Isaaya 27:1-13

  • Yakuwa atta Leviyasani (1)

  • Oluyimba olukwata ku Isirayiri, ennimiro y’emizabbibu (2-13)

27  Ku lunaku olwo Yakuwa alikozesa ekitala ekyogi ekinene era eky’amaanyi+Okubonereza Leviyasani,* omusota oguseeyeeya,Okubonereza Leviyasani, omusota ogwenyoolanyoola,Era alitta ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja.   Ku lunaku olwo mumuyimbiranga* nti: “Ennimiro y’emizabbibu ey’omwenge ogubimba!+   Nze Yakuwa, mmukuuma.+ Buli kiseera mmufukirira.+ Mmukuuma ekiro n’emisana,Waleme kubaawo amukolako kabi.+   Sirina busungu.+ Ani alijja okunnwanyisa ng’akutte omuddo n’obuti obw’amaggwa? Ndibirinnyirira ne mbikumako omuliro byonna.   Mu kifo ky’okukola bw’atyo, ka yeenyweze ku kigo kyange. K’atabagane nangeWeewaawo k’atabagane nange.”   Mu biseera ebijja Yakobo alisimba emirandira,Isirayiri alimulisa era alitojjera,+Era ensi baligijjuza ebibala.+   Agwanidde okukubwa ng’oyo amukuba bw’amukuba? Oba agwanidde okuttibwa ng’ababe abattibwa bwe battibwa?   Bw’aliba amugoba alikaayana naye mu ddoboozi erikanga. Alimugoba n’okubwatuka okw’amaanyi ku lunaku olw’omuyaga oguva ebuvanjuba.+   Mu ngeri eyo, ensobi ya Yakobo eritangirirwa,+Era bino bye birivaamu ng’ekibi kye kiggiddwawo: Amayinja gonna ag’ekyotoAligafuula ng’amayinja g’ennoni agabetenteddwa,Era tewali kikondo kisinzibwa* oba kyoterezo kya bubaani ekirirekebwawo.+ 10  Kubanga ekibuga ekiriko bbugwe kirisigala matongo;Amalundiro galirekebwawo era galisigalira awo ng’eddungu.+ Ennyana ziririira eyo omuddo era ne zigalamira eyoEra zirirya amatabi gaakyo.+ 11  Amatabi gaakyo bwe galikala,Abakazi balijja ne bagamenyakoNe bagakozesa ng’enku. Kubanga abantu bano tebalina magezi.+ Eyo ye nsonga lwaki Oyo eyabatonda talibasaasira,Era Oyo eyabakola talibakwatirwa kisa.+ 12  Mmwe abantu ba Isirayiri,+ ng’omuntu bw’anoga ebibala ku muti n’abikuŋŋaanya kimu ku kimu, Yakuwa bw’atyo bw’alibakuŋŋaanya mmwe abasaasaanye okuva ku Mugga* omunene ogukulukuta okutuukira ddala ku Kiwonvu* ky’e Misiri.+ 13  Ku lunaku olwo eŋŋombe ennene erifuuyibwa,+ era abo abazikirira mu nsi ya Bwasuli+ n’abo abasaasaanidde mu nsi ya Misiri+ balijja ne bavunnamira Yakuwa ku lusozi olutukuvu mu Yerusaalemi.+

Obugambo Obuli Wansi

Laba Awanny.
Kirabika Isirayiri y’eyogerwako wano, ng’efaananyizibwako ng’omuntu era ng’ennimiro y’emizabbibu.
Laba Awanny.
Omugga Fulaati.
Laba Awanny.