Lukka 1:1-80

  • Obubaka eri Tewofiro (1-4)

  • Gabulyeri ayogera ku kuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza (5-25)

  • Gabulyeri ayogera ku kuzaalibwa kwa Yesu (26-38)

  • Maliyamu akyalira Erizabeesi (39-45)

  • Maliyamu atendereza Yakuwa (46-56)

  • Yokaana azaalibwa era atuumibwa erinnya (57-66)

  • Obunnabbi bwa Zekkaliya (67-80)

1  Olw’okuba waliwo bangi abafubye okukuŋŋaanya ebigambo eby’amazima bye twakkiriza mu bujjuvu,+  nga bwe byatuweebwa abo abaalaba ebintu bino+ era abaalangirira obubaka okuva ku ntandikwa,+  ow’ekitiibwa Tewofiro+ nange nnasalawo okukuwandiikira ebintu bino nga bwe biddiriŋŋana, kubanga nnabinoonyerezako n’obwegendereza okuviira ddala ku ntandikwa yaabyo,  osobole okukakasa ebintu bye wayigirizibwa.+  Mu biseera bya Kerode,*+ kabaka wa Buyudaaya, waaliwo kabona ayitibwa Zekkaliya ow’omu kibinja kya Abiya.+ Mukazi we yali wa mu bawala ba Alooni, era yali ayitibwa Erizabeesi.  Bombi baali batuukirivu mu maaso ga Yakuwa,* olw’okuba baali bakwata ebiragiro bye byonna n’amateeka ge.  Kyokka tebaalina mwana, kubanga Erizabeesi yali mugumba, era bombi baali bakaddiye.  Awo bwe yali aweereza nga kabona mu maaso ga Katonda ng’oluwalo lw’ekibinja kye+ lutuuse,  n’alondebwa okuyitira mu kalulu ng’empisa ya bakabona bwe yabanga, okwotereza obubaani+ ng’ayingidde mu yeekaalu ya Yakuwa.*+ 10  Era ekibiina kyonna eky’abantu kyali bweru nga basaba mu kiseera eky’okwotereza obubaani. 11  Awo malayika wa Yakuwa* n’amulabikira ng’ayimiridde ku ludda olwa ddyo olw’ekyoto kwe booterereza obubaani. 12  Zekkaliya bwe yamulaba n’asoberwa, era n’atya nnyo. 13  Naye malayika n’amugamba nti: “Totya Zekkaliya kubanga okwegayirira kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erizabeesi ajja kukuzaalira omwana ow’obulenzi, era ojja kumutuuma Yokaana.+ 14  Ojja kusanyuka era ojaguze nnyo, era n’abalala bangi bajja kusanyuka olw’okuzaalibwa kwe,+ 15  kubanga aliba mukulu mu maaso ga Yakuwa.*+ Naye talina kunywa nvinnyo oba ekitamiiza kyonna.+ Alijjuzibwa omwoyo omutukuvu okuviira ddala mu lubuto lwa nnyina,+ 16  era alikomyawo abaana ba Isirayiri bangi eri Yakuwa, Katonda waabwe.+ 17  Ate era alimukulemberamu ng’alina omwoyo n’amaanyi nga Eriya bye yalina,+ azze emitima gya bakitaabwe b’abaana eri abaana baabwe,+ era n’abajeemu abasobozese okufuna amagezi ag’abatuukirivu, asobole okuteekerateekera Yakuwa* abantu abamusaanira.”+ 18  Awo Zekkaliya n’agamba malayika nti: “Kino nnyinza kukikakasiza ku ki? Kubanga nkaddiye era ne mukyala wange naye akaddiye.” 19  Malayika n’amugamba nti: “Nze Gabulyeri+ ayimirira mu maaso ga Katonda,+ era ntumiddwa okwogera naawe nkubuulire amawulire amalungi ag’ebintu bino. 20  Naye laba! ojja kuziba omumwa era tojja kusobola kwogera okutuusa ebintu bino lwe birituukirira olw’okuba tokkirizza bigambo byange ebijja okutuukirira mu kiseera ekigereke.” 21  Mu kiseera ekyo abantu baali balindirira Zekkaliya, era nga beewuunya lwaki yali aludde mu yeekaalu. 22  Naye bwe yafuluma n’atasobola kwogera nabo, ne bategeera nti waliwo ekintu ekitali kya bulijjo kye yali alabye* mu yeekaalu. Yabakolera bukolezi bubonero, naye n’asigala nga tayogera. 23  Awo ennaku ez’okuweereza kwe bwe zaggwaako, n’addayo ewuwe. 24  Nga wayiseewo ennaku ntono, Erizabeesi mukazi we yafuna olubuto; yamala emyezi etaano nga teyeeraga mu bantu, ng’agamba nti: 25  “Kino Yakuwa* ky’ankoledde mu nnaku zino. Antaddeko ebirowoozo n’anzigyako ekivume kye mbadde nakyo mu bantu.”+ 26  Mu mwezi ogw’omukaaga ng’ali lubuto, Katonda yatuma malayika Gabulyeri+ mu kibuga eky’e Ggaliraaya ekiyitibwa Nazaaleesi 27  eri Maliyamu,+ omuwala embeerera+ eyali ayogerezebwa Yusufu ow’omu nnyumba ya Dawudi. 28  Malayika bwe yajja gy’ali, n’amugamba nti: “Emirembe gibe naawe, ggwe asiimibwa ennyo; Yakuwa* ali naawe.” 29  Naye n’asoberwa olw’ebigambo bya malayika ebyo era n’atandika okwebuuza amakulu g’okulamusa okwo. 30  Malayika n’amugamba nti: “Totya Maliyamu, kubanga osiimiddwa mu maaso ga Katonda. 31  Laba! oliba olubuto era olizaala omwana ow’obulenzi+ era olimutuuma erinnya Yesu.+ 32  Oyo aliba mukulu+ era aliyitibwa Mwana w’Oyo Asingayo Okuba Waggulu;+ era Yakuwa* Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe;*+ 33  alifuga ennyumba ya Yakobo nga Kabaka emirembe gyonna, era Obwakabaka bwe tebuliggwaawo.”+ 34  Naye Maliyamu n’agamba malayika nti: “Kino kinaasoboka kitya nga sirina musajja gwe nneegatta naye?”+ 35  Malayika n’amugamba nti: “Omwoyo omutukuvu gulikujjako,+ era amaanyi g’Oyo Asingayo Okuba Waggulu galikujjako. N’olw’ensonga eyo, n’oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu,+ Mwana wa Katonda.+ 36  Era laba! Erizabeesi gw’olinako oluganda, ayitibwa omugumba, naye ali lubuto lwa mwana wa bulenzi, mu myaka gye egy’obukadde, era kati lwa myezi mukaaga; 37  kubanga eri Katonda, tewali kigambo* kitayinza kutuukirira.”+ 38  Awo Maliyamu n’agamba nti: “Laba! ndi muzaana wa Yakuwa!* Ka kibeere bwe kityo gye ndi nga bw’ogambye.” Awo malayika n’ava w’ali. 39  Mu nnaku ezo Maliyamu n’asituka n’agenda mangu mu kitundu eky’ensozi, mu kibuga eky’omu Yuda, 40  n’ayingira mu nnyumba ya Zekkaliya, n’alamusa Erizabeesi. 41  Erizabeesi bwe yawulira okulamusa kwa Maliyamu, omwana eyali mu lubuto lwe n’abuukabuuka, era Erizabeesi n’ajjuzibwa omwoyo omutukuvu, 42  n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Oli wa mukisa mu bakazi bonna, n’omwana gw’olizaala wa mukisa! 43  Nze ani okufuna enkizo ng’eno, okukyaza nnyina wa Mukama wange? 44  Laba! bwe mpulidde eddoboozi lyo ng’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange n’abuukabuuka olw’essanyu. 45  Era naawe eyakkiriza oli musanyufu, kubanga ebintu byonna Yakuwa* bye yakutegeeza bijja kutuukirira.” 46  Maliyamu n’agamba nti: “Ngulumiza Yakuwa,*+ 47  era omutima gwange gusanyukira nnyo Katonda Omulokozi wange;+ 48  kubanga alabye embeera y’omuzaana we omunaku.+ Okuva kati abantu ab’emirembe gyonna banampita musanyufu,+ 49  kubanga Oyo ow’amaanyi ankoledde ebikulu; erinnya lye ttukuvu,+ 50  era mu buli mulembe asaasira abo abamutya.+ 51  Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe; asaasaanyizza abo abooleka amalala mu mitima gyabwe.+ 52  Abantu ab’obuyinza abawanuddeyo ku ntebe zaabwe+ n’agulumiza abanaku;+ 53  abalumwa enjala abawadde ebintu ebirungi+ ne bakkuta, n’abo abaalina obugagga abagobye ne bagenda nga tebalina kantu. 54  Adduukiridde Isirayiri omuweereza we, okulaga nti ajjukira ekisuubizo kye+ eky’okusaasira 55  Ibulayimu n’ezzadde lye+ emirembe gyonna, nga bwe yagamba bajjajjaffe.” 56  Maliyamu n’amala naye emyezi ng’esatu, oluvannyuma n’addayo ewuwe. 57  Awo ekiseera kya Erizabeesi eky’okuzaala ne kituuka, era n’azaala omwana wa bulenzi. 58  Baliraanwa be n’ab’eŋŋanda ze ne bawulira nti Yakuwa* amulaze ekisa, era ne basanyukira wamu naye.+ 59  Ku lunaku olw’omunaana ne bajja okukomola omwana,+ era baali bagenda kumutuuma erinnya lya kitaawe, Zekkaliya. 60  Naye nnyina w’omwana n’agamba nti: “Nedda, ajja kuyitibwa Yokaana.” 61  Ne bamugamba nti: “Tewali n’omu ku b’eŋŋanda zo ayitibwa linnya eryo.” 62  Awo ne bakozesa obubonero ne babuuza taata w’omwana erinnya lye yali ayagala okumutuuma. 63  N’asaba ekipande, n’awandiikako nti: “Yokaana lye linnya lye.”+ Bonna ne beewuunya. 64  Amangu ago omumwa gwe ne guzibuka era n’olulimi lwe ne lusumulukuka n’atandika okwogera,+ n’atendereza Katonda. 65  Ab’omu kitundu kyabwe bonna ne batya era ebintu ebyo byonna ne bitandika okwogerwako mu kitundu kyonna eky’ensozi eky’e Buyudaaya. 66  Era abo bonna abaabiwulira ne babissa ku mitima gyabwe, ne bagamba nti: “Ddala omwana ono aliba muntu wa ngeri ki?” Kubanga omukono gwa Yakuwa* gwali naye. 67  Zekkaliya kitaawe n’ajjuzibwa omwoyo omutukuvu n’ayogera ebigambo eby’obunnabbi ng’agamba nti: 68  “Yakuwa* Katonda wa Isirayiri+ atenderezebwe, kubanga asaasidde abantu be n’abanunula.+ 69  Atuyimusirizza ejjembe ery’obulokozi*+ mu nnyumba ya Dawudi omuweereza we,+ 70  nga bwe yayogera okuyitira mu kamwa ka bannabbi be abatukuvu ab’edda;+ 71  okutulokola okuva eri abalabe baffe n’okuva eri abo bonna abatukyawa,+ 72  okutusaasira ku lwa bajjajjaffe era n’okujjukira endagaano ye entukuvu,+ 73  ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,+ 74  nti oluvannyuma lw’okutununula mu mikono gy’abalabe baffe, ajja kutuwa enkizo ey’okumuweereza awatali kutya, 75  nga tuli beesigwa era batuukirivu mu maaso ge ennaku zaffe zonna. 76  Naye ggwe omwana, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Asingayo Okuba Waggulu, kubanga olikulemberamu Yakuwa* okuteekateeka amakubo ge,+ 77  okumanyisa abantu be obubaka obw’okulokolebwa nga basonyiyibwa ebibi byabwe,+ 78  olw’obusaasizi bwa Katonda waffe. Olw’obusaasizi buno ekitangaala eky’oku makya ennyo okuva waggulu kijja kujja gye tuli, 79  okumulisiza abo abatudde mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa,+ n’okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.” 80  Omwana n’agenda ng’akula, era ne yeeyongera amaanyi mu mwoyo; n’abeeranga mu ddungu okutuusa ku lunaku lwe yeeraga eri abantu ba Isirayiri.

Obugambo Obuli Wansi

Laba Awanny.
Oba, “yali afunye okwolesebwa.”
Obut., “kitaawe.”
Oba, “kintu.”
Oba, “omulokozi ow’amaanyi.” Laba Awanny., “Ejjembe.”