Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuva

Essuula

Ebirimu

  • 1

    • Abayisirayiri beeyongera obungi mu Misiri (1-7)

    • Falaawo abonyaabonya Abayisirayiri (8-14)

    • Abakazi abazaalisa abatya Katonda bawonyaawo abaana abawere (15-22)

  • 2

    • Okuzaalibwa kwa Musa (1-4)

    • Muwala wa Falaawo afuula Musa mutabani we (5-10)

    • Musa addukira e Midiyaani era awasa Zipola (11-22)

    • Katonda awulira okukaaba kw’Abayisirayiri (23-25)

  • 3

    • Musa ng’ali awali ekisaka ekyaka omuliro (1-12)

    • Yakuwa annyonnyola amakulu g’erinnya lye (13-15)

    • Yakuwa awa Musa ebiragiro (16-22)

  • 4

    • Obubonero busatu Musa bw’alina okukola (1-9)

    • Musa yeenyooma (10-17)

    • Musa addayo e Misiri (18-26)

    • Musa ne Alooni baddamu okulabagana (27-31)

  • 5

    • Musa ne Alooni bagenda mu maaso ga Falaawo (1-5)

    • Okunyigirizibwa kweyongera (6-18)

    • Abayisirayiri banenya Musa ne Alooni (19-23)

  • 6

    • Katonda addamu okusuubiza okubanunula (1-13)

      • Amakulu g’erinnya lya Yakuwa tegaamanyibwa (2, 3)

    • Olunyiriri lw’obuzaale bwa Musa ne Alooni (14-27)

    • Musa wa kuddamu okugenda mu maaso ga Falaawo (28-30)

  • 7

    • Yakuwa agumya Musa (1-7)

    • Omuggo gwa Alooni gufuuka omusota omunene (8-13)

    • Ekibonyoobonyo 1: amazzi gafuuka omusaayi (14-25)

  • 8

    • Ekibonyoobonyo 2: ebikere (1-15)

    • Ekibonyoobonyo 3: obutugu (16-19)

    • Ekibonyoobonyo 4: kawawa (20-32)

  • 9

    • Ekibonyoobonyo 5: ebisolo bifa (1-7)

    • Ekibonyoobonyo 6: amayute ku bantu ne ku bisolo (8-12)

    • Ekibonyoobonyo 7: omuzira (13-35)

      • Falaawo wa kulaba amaanyi ga Katonda (16)

      • Erinnya lya Yakuwa lya kulangirirwa (16)

  • 10

    • Ekibonyoobonyo 8: enzige (1-20)

    • Ekibonyoobonyo 9: ekizikiza (21-29)

  • 11

    • Ekibonyoobonyo eky’ekkumi kirangirirwa (1-10)

      • Abayisirayiri ba kusaba ebintu (2)

  • 12

    • Okuyitako kutandikibwawo (1-28)

      • Omusaayi gwa kumansirwa ku myango (7)

    • Ekibonyoobonyo 10: ababereberye battibwa (29-32)

    • Okusitula okuva e Misiri (33-42)

      • Enkomerero y’emyaka 430 (40, 41)

    • Baweebwa obulagirizi obukwata ku Kuyitako (43-51)

  • 13

    • Buli kibereberye ekisajja kya Yakuwa (1, 2)

    • Embaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse (3-10)

    • Buli kibereberye ekisajja kya kuweebwa Katonda (11-16)

    • Abayisirayiri balagirwa okwolekera oluuyi olw’Ennyanja Emmyufu (17-20)

    • Empagi y’ekire n’ey’omuliro (21, 22)

  • 14

    • Abayisirayiri batuuka ku nnyanja (1-4)

    • Falaawo awondera Abayisirayiri (5-14)

    • Abayisirayiri basomoka Ennyanja Emmyufu (15-25)

    • Amazzi gabuutikira Abamisiri (26-28)

    • Abayisirayiri bakkiririza mu Yakuwa (29-31)

  • 15

    • Oluyimba lwa Musa n’Abayisirayiri olw’obuwanguzi (1-19)

    • Miriyamu ayimba (20, 21)

    • Amazzi agakaawa gafuuka amalungi (22-27)

  • 16

    • Abantu beemulugunya olw’emmere (1-3)

    • Yakuwa awulira okwemulugunya (4-12)

    • Baweebwa obugubi n’emmaanu (13-21)

    • Ku Ssabbiiti tewaabangawo mmaanu (22-30)

    • Emmaanu eterekebwa okuba ekijjukizo (31-36)

  • 17

    • Okwemulugunya olw’okubulwa amazzi e Kolebu (1-4)

    • Amazzi gava mu lwazi (5-7)

    • Abamaleki balumba era bawangulwa (8-16)

  • 18

    • Yesero ne Zipola batuuka (1-12)

    • Yesero awa amagezi okulonda abalamuzi (13-27)

  • 19

    • Ku Lusozi Sinaayi (1-25)

      • Isirayiri ya kuba bwakabaka bwa bakabona (5, 6)

      • Abantu batukuzibwa okugenda mu maaso ga Katonda (14, 15)

  • 20

    • Amateeka Ekkumi (1-17)

    • Ebintu ebyewuunyisa bireetera Abayisirayiri okutya (18-21)

    • Ebiragiro ebikwata ku kusinza (22-26)

  • 21

    • Amateeka eri Abayisirayiri (1-36)

      • Agakwata ku baddu Abebbulaniya (2-11)

      • Agakwata ku bikolwa eby’obukambwe ku bantu (12-27)

      • Agakwata ku bisolo (28-36)

  • 22

    • Ennamula y’emisango mu Isirayiri (1-31)

      • Ku bubbi (1-4)

      • Ng’ebirime byonooneddwa (5, 6)

      • Ku kuliyirirwa n’obwannannyini (7-15)

      • Ng’omusajja asenzesenze omuwala (16, 17)

      • Ku kusinza n’okuyisa abalala mu bwenkanya (18-31)

  • 23

    • Amateeka eri Isirayiri (1-19)

      • Ku kuba omwesigwa n’okuba omwenkanya (1-9)

      • Ku ssabbiiti n’embaga endala (10-19)

    • Malayika akulemberamu Abayisirayiri (20-26)

    • Ensi n’ensalo zaayo (27-33)

  • 24

    • Abantu bakkiriza okukuuma endagaano (1-11)

    • Musa ku Lusozi Sinaayi (12-18)

  • 25

    • Okuwaayo ku lwa weema entukuvu (1-9)

    • Essanduuko (10-22)

    • Emmeeza (23-30)

    • Ekikondo ky’ettaala (31-40)

  • 26

    • Weema entukuvu (1-37)

      • Emitanda gya weema (1-14)

      • Fuleemu n’obutoffaali obulimu ebituli (15-30)

      • Entimbe (31-37)

  • 27

    • Ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa (1-8)

    • Oluggya (9-19)

    • Amafuta ag’omu ttaala (20, 21)

  • 28

    • Ebyambalo bya bakabona (1-5)

    • Efodi (6-14)

    • Eky’omu kifuba (15-30)

      • Ulimu ne Sumimu (30)

    • Ekizibaawo ekitaliiko mikono (31-35)

    • Ekiremba n’akabaati aka zzaabu (36-39)

    • Ebyambalo bya bakabona ebirala (40-43)

  • 29

    • Okutongoza bakabona (1-37)

    • Ebiweebwayo ebya buli lunaku (38-46)

  • 30

    • Ekyoto eky’obubaani (1-10)

    • Okubala abantu ne ssente ez’okutangirira (11-16)

    • Ebbenseni ey’ekikomo ey’okunaabiramu (17-21)

    • Amafuta amatukuvu (22-33)

    • Engeri y’okukolamu obubaani obutukuvu (34-38)

  • 31

    • Abakozi abakugu bajjuzibwa omwoyo gwa Katonda (1-11)

    • Ssabbiiti, kabonero wakati wa Katonda ne Isirayiri (12-17)

    • Ebipande by’amayinja ebibiri (18)

  • 32

    • Okusinza ennyana eya zzaabu (1-35)

      • Musa awulira okuyimba okutali kwa bulijjo (17, 18)

      • Musa amenya ebipande by’amayinja okuli amateeka (19)

      • Abaleevi baba ku ludda lwa Yakuwa (26-29)

  • 33

    • Obubaka bwa Katonda obw’okukangavvula (1-6)

    • Weema ey’okusisinkaniramu ebweru w’olusiisira (7-11)

    • Musa asaba okulaba ekitiibwa kya Yakuwa (12-23)

  • 34

    • Ebipande by’amayinja ebirala biteekebwateekebwa (1-4)

    • Musa alaba ekitiibwa kya Yakuwa (5-9)

    • Ebiri mu ndagaano biddibwamu (10-28)

    • Musa ayakaayakana mu maaso (29-35)

  • 35

    • Ebiragiro ebikwata ku Ssabbiiti (1-3)

    • Okuwaayo ebya weema entukuvu (4-29)

    • Bezaleeri ne Okoliyaabu bajjuzibwa omwoyo (30-35)

  • 36

    • Bawaayo ebisusse ku byetaagibwa (1-7)

    • Okuzimba weema entukuvu (8-38)

  • 37

    • Okukola Essanduuko (1-9)

    • Emmeeza (10-16)

    • Ekikondo ky’ettaala (17-24)

    • Ekyoto eky’obubaani (25-29)

  • 38

    • Ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa (1-7)

    • Ebbenseni ey’ekikomo (8)

    • Oluggya (9-20)

    • Olukalala lw’ebintu bya weema entukuvu (21-31)

  • 39

    • Okukola ebyambalo bya bakabona (1)

    • Efodi (2-7)

    • Eky’omu kifuba (8-21)

    • Ekizibaawo ekitaaliko mikono (22-26)

    • Ebyambalo bya bakabona ebirala (27-29)

    • Akabaati aka zzaabu (30, 31)

    • Musa yeekenneenya weema entukuvu (32-43)

  • 40

    • Okusimba weema entukuvu (1-33)

    • Ekitiibwa kya Yakuwa kijjula weema entukuvu (34-38)