Zabbuli 125:1-5

  • Yakuwa akuuma abantu be

    • “Ng’ensozi bwe zeetoolodde Yerusaalemi” (2)

    • “Emirembe ka gibe ku Isirayiri” (5)

Oluyimba olw’Okwambuka. 125  Abo abeesiga Yakuwa+Balinga Olusozi Sayuuni olutasobola kunyeenyezebwa,Era olubeerawo emirembe gyonna.+   Ng’ensozi bwe zeetoolodde Yerusaalemi,+Yakuwa bw’atyo bwe yeetooloola abantu be+Emirembe gyonna.   Ddamula y’ababi tejja kweyongera kufuga nsi y’abatuukirivu,+Abatuukirivu baleme okukola ebintu ebibi.+   Ai Yakuwa, abantu abalungi bakolere ebirungi,+Abo abalina omutima omugolokofu.+   Abo abakyuka ne badda mu makubo gaabwe amakyamu,Yakuwa ajja kubaggyawo awamu n’abakola ebibi.+ Emirembe ka gibe ku Isirayiri.

Obugambo Obuli Wansi