Okuva 3:1-22
3 Musa yafuuka omulunzi w’endiga za Yesero+ kabona wa Midiyaani eyali kitaawe wa mukazi we. Bwe yali atwala endiga ku luuyi lw’eddungu olw’ebugwanjuba, n’atuuka ku Lusozi Kolebu,+ olusozi lwa Katonda ow’amazima.
2 Malayika wa Yakuwa n’amulabikira mu nnimi z’omuliro ogwali gwakira wakati mu kisaka.+ Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka omuliro naye nga tekiggya.
3 Awo Musa n’agamba nti: “Ka ŋŋende nneetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, ndabe ensonga lwaki ekisaka tekiggya.”
4 Yakuwa bwe yalaba nga Musa asembedde okukyetegereza, n’amuyita ng’ayima mu kisaka, n’agamba nti: “Musa! Musa!” Musa n’ayitaba nti: “Nzuuno.”
5 Awo Katonda n’amugamba nti: “Koma awo. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo ky’oyimiriddemu kitukuvu.”
6 Era n’amugamba nti: “Nze Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu,+ Katonda wa Isaaka,+ era Katonda wa Yakobo.”+ Musa ne yeebikka mu maaso kubanga yatya okutunuulira Katonda ow’amazima.
7 Yakuwa n’amugamba nti: “Mazima ddala ndabye okubonaabona kw’abantu bange abali e Misiri era mpulidde okukaaba kwabwe olw’abo ababawaliriza okukola; era mmanyi bulungi obulumi bwe balimu.+
8 Ŋŋenda kukka mbanunule mu mukono gw’Abamisiri,+ mbaggye mu nsi eyo mbatwale mu nsi ennungi era engazi, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki,+ omubeera Abakanani, n’Abakiiti, n’Abaamoli, n’Abaperizi, n’Abakiivi, n’Abayebusi.+
9 Era laba! Okukaaba kw’abantu ba Isirayiri kutuuse gye ndi era ndabye engeri Abamisiri gye bababonyaabonyaamu.+
10 Kale kaakano jjangu nkutume eri Falaawo oggyeyo abantu bange Abayisirayiri e Misiri.”+
11 Kyokka Musa n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Nze ani agenda eri Falaawo okuggya Abayisirayiri e Misiri?”
12 N’amuddamu nti: “Nja kubeera naawe,+ era kano ke kabonero akanaakulaga nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu e Misiri, muliweereza* Katonda ow’amazima ku lusozi luno.”+
13 Naye Musa n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Bwe nnaagenda eri Abayisirayiri ne mbagamba nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli,’ ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye y’ani?’+ Nnaabagamba ntya?”
14 Awo Katonda n’agamba Musa nti: “Nja Kubeera Ekyo Kye Nnaasalawo* Okubeera.”*+ N’ayongera n’amugamba nti: “Bw’oti bw’onoogamba Abayisirayiri: ‘Nja Kubeera antumye gye muli.’”+
15 Era Katonda n’agamba Musa nti:
“Bw’oti bw’onoogamba Abayisirayiri, ‘Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu,+ Katonda wa Isaaka,+ era Katonda wa Yakobo,+ antumye gye muli.’ Eryo lye linnya lyange emirembe n’emirembe,+ era bwe ntyo bwe nnajjukirwanga buli mulembe oguliddawo.
16 Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri obagambe nti, ‘Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, andabikidde n’aŋŋamba nti: “Mbalabye+ era ndabye ne bye babakola e Misiri.
17 Kyenvudde ŋŋamba nti, nja kubaggya mu nnaku+ Abamisiri gye babalabya, mbatwale mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abaamoli,+ n’Abaperizi, n’Abakiivi, n’Abayebusi,+ ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”’+
18 “Bajja kuwuliriza eddoboozi lyo,+ era ggwe n’abakadde ba Isirayiri mujja kugenda eri kabaka wa Misiri, era mujja kumugamba nti, ‘Yakuwa Katonda w’Abebbulaniya+ ayogedde naffe. Kale tukwegayiridde, tukkirize tugende mu ddungu olugendo lwa nnaku ssatu tuweeyo ssaddaaka eri Yakuwa Katonda waffe.’+
19 Naye nkimanyi bulungi nti kabaka wa Misiri tajja kubakkiriza kugenda okuggyako ng’awaliriziddwa omukono ogw’amaanyi.+
20 Era nja kussa omukono gwange ku nsi ya Misiri nkole ebikolwa eby’ekitalo mu yo, era oluvannyuma ajja kubakkiriza okugenda.+
21 Era nja kuleetera abantu bange okwagalibwa Abamisiri, era bwe munaaba muvaayo, temujja kuvaayo ngalo nsa.+
22 Buli mukazi ajja kusaba muliraanwa we n’omukazi asula mu nnyumba ye ebintu ebya ffeeza n’ebya zzaabu, n’engoye, era mujja kubyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; era mujja kunyaga Abamisiri.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “mulisinza.”
^ Oba, “Nja Kubeera Ekyo kye Nnaabeera.” Laba Ebyong. A4.
^ Oba, “Nnaayagala.”