Ezeekyeri 7:1-27
7 Yakuwa era n’aŋŋamba nti:
2 “Naye ggwe omwana w’omuntu, bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba ensi ya Isirayiri: ‘Enkomerero! Enkomerero etuuse ku nsi eno.
3 Kaakano enkomerero ekutuuseeko, era nja kukumalirako ekiruyi kyange, era nkusalire omusango okusinziira ku makubo go, era nkuvunaane olw’ebintu byonna eby’omuzizo bye wakola.
4 Eriiso lyange terijja kukukwatirwa kisa, era sijja kukusaasira,+ wabula nja kukusasula okusinziira ku makubo go, era ojja kutuukibwako ebyo ebiva mu bintu eby’omuzizo bye wakola.+ Era ojja kumanya nti nze Yakuwa.’+
5 “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba: ‘Laba! Akabi, akabi akatali ka bulijjo.+
6 Enkomerero ejja; enkomerero egenda kujja; ejja kukutuukako mbagirawo. Laba! Yiiyo ejja.
7 Mmwe abali mu nsi, akabi kaboolekedde. Ekiseera kijja, olunaku lusembedde.+ Ku nsozi kuliko butabanguko so si kujaganya.
8 “‘Nnaatera okukufukako obusungu bwange,+ era nja kukumalirako ekiruyi kyange,+ era nkusalire omusango okusinziira ku makubo go, era nkuvunaane olw’ebintu byonna eby’omuzizo bye wakola.
9 Eriiso lyange terijja kukukwatirwa kisa, era sijja kukusaasira.+ Nja kukusasula okusinziira ku makubo go, era ojja kutuukibwako ebyo ebiva mu bintu eby’omuzizo bye wakola. Era ojja kumanya nti nze Yakuwa, nze nkukuba.+
10 “‘Laba, olunaku! Laba, olunaku lujja!+ Akabi kaboolekedde; omuggo gumulisizza, era okwetulinkiriza kumeruse.
11 Ebikolwa eby’obukambwe bifuuse omuggo ogw’ebikolwa ebibi.+ Tebajja kuwonawo, wadde obugagga bwabwe, wadde abantu baabwe, oba ettutumu lyabwe.
12 Ekiseera kijja, olunaku lujja kutuuka. Agula aleme okusanyuka n’atunda aleme okukungubaga, kubanga obusungu bwolekezeddwa abantu baabwe bonna.*+
13 Ekyatundibwa tekijja kuddira oyo eyakitunda ne bw’anaaba awonyeewo, kubanga okwolesebwa kukwata ku bantu bonna. Tewali n’omu anaakomawo, era olw’ebibi bye, tewali n’omu anaawonyaawo obulamu bwe.
14 “‘Bafuuye ekkondeere,+ era buli omu yeeteeseteese, naye tewali n’omu agenda mu lutalo, kubanga nsunguwalidde abantu bonna.+
15 Ebweru eriyo ekitala,+ ate endwadde n’enjala biri munda. Buli ali ku ttale ajja kuttibwa n’ekitala, ate abo abali mu kibuga bajja kufa enjala n’endwadde.+
16 Abantu baabwe abanaasobola okuwonawo bajja kuddukira mu nsozi, era okufaananako ng’amayiba ag’omu biwonvu, buli omu ajja kunakuwala olw’ebibi bye.+
17 Emikono gyabwe gyonna gijja kunafuwa, n’amaviivi gaabwe gonna gajja kukulukutirako amazzi.*+
18 Bambadde ebibukutu+ era bakankana.* Bajja kuswala, era buli mutwe gujja kuba gwa kiwalaata.*+
19 “‘Bajja kusuula ffeeza waabwe mu nguudo, ne zzaabu waabwe ajja kufuuka ekintu ekibeenyinyaza. Ffeeza waabwe ne zzaabu tebijja kusobola kubawonya ku lunaku olw’obusungu bwa Yakuwa.+ Tebajja kukkuta, era tebajja kujjuza mbuto zaabwe, kubanga ffeeza waabwe ne zzaabu waabwe bifuuse enkonge ebaviiriddeko okwonoona.
20 Beenyumiririzanga mu majolobero gaabwe agaali galabika obulungi, era ffeeza ne zzaabu bamukozeemu ebifaananyi eby’omuzizo era ebyenyinyaza.+ Eyo ye nsonga lwaki nja kufuula zzaabu waabwe ne ffeeza waabwe ekintu ekibeenyinyaza.
21 Ffeeza waabwe ne zzaabu waabwe nja kumuwaayo anyagibwe abagwira n’abantu ababi ab’omu nsi, era bajja kumwonoona.
22 “‘Nja kubaggyako amaaso gange,+ era bajja kwonoona ekifo kyange ekyekusifu,* era abanyazi bajja kukiyingiramu bakyonoone.+
23 “‘Kola olujegere,*+ kubanga ensi ejjuddemu obussi olw’emisango okusalibwa mu ngeri etali ya bwenkanya+ era ekibuga kijjudde ebikolwa eby’obukambwe.+
24 Nja kuleeta amawanga agasingayo obubi+ era gajja kutwala amayumba gaabwe;+ nja kukomya amalala g’abo ab’amaanyi, era ebifo byabwe ebitukuvu bijja kwonoonebwa.+
25 Ennaku ey’amaanyi bw’eneebajjira, bajja kunoonya emirembe naye tebajja kugifuna.+
26 Wajja kubaawo emitawaana egy’omuddiriŋŋanwa, era bajja kufuna amawulire ag’okumukumu, era abantu bajja kwagala okumanya nnabbi by’ayoleseddwa,+ naye bakabona bajja kuba tebakyalina mateeka ge bayigiriza bantu, era abakadde tebajja kuwa bantu magezi.+
27 Kabaka ajja kukungubaga,+ n’omwami ajja kuggwaamu essuubi,* era emikono gy’abantu ab’omu nsi gijja kukankana olw’okutya. Nja kubayisa ng’amakubo gaabwe bwe gali, era nja kubasalira omusango nga nabo bwe baagusaliranga abalala. Era bajja kumanya nti nze Yakuwa.’”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Kwe kugamba, abo abatunda ebintu n’abo ababigula tebajja kuganyulwa kubanga bonna bajja kuzikirizibwa.
^ Kwe kugamba, omusulo gujja kubayitamu olw’okutya.
^ Kwe kugamba, emitwe gyabwe gijja kumwebwako enviiri olw’okukungubaga.
^ Obut., “babikkiddwa okukankana.”
^ Kirabika kitegeeza awo awasingayo okuba munda mu kifo kya Yakuwa ekitukuvu.
^ Kwe kugamba, enjegere ez’obuwambe.
^ Oba, “ajja kunakuwala.”