Engero 30:1-33

  • EBIGAMBO BYA AGULI (1-33)

    • Tompa bwavu wadde obugagga (8)

    • Ebintu ebitamatira (15, 16)

    • Ebintu ebizibu okutegeera (18, 19)

    • Omukazi omwenzi (20)

    • Ebisolo ebirina amagezi agaabitonderwamu (24)

30  Obubaka obukulu Aguli mutabani wa Yake bwe yategeeza Isiyeri ne Ukali.   Mu bantu bonna nze nsingirayo ddala obutabaako kye mmanyi,+Era sirina kutegeera omuntu kw’asaanidde okuba nakwo.   Siyize magezi,Era okumanya kw’Oyo Asinga Obutukuvu sikulina.   Ani yali alinnye mu ggulu ate n’akka?+ Ani yali akuŋŋaanyirizza empewo mu bibatu bye byombi? Ani yali asibye amazzi mu kyambalo kye?+ Ani yassaawo* ensalo zonna ez’ensi? Erinnya lye y’ani, era erinnya ly’omwana we y’ani, bw’oba omanyi?+   Buli kigambo Katonda ky’ayogera kirongoofu,+Era ye ngabo eri abo abaddukira gy’ali.+   Ebigambo bye tobyongerangako,+Aleme okukukangavvula,Obulimba bwo ne bweyoleka.   Waliwo ebintu bibiri bye nkusaba. Nsaba obimpe nga sinnafa.   Obulimba n’ebigambo ebitali bya mazima biggye we ndi obisse wala.+Tompa bwavu wadde obugagga.Ka ndye omugabo gwange ogw’emmere,+   Nneme okukkuta ne nkwegaana nga ŋŋamba nti, “Yakuwa y’ani?”+ Era nneme okuba omwavu ne nziba, ne nvumaganya erinnya* lya Katonda wange. 10  Towaayirizanga muweereza eri mukama we,Kubanga ayinza okukukolimira n’obaako omusango.+ 11  Waliwo abantu abakolimira bakitaabweEra ne batassa kitiibwa mu bannyaabwe.+ 12  Waliwo abantu abalowooza nti balongoofu,+Naye nga tebanaaziddwako bucaafu bwabwe.* 13  Waliwo abantu ab’amaaso ag’amalala,Era ab’amaaso ageegulumiza.+ 14  Waliwo abantu abalina amannyo agalinga ebitala,Era abalina emba eziringa ebiso;Balya abanaku ab’oku nsiN’abantu abaavu.+ 15  Ebinoso birina abaana babiri abagamba nti: “Mpa! Mpa!” Waliwo ebintu bisatu ebitamatira,Ebintu bina ebitagamba nti, “Kimala!” 16  Amagombe*+ n’enda etazaala,Ettaka ekkalu,N’omuliro ogutagamba nti, “Kimala!” 17  Omuntu akudaalira kitaawe era atagondera nnyina,+Nnamuŋŋoona ez’omu kiwonvu* zirimuggyamu eriiso,Era abaana b’empungu balirirya.+ 18  Waliwo ebintu bisatu ebisukkiridde okutegeera kwange,*Era waliwo bina bye sitegeera: 19  Ekkubo ly’empungu mu bbanga,Ekkubo ly’omusota ku lwazi,Ekkubo ly’ekyombo ku nnyanja,Era n’ekkubo ly’omusajja ali n’omukazi. 20  Lino lye kkubo ly’omukazi omwenzi: Alya, n’asangula ku mimwa gye;Awo n’agamba nti, “Sirina kikyamu kye nkoze.”+ 21  Waliwo ebintu bisatu ebikankanya ensi,Era waliwo ebintu bina by’etayinza kugumiikiriza: 22  Omuddu bw’afuga nga kabaka,+Omusirusiru bw’aba n’emmere ennyingi, 23  Omukazi atayagalibwa bw’afumbirwa,Era n’omuweereza omukazi bw’atwala* ekifo ky’omukyala mukama we.+ 24  Waliwo ebintu bina ku nsi nga bye bimu ku bisingayo obutono,Naye birina amagezi agaabitonderwamu:*+ 25  Enkuyege tezirina maanyi,*Naye zeeteekerateekera eby’okulya mu kiseera eky’omusana.+ 26  Obumyu obw’omu njazi+ si bwa maanyi,*Naye buzimba ennyumba zaabwo mu njazi.+ 27  Enzige+ tezirina kabaka,Naye zitambulira mu bibinja.*+ 28  Omunya+ gwekwata ku bintu n’ebigere byagwo,Ne gugenda mu lubiri lwa kabaka. 29  Waliwo ebintu bisatu; weewaawo bina,Ebitambula mu ngeri eyeewuunyisa: 30  Empologoma, esinga ensolo zonna amaanyi,Etedduka muntu yenna;+ 31  Embwa enjizzi; embuzi ennume;Ne kabaka ali n’eggye lye. 32  Bwe kiba nti obusirusiru bukuleetedde okwegulumiza,+Oba bwe kiba nti obadde olowooza okukikola,Kwata ku mumwa gwo.+ 33  Kubanga ng’okusunda amata bwe kuvaamu omuzigo,Era ng’okunyiga ennyindo bwe kugireetera okuvaamu omusaayi,Bwe kutyo n’okusunguwala bwe kuvaamu ennyombo.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “yayimusa.”
Oba, “ndeeta ekivume ku linnya.”
Obut., “mpitambi.”
Laba Awanny.
Laba Awanny.
Oba, “ebinneewuunyisa ennyo.”
Oba, “bwe yeddiza.”
Oba, “bya magezi nnyo.”
Obut., “si ggwanga lya maanyi.”
Obut., “si ggwanga lya maanyi.”
Oba, “zaawuliddwamu ebibinja.”