Okuva 8:1-32

  • Ekibonyoobonyo 2: ebikere (1-15)

  • Ekibonyoobonyo 3: obutugu (16-19)

  • Ekibonyoobonyo 4: kawawa (20-32)

8  Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Genda eri Falaawo omugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Leka abantu bange bagende bampeereze.+  Bw’oneeyongera okubagaana okugenda, ŋŋenda kuleeta ebikere+ mu nsi yo yonna.  Omugga Kiyira gujja kujjula ebikere, era bijja kuvaayo biyingire mu nnyumba yo, ne mu kisenge mw’osula, ne ku kitanda kyo, ne mu nnyumba z’abaweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu byoto byo, ne mu bibya ebikandirwamu.*+  Ebikere bijja kujja ku ggwe, ne ku bantu bo, ne ku baweereza bo bonna.”’”  Oluvannyuma Yakuwa n’agamba Musa nti: “Gamba Alooni nti, ‘Golola omukono gwo ogukutte omuggo ku migga, ku bugga obuva ku Kiyira ne ku ntobazi, ebikere biveeyo bijje ku nsi ya Misiri.’”  Awo Alooni n’agolola omukono gwe ku mazzi ga Misiri, ebikere ne bivaayo ne bibuna ensi ya Misiri.  Kyokka ne bakabona abaakolanga eby’obufumu nabo baakola ekintu kye kimu nga beeyambisa amagezi gaabwe ag’ekyama, ebikere ne bivaayo ne bijja ku nsi ya Misiri.+  Oluvannyuma Falaawo n’ayita Musa ne Alooni n’abagamba nti: “Mwegayirire Yakuwa anzigyeko ebikere nze n’abantu bange+ kubanga ndi mwetegefu okuleka abantu bagende baweeyo ssaddaaka eri Yakuwa.”  Musa n’agamba Falaawo nti: “Kiri gy’oli okumbuulira lwe mba nneegayirira Katonda ebikere bikuggibweko era biggibwe ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zo. Bijja kusigala mu Mugga Kiyira mwokka.” 10  Awo Falaawo n’agamba nti: “Enkya.” Musa n’amuddamu nti: “Kijja kuba nga bw’ogambye, olyoke omanye nti teriiyo mulala alinga Yakuwa Katonda waffe.+ 11  Ebikere bijja kukuvaako ggwe, era bijja kuva mu nnyumba zo, ku baweereza bo, ne ku bantu bo. Bijja kusigala mu Kiyira mwokka.”+ 12  Awo Musa ne Alooni ne bava ewa Falaawo, Musa ne yeegayirira Yakuwa aggyewo ebikere bye yali asindikidde Falaawo.+ 13  Yakuwa n’akola nga Musa bwe yamusaba, ebikere ne bitandika okufiira mu mayumba, mu mpya, ne ku ttale. 14  Ne babikuŋŋaanya entuumu n’entuumu, ensi n’etandika okuwunya ekivundu. 15  Falaawo bwe yalaba nga waliwo obuweerero, n’akakanyaza omutima gwe+ era n’agaana okubawuliriza, nga Yakuwa bwe yali agambye. 16  Yakuwa n’agamba Musa nti: “Gamba Alooni nti, ‘Galula omuggo gwo okube ku nfuufu y’ensi efuuke obutugu mu nsi yonna eya Misiri.’” 17  Ne bakola bwe batyo. Alooni n’agalula omukono ogwali gukutte omuggo n’akuba ku nfuufu y’ensi, obutugu ne bujja ku bantu ne ku nsolo. Enfuufu yonna ey’ensi n’efuuka obutugu mu nsi yonna eya Misiri.+ 18  Bakabona abaakolanga eby’obufumu ne bagezaako okukola ekintu kye kimu nga beeyambisa amagezi gaabwe ag’ekyama+ nabo baleete obutugu, naye ne batasobola. Obutugu bwajja ku bantu ne ku nsolo. 19  Bakabona abaakolanga eby’obufumu ne bagamba Falaawo nti: “Eyo ngalo ya Katonda!”+ Naye omutima gwa Falaawo ne gweyongera okuba omukakanyavu, n’atabawuliriza, nga Yakuwa bwe yali agambye. 20  Awo Yakuwa n’agamba Musa nti: “Golokoka ku makya nnyo oyimirire mu maaso ga Falaawo. Laba! Ajja kuba agenda ku mugga, omugambe nti, ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Leka abantu bange bagende bampeereze. 21  Naye bw’otoobaleke kugenda, nja kukusindikira ggwe n’abaweereza bo n’abantu bo kawawa,* era nja kumusindika ne mu nnyumba zo. Kawawa oyo ajja kujjula mu nnyumba z’e Misiri ne ku ttaka kwe bayimirira.* 22  Ku lunaku olwo nja kutaliza ekitundu ky’e Goseni abantu bange gye babeera. Tekijja kubaamu kawawa,+ olyoke omanye nti nze Yakuwa, ndi mu nsi eno.+ 23  Era nja kulaga enjawulo wakati w’abantu bange n’ababo. Akabonero kano kajja kubaawo enkya.”’” 24  Yakuwa n’akola bw’atyo, agabinja ga kawawa ne gajja mu nnyumba ya Falaawo, ne mu nnyumba z’abaweereza be, ne mu nsi yonna eya Misiri.+ Ensi n’efaafaagana olwa kawawa.+ 25  Awo Falaawo n’ayita Musa ne Alooni n’abagamba nti: “Mugende muweeyo ssaddaaka eri Katonda wammwe, naye mugiweereyo mu nsi eno.” 26  Naye Musa n’agamba nti: “Si kirungi kukola ekyo, kubanga bye tugenda okuwaayo eri Yakuwa Katonda waffe biyinza okuba eby’omuzizo eri Abamisiri.+ Singa tuwaayo ekintu eky’omuzizo ng’Abamisiri batulaba, tebaatukube amayinja? 27  Tujja kutambula olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu tuweeyo ssaddaaka eri Yakuwa Katonda waffe nga bwe yatugamba.”+ 28  Falaawo n’agamba nti: “Nja kubaleka mugende muweeyo ssaddaaka mu ddungu eri Yakuwa Katonda wammwe. Naye temugenda wala nnyo. Era munneegayiririre+ Katonda wammwe.” 29  Musa n’agamba nti: “Kaakano nva mu maaso go, era nja kwegayirira Yakuwa enkya, kawawa ave ku Falaawo ne ku baweereza be era ne ku bantu be. Naye Falaawo taddamu okutulimba* n’agaana abantu okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa.”+ 30  Awo, Musa n’ava mu maaso ga Falaawo ne yeegayirira Yakuwa.+ 31  Yakuwa n’akola nga Musa bwe yamusaba, kawawa n’ava ku Falaawo ne ku baweereza be ne ku bantu be. Tewali yasigalawo. 32  Naye era Falaawo n’akakanyaza omutima gwe n’ataleka bantu kugenda.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ebbakuli.”
Kino kika kya kiwuka ekinuuna omusaayi.
Wano boogera ku Bamisiri.
Oba, “okutuzannyisa.”