Okuva 20:1-26
20 Awo Katonda n’ayogera ebigambo bino byonna:+
2 “Nze Yakuwa Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu.+
3 Tobanga na bakatonda balala okuggyako nze.+
4 “Teweekoleranga kifaananyi ekyole oba ekintu kyonna ekyefaanaanyiriza ekintu ekiri waggulu ku ggulu oba ekiri wansi ku nsi oba ekiri mu mazzi agali ku nsi.+
5 Tobivunnamiranga era tosendebwasendebwanga kubiweereza,+ kubanga nze Yakuwa Katonda wo, ndi Katonda ayagala abantu okunneemalirako,+ abonereza abaana n’abazzukulu n’abaana b’abazzukulu olw’ensobi za bakitaabwe abankyawa,
6 naye alaga okwagala okutajjulukuka okutuukira ddala ku mulembe ogw’olukumi ogw’abo abanjagala era abakwata ebiragiro byange.+
7 “Tokozesanga linnya lya Yakuwa Katonda wo mu ngeri etasaana,+ kubanga Yakuwa talirema kubonereza oyo yenna akozesa erinnya lye mu ngeri etasaana.+
8 “Jjukiranga okukwata olunaku lwa Ssabbiiti era olutwalanga nga lutukuvu.+
9 Emirimu gyo gyonna ojja kugikoleranga mu nnaku mukaaga,+
10 naye olunaku olw’omusanvu ssabbiiti eri Yakuwa Katonda wo. Tokolanga mulimu gwonna, ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuddu wo omusajja, wadde omuddu wo omukazi, wadde ensolo yo, wadde omugwira ali mu bibuga* byo.+
11 Kubanga mu nnaku mukaaga Yakuwa mwe yakolera eggulu n’ensi n’ennyanja ne byonna ebibirimu, n’awummula ku lunaku olw’omusanvu.+ Yakuwa kyeyava awa olunaku lwa Ssabbiiti omukisa era n’alufuula lutukuvu.
12 “Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa,+ olyoke owangaalire mu nsi Yakuwa Katonda wo gy’agenda okukuwa.+
13 “Tottanga.+
14 “Toyendanga.+
15 “Tobbanga.+
16 “Toyogeranga eby’obulimba ng’owa obujulizi ku muntu omulala.+
17 “Teweegombanga nnyumba ya munno. Teweegombanga mukazi wa munno,+ newakubadde omuddu we omusajja, newakubadde omuddu we omukazi, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde ekintu kyonna eky’omuntu omulala.”+
18 Abantu bonna bwe baawulira okubwatuka kw’eggulu n’okuvuga kw’eŋŋombe era ne balaba okumyansa, n’olusozi nga lunyooka, ne bakankana era ne bayimirira wala.+
19 Ne bagamba Musa nti: “Ggwe oba oyogera naffe, tujja kukuwuliriza, naye Katonda k’aleme kwogera naffe kubanga tujja kufa.”+
20 Awo Musa n’agamba abantu nti: “Temutya, kubanga Katonda ow’amazima azze okubagezesa,+ mulyoke mumutyenga muleme okwonoona.”+
21 Abantu ne basigala nga bayimiridde wala, naye Musa n’asemberera ekire ekikutte Katonda ow’amazima mwe yali.+
22 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Bw’oti bw’oba ogamba Abayisirayiri: ‘Mmwe mmwennyini mukirabye nti njogedde nammwe nga nnyima mu ggulu.+
23 Temwekoleranga bakatonda aba ffeeza oba aba zzaabu, kubanga temulina kuba na bakatonda balala okuggyako nze.+
24 Ononkolera ekyoto eky’ettaka, kw’onooweerangayo ebiweebwayo byo ebyokebwa ne ssaddaaka zo ez’emirembe, endiga zo n’ente zo. Mu buli kifo kye ndironda erinnya lyange okujjuukirirwangamu,+ ndijja gy’oli era ndikuwa omukisa.
25 Bw’onzimbiranga ekyoto eky’amayinja tokozesanga mayinja agatemeddwa.+ Kubanga singa okitemesaako ensinjo, ojja kuba okifudde ekitali kirongoofu.
26 Tolinnyanga madaala ng’ogenda ku kyoto kyange, oleme okukikunamira.’
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “miryango.”