Isaaya 28:1-29
28 Zisanze engule* y’abatamiivu ba Efulayimu+ ey’okweraga*N’ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bwayo obw’ekitiibwaEkiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu eky’abo abatamidde omwenge!
2 Laba! Yakuwa alina omuntu ow’amaanyi.
Ng’enkuba erimu omuzira n’okubwatuka, nga kibuyaga ow’amaanyi ayonoona ebintu,Ng’enkuba erimu okubwatuka, ereeta amataba ag’amaanyi,Aligikkata ku ttaka.
3 Engule z’abatamiivu ba Efulayimu ez’okweraga*Ziririnnyirirwa n’ebigere.+
4 N’ekimuli ekiwotoka eky’obulungi bwayo obw’ekitiibwa,Ekiri ku mutwe gw’ekiwonvu ekigimu,Kiriba ng’ettiini erisooka okwengera ng’ekiseera eky’omusana tekinnatandika.
Omuntu bw’aliraba alinoga n’alimira mangu ddala.
5 Ku lunaku olwo Yakuwa ow’eggye alifuuka ngule ey’ekitiibwa era omuge ogulabika obulungi eri abantu be abaliba basigaddewo.+
6 Era oyo atuula okulamula alimuwa omwoyo gw’obwenkanya, n’abo abaziyiza abalabe ababa bazze okulumba ku mulyango alibawa amaanyi.+
7 Ne bano bawaba olw’omwenge;Emyenge gyabwe gibaleetera okutagala.
Kabona ne nnabbi bawaba olw’omwenge;Omwenge gubatabulatabula,Era batagala olw’omwenge gwabwe;Okwolesebwa kwabwe kubawabya,Era tebasalawo bulungi.+
8 Emmeeza zaabwe zijjudde ebisesemye—Biri buli wamu.
9 Bagamba nti: “Ani gw’anaayigiriza,Era ani gw’anannyonnyola obubaka?
Abo abaakava ku mata?
Abo abaakaggibwa ku mabeere?
10 Kubanga buli kiseera agamba nti: ‘Kiragiro ku kiragiro, kiragiro ku kiragiro,Lunyiriri ku lunyiriri, lunyiriri ku lunyiriri,*+Wano katono, na wali katono.’”
11 Alyogera n’abantu bano ng’akozesa abo abananaagira era aboogera olulimi olugwira.+
12 Lumu yabagamba nti: “Kino kye kifo eky’okuwummuliramu. Oyo akooye k’awummule; kino kye kifo eky’okuddiramu obuggya,” naye ne bagaana okuwuliriza.+
13 N’olwekyo ekigambo kya Yakuwa gye bali kiriba kiti:
“Kiragiro ku kiragiro, kiragiro ku kiragiro,Lunyiriri ku lunyiriri, lunyiriri ku lunyiriri,*+Wano katono, na wali katono,”
Ne kiba nti bwe balitambula,Balyesittala ne bagwa kya bugaziNe bamenyeka era ne bagwa mu mutego ne bakwatibwa.+
14 N’olwekyo muwulire ekigambo kya Yakuwa mmwe abeewaana,Mmwe abafuga abantu bano abali mu Yerusaalemi,
15 Kubanga mugamba nti:
“Twakola endagaano n’Okufa,+Era twalagaana n’amagombe.*
Mukoka ow’amaanyi bw’alikulugguka,Talitutuukako,Kubanga obulimba twabufuula kiddukiro kyaffeEra mu bulimba mwe twekwese.”+
16 N’olwekyo bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba:
“Laba nteeka mu Sayuuni ejjinja eryagezesebwa, libeere omusingi,+Ejjinja ery’omuwendo ery’oku nsonda,+ ery’omusingi omunywevu.+
Tewali n’omu alikkiririzaamu alitiitiira.+
17 Obwenkanya ndibufuula omuguwa ogupima+N’obutuukirivu ndibufuula ekikozesebwa okupima obutereevu bw’ekintu.*+
Omuzira gulisaanyaawo ekiddukiro eky’obulimba,Era amazzi galyanjaala mu kifo eky’okwekwekamu.
18 Endagaano gye mwakola n’Okufa erijjululwa,Era endagaano gye mwakola n’amagombe* eriggwaawo.+
Mukoka ow’amaanyi bw’alikulugguka,Alibasesebbula.
19 Buli lw’alikulugguka,Alibatwala;+Kubanga alikulugguka buli ku makya,Alikulugguka emisana n’ekiro.
Ntiisa yokka y’eribaleetera okutegeera ebyawulirwa.”*
20 Kubanga ekitanda kimpi nnyo omuntu okukyegololerako,N’eky’okwebikka kifunda nnyo omuntu okukyezingamu.
21 Yakuwa aliyimuka nga bwe yakola ku Lusozi Perazimu;Aligolokoka nga bwe yakola mu kiwonvu okumpi ne Gibiyoni,+Asobole okukola ekikolwa kye—ekikolwa kye ekitali kya bulijjo—Era asobole okukola omulimu gwe—omulimu gwe ogutali gwa bulijjo.+
22 Kale nno temuseka,+Enjegere ezibasibye zireme okwongera okunywezebwa,Kubanga mpulidde okuva eri Mukama Afuga Byonna, Yakuwa ow’eggyeNti kisaliddwawo nti ensi eno yonna* egenda kuzikirizibwa.+
23 Mutege amatu muwulire eddoboozi lyange;Musseeyo omwoyo muwulirize kye ŋŋamba.
24 Omulimi amala ekiseera kyonna ng’atema amavuunike,Ng’akabala era ng’akuba ettaka naye n’atasiga nsigo?+
25 Bw’amala okuttaanya ettaka,Tamansa kkumino omuddugavu era n’asiga kkumino,Era tasimba eŋŋaano n’obulo ne ssayiri mu bifo byabyoN’eŋŋaano endala*+ ku nsalosalo?
26 Katonda ayigiriza* omuntu ekkubo ettuufu;Katonda we amuyigiriza.+
27 Kubanga kkumino omuddugavu tebamuwuula nga bakozesa ekyuma ekiwuula,+Era nnamuziga y’ekigaali teyisibwa ku kkumino.
Wabula kkumino omuddugavu awuulibwa na muggo,Ne kkumino naye awuulibwa na muggo.
28 Omuntu asekula emmere ey’empeke okusobola okukolamu omugaati?
Nedda, tagiwuula butaddiriza;+Era bw’agiyisaako nnamuziga y’ekigaali kye ng’akozesa embalaasi,Tagibetenta.+
29 Kino nakyo kiva eri Yakuwa ow’eggye,Awa amagezi ag’ekitaloEra akola ebintu eby’ekitalo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Kirabika, Samaliya, ekibuga ekikulu, kye kyogerwako wano.
^ Oba, “ey’amalala.”
^ Oba, “ez’amalala.”
^ Oba, “Omuguwa ogupima ku muguwa ogupima, omuguwa ogupima ku muguwa ogupima.”
^ Oba, “Omuguwa ogupima ku muguwa ogupima, omuguwa ogupima ku muguwa ogupima.”
^ Oba, “bbirigi.”
^ Oba, “Bwe balitegeera, balifuna entiisa.”
^ Oba, “ensi yonna.”
^ Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunuddwa nga “eŋŋaano endala” kitegeeza ekika ky’eŋŋaano etaali nnungi nnyo eyalimwanga edda mu Misiri.
^ Oba, “akangavvula; abonereza.”