Okuva 22:1-31
22 “Omuntu bw’abbanga ente oba endiga n’agitta oba n’agitunda, aliwanga ente ttaano olw’ente emu, ate endiga nnya olw’endiga emu.+
2 (“Omubbi+ bw’asangibwanga ng’amenya enju n’akubibwa n’afa, amusse taabengako musango gwa kuyiwa musaayi.
3 Naye bwe kibangawo ng’enjuba evuddeyo, amusse anaabangako omusango gw’okuyiwa omusaayi.)
“Omubbi anaaliwanga olw’ekyo ky’anaabanga abbye. Bw’abanga talina ky’alina atundibwanga okusasula by’anaabanga abbye.
4 Bw’asangibwanga n’ekintu ekibbe nga kikyali kiramu, k’ebe nte oba ndogoyi oba ndiga, emu anaagisasulangamu bbiri.
5 “Omuntu bw’atwalanga ensolo ze mu nnimiro yonna oba mu nnimiro ey’emizabbibu, n’azireka ne zirya ebintu mu nnimiro y’omuntu omulala, anaaliwanga ng’awaayo eby’omu nnimiro ye ebisingayo obulungi oba ebibala by’omu nnimiro ye ey’emizabbibu ebisingayo obulungi.
6 “Omuntu bw’anaakoleezanga omuliro ne gulanda ne gwokya obuti obw’amaggwa, ebinywa, ebirime, oba omusiri gw’ebirime gwonna, oyo anaabanga agukoleezezza anaaliwanga ebyo ebinaabanga byokeddwa.
7 “Omuntu bw’anaateresanga munne ssente oba ebintu ne babibbira mu nnyumba ye, omubbi bw’azuulibwanga, anaaliwanga ekikubisaamu emirundi ebiri.+
8 Naye omubbi bw’ataazuulibwenga, nnannyini nnyumba anaatwalibwanga mu maaso ga Katonda ow’amazima+ okusobola okumanya obanga ye yatwala ebintu* bya munne.
9 Bwe wabangawo enkaayana wakati w’abantu ababiri ezikwata ku nte, endogoyi, endiga, olugoye oba ekintu ekirala kyonna ekyabula, omu ku bo ng’agamba nti: “Kino kyange!” Ensonga zaabwe banaazitwalanga mu maaso ga Katonda ow’amazima.+ Oyo Katonda gw’anaagambanga nti y’aliko omusango, anaaliyiriranga munne ebikubisaamu emirundi ebiri.+
10 “Omuntu bw’anaawanga munne endogoyi, ente, endiga, oba ensolo yonna ey’awaka okugimukuumira, n’efa oba n’etuukibwako akabi oba n’etwalibwa nga tewali alaba,
11 gwe baagiwa alayiranga mu maaso ga Yakuwa nti teyatwala* bintu bya munne; nnannyini yo akkirizanga era gwe baagiwa taaliwenga.+
12 Naye bw’eba nga yamubbibwako, anaaliyiriranga nnannyini yo.
13 Bw’eba nga yataagulwataagulwa ensolo ey’omu nsiko, agireetanga n’eba obujulizi. Taaliyirirenga kintu ekitaaguddwataaguddwa ensolo ey’omu nsiko.
14 “Omuntu bw’aneeyazikanga ensolo ku munne n’etuukibwako akabi oba n’efa nga nnannyini yo tali nayo, oyo anaabanga agyeyazise anaaliwanga.
15 Naye nnannyini nsolo eyo bw’anaabanga nayo, eyagyeyazika taaliwenga. Bw’eba nga yali mpangise, ssente ez’okugipangisa ze zokka ezinaasasulwanga.
16 “Omusajja bw’asendasendanga omuwala embeerera nga tewali yali amulagaanyizza kumuwasa, ne yeegatta naye, asasulanga ebintu ebyetaagibwa okusobola okumuwasa n’amutwala abeere mukazi we.+
17 Kitaawe w’omuwala bw’agaaniranga ddala okumumuwa, omusajja oyo asasulanga ssente ezenkana n’ezo ezisasulwa okuwasa omukazi.
18 “Omukazi omulogo omuttanga.+
19 “Omuntu yenna aneebakanga n’ensolo anattibwanga.+
20 “Omuntu anaawangayo ssaddaaka eri katonda omulala atali Yakuwa, anaazikirizibwanga.+
21 “Toyisanga bubi omugwira era tomunyigirizanga,+ kubanga nammwe mwali bagwira mu nsi ya Misiri.+
22 “Temubonyaabonyanga nnamwandu oba omwana atalina kitaawe.*+
23 Bwe munaababonyaabonyanga ne bankaabirira, siiremenga kuwulira kukaaba kwabwe;+
24 obusungu bwange bujja kubuubuuka, era nja kubatta n’ekitala, bakazi bammwe bafuuke bannamwandu n’abaana bammwe babeere nga tebalina bakitaabwe.
25 “Bw’owolanga ssente omu ku bantu bange omwavu,* abeera mu mmwe, tobeeranga ng’omuwozi wa ssente. Tomusabanga magoba.+
26 “Bw’oggyanga ku munno ekyambalo kye okuba omusingo,+ okimuddizanga ng’enjuba tennagwa.
27 Kubanga kye ky’okwebikka kyokka ky’alina; lwe lugoye olubikka omubiri gwe;* aneebikka ki?+ Bw’anankaabirira, nja kumuwulira kubanga ndi musaasizi.*+
28 “Tovvoolanga* Katonda+ era tokolimiranga mwami* yenna mu bantu bo.+
29 “Tolonzalonzanga kuwaayo ku birime by’onoobanga obazizza ne ku bungi bw’ebyo ebiva mu masogolero go.*+ Omubereberye mu baana bo ab’obulenzi onoomumpanga.+
30 Bw’oti bw’onookolanga omwana gw’ente zo n’ogw’endiga zo omubereberye:+ Gunaabanga ne nnyina waagwo okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omunaana n’olyoka ogumpa.+
31 “Mubenga batukuvu mu maaso gange;+ temulyanga nnyama ya kintu kyonna ekitaaguddwataaguddwa ensolo ey’omu nsiko.+ Mugiwanga embwa.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “yateeka omukono ku bintu.”
^ Obut., “teyateeka mukono ku.”
^ Oba, “mulekwa.”
^ Oba, “abonaabona.”
^ Obut., “olususu lwe.”
^ Oba, “wa kisa.”
^ Obut., “Tokolimiranga.”
^ Oba, “omufuzi.”
^ Amasogolero ag’amafuta g’ezzeyituuni n’ag’omwenge.