Omubuulizi 1:1-18
1 Ebigambo by’omubuulizi,*+ mutabani wa Dawudi, eyali kabaka mu Yerusaalemi.+
2 Omubuulizi agamba nti: “Butaliimu!”
“Butaliimu! Byonna butaliimu!”+
3 Omuntu aganyulwa ki mu kukola ennyo,Mu mirimu gyonna gy’afuba okukola wansi w’enjuba?+
4 Omulembe ogumu gugenda, ate omulembe omulala ne guddawo,Naye ensi ebeerawo* emirembe n’emirembe.+
5 Enjuba evaayo,* era n’egwa;N’eyanguwa okuddayo mu kifo gy’eneeva nate.+
6 Empewo egenda ebukiikaddyo ate n’ekyuka n’egenda ebukiikakkono;Egenda yeetooloola obutasalako; egenda ate n’edda.
7 Emigga* gyonna gikulukutira mu nnyanja, naye ennyanja tejjula.+
Mu kifo emigga we giva, we gidda ne giddamu okukulukuta.+
8 Ebintu byonna bikooya;Tewali ayinza kubyogerako.
Eriiso terimatira kulaba;N’okutu tekukoowa kuwulira.
9 Ebibaddewo bye biribaawo,Era ebikoleddwa bye birikolebwa nate;Tewali kipya wansi w’enjuba.+
10 Waliwo ekintu kyonna omuntu ky’ayinza okugamba nti, “Laba, kino kipya”?
Ekintu ekyo kiba kyaliwo dda;Kiba kyaliwo nga ffe tetunnabaawo.
11 Tewali ajjukira bantu abaaliwo mu biseera eby’edda;Tewali ajja kujjukira abo abanaddawo;Ate nabo tebalijjukirwa abo abaliddawo oluvannyuma.+
12 Nze omubuulizi nnali kabaka wa Isirayiri mu Yerusaalemi.+
13 Nnassaayo omutima okunoonyereza n’amagezi+ ku byonna ebikoleddwa wansi w’eggulu+—ebintu byonna ebinakuwaza, Katonda by’awadde abaana b’abantu okukola.
14 Nnalaba byonna ebikolebwa wansi w’enjuba,Era laba! byonna butaliimu, era kuba kugoba mpewo.+
15 Ekyakyama tekisoboka kugololwa,N’ekitaliiwo tekisoboka kubalibwa.
16 Nnayogera mu mutima gwange nti: “Laba! Nfunye amagezi mangi okusinga bonna abansookawo mu Yerusaalemi,+ era omutima gwange gufunye amagezi mangi n’okumanya.”+
17 Nnassaayo omutima okumanya ebikwata ku magezi, n’okumanya eddalu,* era n’okumanya obusirusiru,+ ne ndaba nga nabyo kuba kugoba mpewo.
18 Kubanga amagezi amangi galeeta obuyinike bungi,Era buli ayongera ku kumanya kw’alina yeeyongerako obulumi.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “by’oyo akuŋŋaanya abantu.”
^ Obut., “eyimirira.”
^ Oba, “eyaka.”
^ Oba, “Emigga gy’omu kiseera eky’obutiti.”
^ Oba, “obusirusiru obungi ennyo.”