Zabbuli 145:1-21
Okutendereza, zabbuli ya Dawudi.
א [Alefu]
145 Nja kukugulumiza, Ai Katonda wange Kabaka,+Nja kutendereza erinnya lyo emirembe n’emirembe.+
ב [Besu]
2 Nja kukutenderezanga okuzibya obudde;+Nja kutendereza erinnya lyo emirembe n’emirembe.+
ג [Gimeri]
3 Yakuwa mukulu era y’agwanidde okutenderezebwa ennyo;+Obukulu bwe tebunoonyezeka.*+
ד [Dalesi]
4 Abantu ab’omu mirembe gyonna bajja kutendereza emirimu gyo;Bajja kwogera ku bikolwa byo eby’amaanyi.+
ה [Ke]
5 Bajja kwogera ku bulungi bw’ekitiibwa kyo,+Era nja kufumiitiriza ku mirimu gyo egy’ekitalo.
ו [Wawu]
6 Bajja kwogera ku bikolwa byo ebiwuniikiriza,*Era nja kulangirira ebikolwa byo eby’ekitalo.
ז [Zayini]
7 Ebigambo byabwe eby’okutendereza bijja kukulukuta ng’amazzi bwe banajjukiranga obulungi bwo obungi,+Bajja kwogereranga waggulu n’essanyu olw’obutuukirivu bwo.+
ח [Kesu]
8 Yakuwa wa kisa era musaasizi,+Alwawo okusunguwala era alina okwagala okutajjulukuka kungi.+
ט [Tesu]
9 Yakuwa mulungi eri bonna,+Era okusaasira kwe kweyolekera mu mirimu gye gyonna.
י [Yodi]
10 Emirimu gyo gyonna gijja kukugulumiza, Ai Yakuwa,+Era abeesigwa gy’oli bajja kukutendereza.+
כ [Kafu]
11 Bajja kulangirira ekitiibwa ky’obwakabaka bwo,+Era bajja kwogera ku buyinza bwo,+
ל [Lamedi]
12 Bamanyise abantu ebikolwa byo eby’amaanyi+N’obulungi bw’ekitiibwa ky’obwakabaka bwo.+
מ [Memu]
13 Obwakabaka bwo bwa mirembe na mirembe,N’okufuga kwo kubeerawo mu mirembe gyonna.+
ס [Sameki]
14 Yakuwa awanirira abo bonna abagwa,+Era ayimusa abo abakutamye.+
ע [Ayini]
15 Amaaso g’ebitonde byonna ebiramu gakulindirira;Obiwa emmere yaabyo mu kiseera ekituufu.+
פ [Pe]
16 Oyanjuluza engalo zoN’owa buli kiramu bye kyagala.+
צ [Sade]
17 Yakuwa mutuukirivu mu makubo ge gonna+Era mwesigwa mu byonna by’akola.+
ק [Kofu]
18 Yakuwa ali kumpi n’abo bonna abamukoowoola,+Abo bonna abamukoowoola mu mazima.*+
ר [Lesu]
19 Awa abo abamutya bye baagala;+Awulira okuwanjaga kwabwe n’abanunula.+
ש [Sini]
20 Yakuwa akuuma abo bonna abamwagala,+Naye ababi bonna ajja kubazikiriza.+
ת [Tawu]
21 Akamwa kange kajja kulangirira ettendo lya Yakuwa;+Ebiramu byonna ka bitendereze erinnya lye ettukuvu emirembe n’emirembe.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “buzibu okutegeera.”
^ Oba, “maanyi go agawuniikiriza.”
^ Oba, “mu bwesimbu.”