Isaaya 38:1-22
38 Mu kiseera ekyo, Keezeekiya yalwala nnyo n’abulako katono okufa.+ Nnabbi Isaaya+ mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Wa ab’omu nnyumba yo ebiragiro, kubanga ogenda kufa; tojja kuwona.’”+
2 Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunula ku kisenge n’asaba Yakuwa ng’agamba nti:
3 “Ai Yakuwa, nkwegayiridde, jjukira+ bwe ntambulidde mu maaso go n’obwesigwa era n’omutima gwange gwonna,+ era nkoze ebirungi mu maaso go.” Awo Keezeekiya n’akaaba nnyo.
4 Yakuwa n’agamba Isaaya nti:
5 “Ddayo ogambe Keezeekiya nti,+ ‘Bw’ati Yakuwa, Katonda wa Dawudi jjajjaawo bw’agamba: “Mpulidde essaala yo+ era ndabye amaziga go.+ Obulamu bwo* nja kubwongerako emyaka emirala 15,+
6 era nja kukununula ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli, era nja kulwanirira ekibuga kino.+
7 Kano ke kabonero okuva eri Yakuwa okukulaga nti Yakuwa ajja kukola ekyo ky’agambye:+
8 Ekisiikirize ekiri ku madaala* ga Akazi nja kukizza emabega amadaala kkumi.”’”+ Awo ekisiikirize ekyali kisse ku madaala ne kiddayo emabega amadaala kkumi.
9 Bino bye bigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yawandiika bwe yalwala, oluvannyuma n’awona.
10 Nnagamba nti: “Mu makkati g’obulamu bwange
Nja kuyingira mu miryango gy’emagombe.*
Nja kuggibwako emyaka gyange egisigaddeyo.”
11 Nnagamba nti: “Siriraba Ya,* siriraba Ya mu nsi y’abalamu.+
Siriddayo kulaba bantuNga ndi wamu n’abo ababeera mu kifo ekitaliimu bulamu.
12 Ekifo mwe mbeera kiringa weema y’omusumbaEsimbuliddwayo n’etwalibwa.+
Obulamu bwange mbuzinzeeko ng’omulusi w’engoye bw’azingako olugoye lw’amalirizza okuluka;Ansalako ng’ewuzi eziri ku muti kwe balukira engoye.
Ommalirawo ddala+ okuva ku makya okutuusa obudde lwe buziba.
13 Mbeera mukkakkamu okutuusa ku makya.
Amenyaamenya amagumba gange gonna ng’empologoma;Ommalirawo ddala+ okuva ku makya okutuusa obudde lwe buziba.
14 Nkaaba+ ng’akataayi oba nga ssossolye;*Nkaaba ng’ejjiba.+
Amaaso gange gakooye olw’okutunula waggulu:+
‘Ai Yakuwa, ndi munakuwavu nnyo;Nnyamba!’+
15 Njogere ki?
Yayogera nange era n’abaako ky’akolawo.
Nja kutambula nga nneewombeese emyaka gyange gyonnaOlw’ennaku ennyingi gye nnina.
16 ‘Ai Yakuwa, olw’ebintu ebyo* buli muntu abeera mulamu,Era mu byo mwe muli obulamu bw’omwoyo gwange.
Ojja kumponya era onkuume nga ndi mulamu.+
17 Laba! Mu kifo ky’okuba n’emirembe nnalina obulumi obw’amaanyi;Naye olw’okwagala kw’olina gye ndi,Wamponya ekinnya eky’okuzikirira.+
Ebibi byange byonna obisudde emabega wo.*+
18 Amagombe* tegasobola kukugulumiza,+Okufa tekusobola kukutendereza.+
Abo abakka mu kinnya tebasobola kuba na ssuubi mu bwesigwa bwo.+
19 Abalamu, abalamu be basobola okukutenderezaNga bwe nkutendereza leero.
Taata asobola okubuulira abaana be ebikwata ku bwesigwa bwo.+
20 Ai Yakuwa, ndokola,Era tujja kuyimba ennyimba zange nga tukuba ebivuga eby’enkoba+Ennaku zonna ze tunaamala nga tuli balamu mu nnyumba ya Yakuwa.’”+
21 Awo Isaaya n’agamba nti: “Muleete ekitole ky’ettiini ekkalu mukiteeke ku jjute asobole okuwona.”+
22 Keezeekiya yali abuuzizza nti: “Kabonero ki akalaga nti nja kugenda ku nnyumba ya Yakuwa?”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Ennaku zo.”
^ Kirabika amadaala gano gaakozesebwanga okubala essaawa.
^ “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “ŋŋaali.”
^ Kwe kugamba, ebigambo bya Katonda n’ebikolwa bye.
^ Oba, “ebibi byange byonna obiggye mu maaso go.”