Matayo 1:1-25
1 Ekitabo ky’ebyafaayo* bya Yesu Kristo,* muzzukulu wa Dawudi,+ muzzukulu wa Ibulayimu:+
2 Ibulayimu yazaala Isaaka;+Isaaka n’azaala Yakobo;+Yakobo n’azaala Yuda+ ne baganda be;
3 Yuda n’azaala Pereezi ne Zeera+ mu Tamali;Pereezi n’azaala Kezulooni;+Kezulooni n’azaala Laamu;+
4 Laamu n’azaala Amminadaabu;Amminadaabu n’azaala Nakusoni;+Nakusoni n’azaala Salumooni;
5 Salumooni n’azaala Bowaazi mu Lakabu;+Bowaazi n’azaala Obedi mu Luusi;+Obedi n’azaala Yese;+
6 Yese n’azaala Dawudi+ kabaka.
Dawudi n’azaala Sulemaani+ mu muka Uliya;
7 Sulemaani n’azaala Lekobowaamu;+Lekobowaamu n’azaala Abiya;Abiya n’azaala Asa;+
8 Asa n’azaala Yekosafaati;+Yekosafaati n’azaala Yekolaamu;+Yekolaamu n’azaala Uzziya;
9 Uzziya n’azaala Yosamu;+Yosamu n’azaala Akazi;+Akazi n’azaala Keezeekiya;+
10 Keezeekiya n’azaala Manase;+Manase n’azaala Amoni;+Amoni n’azaala Yosiya;+
11 Yosiya+ n’azaala Yekoniya+ ne baganda be mu kiseera Abayudaaya we baawaŋŋangusibwa e Babulooni.+
12 Oluvannyuma lw’okuwaŋŋangusibwa e Babulooni Yekoniya yazaala Seyalutyeri;Seyalutyeri n’azaala Zerubbaberi;+
13 Zerubbaberi n’azaala Abiwuudi;Abiwuudi n’azaala Eriyakimu;Eriyakimu n’azaala Azoli;
14 Azoli n’azaala Zadooki;Zadooki n’azaala Akimu;Akimu n’azaala Eriwuudi;
15 Eriwuudi n’azaala Eriyazaali;Eriyazaali n’azaala Mataani;Mataani n’azaala Yakobo;
16 Yakobo n’azaala Yusufu bba wa Maliyamu, maama wa Yesu+ ayitibwa Kristo.+
17 Emirembe gyonna okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi gyali 14; okuva ku Dawudi okutuuka Abayudaaya lwe baawaŋŋangusibwa e Babulooni gyali emirembe 14; ate okuva lwe baawaŋŋangusibwa okutuuka ku Kristo gyali emirembe 14.
18 Okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti. Maliyamu nnyina bwe yali ng’aky’ayogerezebwa Yusufu, n’alabika ng’ali lubuto ku bw’omwoyo omutukuvu+ wadde nga baali tebannafumbiriganwa.
19 Kyokka, olw’okuba omwami we Yusufu yali musajja mutuukirivu era nga tayagala kumuswaza, yasalawo okumuleka, naye mu kyama.+
20 Kyokka ng’amaze okulowooza ku bintu ebyo, malayika wa Yakuwa* yamulabikira mu kirooto, n’amugamba nti: “Yusufu, mutabani wa Dawudi, totya kutwala mukazi wo Maliyamu mu maka go, kubanga ali lubuto ku bw’omwoyo omutukuvu.+
21 Ajja kuzaala omwana ow’obulenzi era ojja kumutuuma erinnya Yesu,*+ kubanga alirokola abantu be okuva mu bibi byabwe.”+
22 Ebyo byonna byabaawo okutuukiriza ekyo Yakuwa* kye yayogera okuyitira mu nnabbi we nti:
23 “Laba! Omuwala embeerera aliba olubuto; alizaala omwana ow’obulenzi era balimutuuma erinnya Emmanweri,”+ nga bwe liba livvuunuddwa litegeeza nti, “Katonda Ali Naffe.”+
24 Awo Yusufu n’azuukuka, n’atwala mukazi we eka nga malayika wa Yakuwa* bwe yamulagira.
25 Naye teyeegatta naye okutuusa lwe yamala okuzaala omwana ow’obulenzi;+ yamutuuma erinnya Yesu.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Masiya; Eyafukibwako Amafuta.”
^ Oba, “Olunyiriri lw’obuzaale.”
^ Wano erinnya lya Katonda, Yakuwa, we lisooka okulabikira mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo eby’Oluyonaani; lirimu emirundi 237. Laba Ebyong. A5.
^ Lirina amakulu ge gamu n’erinnya ery’Olwebbulaniya Yesuwa oba Yoswa, eritegeeza, “Yakuwa Bwe Bulokozi.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.