Engero 24:1-34
24 Tokwatirwanga abantu ababi obuggya,Era teweegombanga kubeera nabo,+
2 Kubanga emitima gyabwe girowooza ku bikolwa bya bukambwe,N’emimwa gyabwe gibeera gyogera ku kukola bintu bya mutawaana.
3 Amagezi ge gazimba ennyumba,+Era okutegeera kwe kuginyweza.
4 Olw’okumanya, ebisenge byayo bijjulaEby’obugagga ebya buli ngeri eby’omuwendo era ebisanyusa.+
5 Omuntu ow’amagezi aba wa maanyi,+Era olw’okumanya, omuntu yeeyongera okuba n’obuyinza.
6 Okusobola okulwana olutalo kyetaagisa obulagirizi obulungi,*+Era bwe wabaawo abawi b’amagezi* abangi wabaawo obuwanguzi.*+
7 Eri omusirusiru amagezi* tegasobola kufunika;+Era taba na kya kwogera ku mulyango gw’ekibuga.
8 Ateekateeka okukola ebintu eby’akabiAjja kuyitibwa kalinkwe.+
9 Enteekateeka ez’ekisirusiru* ziba mbi,Era abantu tebaagalira ddala muntu mukudaazi.+
10 Bw’oterebuka mu kiseera eky’okulabiramu ennaku,*Amaanyi go gajja kuba matono.
11 Nunula abo abatwalibwa okuttibwa,Era wonya abo abagenda okusanjagibwa.+
12 Bw’ogamba nti, “Naye ekyo tetwakimanyaako,”Oyo akebera emitima* takitegeera?+
Mazima ddala, oyo akulaba ajja kukitegeeraEra ajja kusasula buli muntu okusinziira ku bikolwa bye.+
13 Mwana wange, lyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi;Omubisi oguva mu bisenge by’omubisi gw’enjuki guwoomerera.
14 Kale, kimanye nti n’amagezi ga muganyulo gy’oli.+
Bw’ogafuna, ebiseera byo eby’omu maaso bijja kuba birungiEra n’essuubi lyo teririggwaawo.+
15 Toba ng’omuntu omubi n’oteega okumenya ennyumba y’omutuukirivu;Tosaanyaawo kifo ky’abeeramu.
16 Omutuukirivu ayinza okugwa emirundi musanvu, naye addamu n’ayimuka,+Naye omubi yeesittala ng’afunye ekizibu.+
17 Omulabe wo bw’agwa, tosanyukanga,Era bwe yeesittala, omutima gwo tegujaganyanga;+
18 Kubanga Yakuwa bw’akulaba ng’okola bw’otyo, anyiiga,N’alekera awo okumusunguwalira.*+
19 Tokwatibwanga busungu olw’abantu abakola ebibi;Abantu ababi tobakwatirwanga buggya,
20 Kubanga ababi tebalina biseera bya mu maaso;+Ettaala y’ababi ejja kuzikizibwa.+
21 Mwana wange, otyanga Yakuwa ne kabaka.+Era tokolagananga na bawakanyi,*+
22 Kubanga emitawaana giribagwako mbagirawo.+Ani amanyi akabi abo bombi* ke balituusa ku bawakanyi?+
23 Era na bino byayogerwa ba magezi:
Okusaliriza mu kusala omusango si kirungi.+
24 Buli agamba omuntu omubi nti, “Oli mutuukirivu,”+
Abantu bajja kumukolimira era amawanga gajja kumuvumirira.
25 Naye abo abamunenya bijja kubagendera bulungi;+Era bajja kufuna ebintu ebirungi.+
26 Abantu bajja kunywegera emimwa gy’omuntu addamu mu bwesimbu.*+
27 Teekateeka emirimu gyo egy’ebweru, era otereeze bulungi ennimiro yo,Oluvannyuma ozimbe ennyumba yo.
28 Tolumirizanga muntu munno awatali nsonga.+
Era tokozesanga mimwa gyo kulimba balala.+
29 Togambanga nti: “Ky’ankoze nange nja kukimukola;Nja kumusasula ekyo kye yakola.”+
30 Nnayita ku nnimiro y’omugayaavu,+Ku nnimiro y’emizabbibu ey’omuntu atalina magezi.
31 Nnalaba nga yonna ezise,Ng’ejjudde amaggwa,Nga n’ekikomera kyayo eky’amayinja kigudde.+
32 Nnagyetegereza ne nfumiitiriza nnyo;Nnagitunuulira ne njiga essomo lino:
33 Bwe weebakamu katono, bw’osumagiramu katono,Era bw’ozinga emikono owummuleko,
34 Obwavu bujja kukuzinda ng’omuzigu,N’obwetaavu bukuzinde ng’omusajja akutte eby’okulwanyisa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “obulagirizi obw’amagezi.”
^ Oba, “abawabuzi.”
^ Oba, “obulokozi.”
^ Oba, “amagezi aga nnamaddala.”
^ Oba, “ez’omusirusiru.”
^ Oba, “mu kiseera ekizibu.”
^ Oba, “ebiruubirirwa.”
^ Wano boogera ku mulabe.
^ Oba, “abo abaagala enkyukakyuka.”
^ Wano boogera ku Yakuwa ne kabaka.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Okuddamu obutereevu kuba ng’okunywegera.”