Okubala 21:1-35

  • Kabaka wa Aladi awangulwa (1-3)

  • Omusota ogw’ekikomo (4-9)

  • Abayisirayiri beetooloola Mowaabu (10-20)

  • Sikoni, kabaka w’Abaamoli awangulwa (21-30)

  • Ogi, kabaka w’Abaamoli awangulwa (31-35)

21  Awo kabaka Omukanani ow’e Aladi+ eyali abeera mu Negebu bwe yawulira nti Abayisirayiri baali bazze nga bayitidde mu kkubo ery’e Asalimu, n’abalumba era n’awambako abamu ku bo.  Abayisirayiri ne beeyama eri Yakuwa nga bagamba nti: “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, tujja kuzikiririza ddala ebibuga byabwe.”  Yakuwa n’awuliriza eddoboozi lyabwe bw’atyo n’awaayo Abakanani, ne babazikiriza era n’ebibuga byabwe ne babizikiriza. Ekifo ekyo ne bakituuma Koluma.*+  Bwe baali batambula nga bava ku Lusozi Kooli+ nga bakutte ekkubo erigenda ku Nnyanja Emmyufu baleme okuyita mu nsi ya Edomu,+ abantu ne batandika okukoowa olw’olugendo.  Abantu ne beemulugunya ku Katonda ne ku Musa+ nga bagamba nti: “Lwaki mwatuggya e Misiri tufiire eno mu ddungu? Tewali mmere wadde amazzi,+ era twetamiddwa emmere eno enyoomebwa.”+  Yakuwa n’asindika emisota egy’obusagwa* mu bantu ne gibabojja, era Abayisirayiri bangi ne bafa.+  Awo abantu ne bajja eri Musa ne bamugamba nti: “Twonoonye kubanga twogedde bubi ku Yakuwa ne ku ggwe.+ Twegayiririre Yakuwa atuggyeko emisota.” Awo Musa ne yeegayirira ku lw’abantu.+  Yakuwa n’agamba Musa nti: “Kola omusota ogufaanana omusota ogw’obusagwa,* oguwanike ku kikondo. Omuntu yenna bw’anaabojjebwa, alina okugutunuulira asobole okusigala nga mulamu.”  Amangu ago Musa n’akola omusota ogw’ekikomo+ n’aguwanika ku kikondo;+ era omusota bwe gwabojjanga omuntu, omuntu oyo n’atunula ku musota ogw’ekikomo ng’asigala mulamu.+ 10  Oluvannyuma Abayisirayiri ne batambula ne bagenda basiisira mu Obosi.+ 11  Ne bava mu Obosi ne basiisira mu Yiye-abalimu,+ mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba. 12  Ne bava eyo ne basiisira mu Kiwonvu Zeredi.+ 13  Ne bava eyo ne basiisira mu kitundu kya Alunoni,+ ekiri mu ddungu erituuka ku nsalo y’Abaamoli; Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, wakati wa Mowaabu n’Abaamoli. 14  Eno ye nsonga lwaki ekitabo ky’Entalo za Yakuwa kyogera ku “Vakebu ekiri mu Sufa, Ekiwonvu Alunoni; 15  Ekiwonvu ekyo kigendera ddala okwolekera ekibuga Ali era kiyita ne ku nsalo ya Mowaabu.” 16  Ne bava eyo ne bagenda e Beeri. Olwo lwe luzzi Yakuwa lwe yayogerako ng’agamba Musa nti: “Kuŋŋaanya abantu mbawe amazzi.” 17  Mu kiseera ekyo Isirayiri yayimba oluyimba luno: “Fubutukayo ggwe oluzzi! Muluyimbire! 18  Oluzzi abaami lwe baasima, abakungu mu bantu lwe baasima,Baalusimisa muggo gw’oyo afuga era n’emiggo gyabwe gyennyini.” Awo ne bava mu ddungu ne bagenda e Matana. 19  Ne bava e Matana ne bagenda e Nakaliyeri, ne bava e Nakaliyeri ne bagenda e Bamosi.+ 20  Ne bava e Bamosi ne bagenda mu kiwonvu ekiri mu nsi ya Mowaabu,+ ku ntikko ya Pisuga,+ era entikko eyo etunudde mu Yesimoni.*+ 21  Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abaamoli ng’agamba nti:+ 22  “Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetujja kukyama mu nnimiro oba mu lusuku lwa mizabbibu. Tetujja kunywa mazzi mu luzzi lwonna. Tujja kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka okutuusa lwe tunaayita mu nsi yo.”+ 23  Naye Sikoni teyakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye, wabula yakuŋŋaanya abantu be bonna n’agenda okwaŋŋanga Isirayiri mu ddungu, n’atuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri.+ 24  Kyokka Isirayiri n’amuwangula ng’akozesa ekitala+ era n’atwala ensi+ ye okuva ku Alunoni+ okutuuka ku Yabboki,+ okuliraana Abaamoni; kubanga Yazeri+ kiri ku nsalo y’ensi y’Abaamoni.+ 25  Bw’atyo Isirayiri n’atwala ebibuga bino byonna, era Abayisirayiri ne batandika okubeera mu bibuga byonna eby’Abaamoli,+ mu Kesuboni n’obubuga bwonna obukyetoolodde. 26  Kesuboni kyali kibuga kya Sikoni kabaka w’Abaamoli eyalwana ne kabaka wa Mowaabu n’amutwalako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni. 27  Kino kye kyaviirako enjogera ey’okuyeeya egamba nti: “Jjangu e Kesuboni. Ekibuga kya Sikoni ka kizimbibwe era kinywezebwe. 28  Kubanga omuliro guvudde mu Kesuboni, olulimi lw’omuliro luvudde mu kibuga kya Sikoni. Gwokezza Ali ekya Mowaabu, gwokezza abakulu b’ebifo ebigulumivu eby’omu Alunoni. 29  Zikusanze ggwe Mowaabu! Mujja kuzikirizibwa mmwe abantu ba Kemosi!+ Batabani be abafuula mmomboze ne bawala be abafuula bawambe ba Sikoni, kabaka w’Abaamoli. 30  Ka tubalase. Kesuboni kijja kuzikirizibwa okutuuka e Diboni;+Ka tukizikirize okutuuka e Nofa;Omuliro gujja kusaasaana gutuuke e Medeba.”+ 31  Bw’atyo Isirayiri n’atandika okubeera mu nsi y’Abaamoli. 32  Musa n’abaako abasajja b’atuma okuketta Yazeri.+ Ne bawamba obubuga obwali bukyetoolodde, ne bagobamu Abaamoli abaali babeeramu. 33  Oluvannyuma ne baweta ne bakwata ekkubo erigenda e Basani. Awo Ogi+ kabaka wa Basani n’ajja n’abantu be bonna okulwana nabo e Edereyi.+ 34  Yakuwa n’agamba Musa nti: “Tomutya+ kubanga ŋŋenda kumuwaayo mu mukono gwo,+ ye n’abantu be bonna n’ensi ye; era ojja kumukola nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abaamoli eyabeeranga mu Kesuboni.”+ 35  Awo ne bamutta awamu ne batabani be n’abantu be bonna, ne watasigalawo n’omu ku bantu be+ era ne batwala ensi ye.+

Obugambo Obuli Wansi

Litegeeza, “Okuzikiriza.”
Oba, “egy’omuliro.”
Oba, “ogw’omuliro.”
Obut., “kitundu.”