajja kukuwa omutima gwo bye gwagala.
ג [Gimeri]
5 Amakubo go gakwasenga* Yakuwa;+Mwesigenga, era naye ajja kukuyamba.+
6 Ajja kuleetera obutuukirivu bwo okwakaayakana ng’ekitangaala eky’oku makya ennyo,N’obwenkanya bwo okwakaayakana ng’omusana ogw’omu ttuntu.
ד [Dalesi]
7 Sirika mu maaso ga Yakuwa+Era mulindirire n’obugumiikiriza.
Tokwatibwa busungu olw’oyoAtuukiriza ebintu ebibi by’aba ateeseteese.+
ה [Ke]
8 Tosunguwalanga era toswakiiranga;+Tonyiiganga n’okola ebintu ebibi.*
9 Kubanga ababi baliggibwawo,+Naye abo abatadde essuubi lyabwe mu Yakuwa balisikira ensi.+
ו [Wawu]
10 Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo;+Olitunula we baabeeranga,Naye tebalibaawo.+
11 Naye abawombeefu balisikira ensi,+Era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.+
ז [Zayini]
12 Omubi asalira omutuukirivu enkwe;+Amulumira obugigi.
13 Naye Yakuwa amusekerera,Kubanga amanyi nti olunaku lwe lujja kutuuka.+
ח [Kesu]
14 Ababi basowolayo ebitala byabwe era baweta emitego gyabwe egy’obusaaleOkusuula abanyigirizibwa n’abaavu,Okutta abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 Naye ekitala kyabwe kijja kufumita emitima gyabwe;+Emitego gyabwe gijja kumenyeka.
ט [Tesu]
16 Akatono omutuukirivu k’alinaKasinga ebingi ababi abangi bye balina.+
17 Kubanga emikono gy’ababi gijja kumenyebwa,Naye Yakuwa ajja kuwanirira abatuukirivu.
י [Yodi]
18 Yakuwa amanyi ebituuka ku abo* abataliiko kya kunenyezebwa,Era obusika bwabwe buliba bwa mirembe na mirembe.+
19 Mu kiseera eky’akabi tebaliswala;Mu kiseera eky’enjala baliba na bingi.
כ [Kafu]
20 Naye ababi balisaanawo;+Abalabe ba Yakuwa baliggwaawo ng’omuddo ogutinta;Baliggwaawo ng’omukka.
ל [Lamedi]
21 Omubi yeewola naye tasasula,Naye omutuukirivu musaasizi era mugabi.+
22 Abo Katonda b’awa omukisa balisikira ensi,Naye abo b’akolimira baliggibwawo.+
מ [Memu]
23 Yakuwa bw’asanyukira amakubo g’omuntu,+Amulaga bw’alina okutambula.+
24 Ne bwe yeesittala tagwa wansi,+Kubanga Yakuwa amukwata ku mukono n’amuwanirira.*+
נ [Nuni]
25 Nnali muto, naye kati nkaddiye,Kyokka sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa,+Wadde abaana be nga basabiriza emmere.+
26 Bulijjo alaga abalala ekisa n’abawola,+Era abaana be balifuna omukisa.
ס [Sameki]
27 Leka ebibi okole ebirungi,+Obeerewo emirembe gyonna.
28 Kubanga Yakuwa ayagala obwenkanya,Era talyabulira abo abeesigwa gy’ali.+
ע [Ayini]
Anaabakuumanga bulijjo;+Naye ezzadde ly’ababi liriggibwawo.+
29 Abatuukirivu balisikira ensi,+Era baligibeeramu emirembe gyonna.+
פ [Pe]
30 Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,*Era olulimi lwe lwogera ku bwenkanya.+
31 Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe;+Era bw’anaatambulanga taaseererenga.+
צ [Sade]
32 Omubi atunuulira omutuukirivu,Ng’ayagala okumutta.
33 Naye Yakuwa talimuleka kugwa mu mukono gw’omubi+Wadde okumusingisa omusango ng’alamulwa.+
ק [Kofu]
34 Essuubi lyo liteekenga mu Yakuwa era otambulire mu kkubo lye,Naye alikugulumiza n’osikira ensi.
Ababi bwe baliggibwawo,+ olikiraba.+
ר [Lesu]
35 Nnalaba omuntu omukambwe era omubi ennyo,Ng’ayagaagadde ng’omuti ogulina ebikoola ebingi oguli ku ttaka lyagwo.+
36 Naye mangu ddala yavaawo n’aba nga takyaliwo;+Nnamunoonya, naye saamuzuula.+
ש [Sini]
37 Weetegereze oyo ataliiko kya kunenyezebwa,*Era tunuulira omugolokofu,+Kubanga ebiseera bye eby’omu maaso biriba bya mirembe.+
38 Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;Abantu ababi balizikirira.+
ת [Tawu]
39 Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Yakuwa;+Ye kye kigo kyabwe mu biseera eby’obuyinike.+
40 Yakuwa ajja kubayamba era abanunule.+
Ajja kubanunula okuva mu mukono gw’ababi era abalokole.
Kubanga baddukira gy’ali.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Funa essanyu erisingayo mu Yakuwa.”
^ Obut., “Amakubo go gayiringisizenga ku.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Tonyiiganga kubanga kijja kukuviiramu akabi.”
^ Obut., “amanyi ennaku z’abo.”
^ Oba, “amuwanirira n’omukono gwe.”
^ Oba, “koogera eby’amagezi mu kaama.”
^ Oba, “oyo akuuma obugolokofu.”