Zabbuli 120:1-7

  • Omugwira ayagala emirembe

    • ‘Mponya olulimi olukuusa (2)

    • “Njagala mirembe” (7)

Oluyimba olw’Okwambuka.* 120  Nnakoowoola Yakuwa nga ndi mu buzibu obw’amaanyi,+N’annyanukula.+   Ai Yakuwa, mponya emimwa egirimbaN’olulimi olukuusa.   Katonda anaakukola ki, era anaakubonereza atya,*Ggwe olulimi olukuusa?+   Ojja kubonerezebwa n’obusaale obusongovu+ obw’abalwanyi,N’amanda agengereredde+ ag’omuti ogw’omu ddungu.   Zinsanze, kubanga mbadde mbeera ng’omugwira mu Meseki!+ Mbadde mbeera mu weema z’e Kedali.+   Mmaze ekiseera kiwanvu nnyo nga mbeeraN’abantu abataagala mirembe.+   Nze njagala mirembe, naye bwe njogeraBo baagala kulwana.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “era kiki ky’anaakwongerako.”