Isaaya 20:1-6

  • Akabonero akalaga ekirituuka ku Misiri ne Esiyopiya (1-6)

20  Mu mwaka Kabaka Salugoni owa Bwasuli mwe yatumira Talutani* e Asudodi,+ yalwanyisa Asudodi n’akiwamba.+  Mu kiseera ekyo Yakuwa yayogera ng’ayitira mu Isaaya+ mutabani wa Amozi, n’amugamba nti: “Genda osumulule ebibukutu bye weesibye mu kiwato era oggyemu engatto mu bigere byo.” N’akola bw’atyo, n’atambula ng’ali bwereere* era nga tayambadde ngatto.  Awo Yakuwa n’agamba nti: “Ng’omuweereza wange Isaaya bw’atambudde ng’ali bwereere era nga tayambadde ngatto okumala emyaka esatu okuba akabonero+ era okuba okulabula ku ekyo ekirituuka ku Misiri+ ne ku Esiyopiya,+  bw’atyo kabaka wa Bwasuli bw’alitwala abantu abaliba bawambiddwa e Misiri+ n’abaliba bawaŋŋangusiddwa okuva mu Esiyopiya, abalenzi n’abasajja abakulu, nga bali bwereere, nga tebambadde ngatto, era ng’obubina bwabwe buli bweru. Misiri eriswazibwa.  Balifuna entiisa era baliswala olw’okussa essuubi lyabwe mu Esiyopiya n’olw’okwenyumiririza mu Misiri.  Ku lunaku olwo abo ababeera ku lubalama luno baligamba nti, ‘Laba ekituuse ku ono mwe twali tutadde essuubi era gye twaddukira okufuna obuyambi n’okuwona kabaka wa Bwasuli! Kaakano tunaasobola tutya okuwonawo?’”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “omuduumizi.”
Oba, “ng’ali mu lugoye lwa munda lwokka.”