Engero 23:1-35
23 Bw’otuulanga okuliira awamu ne kabaka,Ogendereranga nnyo ebiba biteekeddwa mu maaso go;
2 Weefuganga*Bw’oba oyagala nnyo okulya.
3 Teweegombanga mmere ye ewooma,Kubanga ebuzaabuza.
4 Teweekooya kunoonya bya bugagga.+
Lekera awo era yoleka amagezi.*
5 Bw’obitunuulira, tebibaawo,+Kubanga byefunira ebiwaawaatiro ng’empungu ne bibuuka mu bbanga.+
6 Tolyanga mmere ya mukodo;*Teweegombanga mmere ye ewooma,
7 Kubanga aba ng’oyo alina ky’aluubirira.
Akugamba nti: “Lya era onywe,” naye nga takitegeeza.*
8 Ojja kusesema by’olidde,N’ebigambo ebirungi by’oyogedde bijja kukufa bwereere.
9 Toyogeranga na musirusiru,+Kubanga ajja kunyooma eby’amagezi by’oyogera.+
10 Tojjululanga kabonero ak’edda akalamba olusalosalo,+Era toyingiriranga kibanja ky’abaana abatalina bakitaabwe.
11 Kubanga Omununuzi waabwe wa maanyi;Ajja kubalwanirira.+
12 Ssaayo omwoyo ku ebyo ebikuyigirizibwaEra wuliriza ebigambo eby’amagezi.
13 Tolekangayo kukangavvula mwana.*+
Bw’omukuba n’omuggo, tajja kufa.
14 Mukube n’omuggo,Omuwonye okugenda emagombe.*
15 Mwana wange, omutima gwo bwe gunaabanga ogw’amagezi,Omutima gwange gunaasanyukanga.+
16 Era omutima gwange* gunaasanyukangaEmimwa gyo bwe ginaayogeranga ebituufu.
17 Omutima gwo ka guleme okukwatirwanga aboonoonyi ensaalwa,+Naye tyanga Yakuwa olunaku lwonna,+
18 Ebiseera byo eby’omu maaso biryoke bibe birungi+Era n’eby’osuubira bireme kugwa butaka.
19 Mwana wange, wuliriza ofuuke wa magezi,Omutima gwo guluŋŋamizibwe mu kkubo ettuufu.
20 Tobanga mu abo abeekatankira omwenge,+Wadde mu abo abavaabira ennyama,+
21 Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,+Era okwebakiriza kwambaza omuntu enziina.
22 Wuliranga kitaawo eyakuzaala,Era tonyoomanga nnyoko olw’okuba akaddiye.+
23 Gula* amazima,+ n’amagezi, n’okuyigirizibwa, awamu n’okutegeera,+Era tobitundanga.
24 Kitaawe w’omutuukirivu anaabanga musanyufu,Era buli azaala omwana ow’amagezi anaamwenyumiririzangamu.
25 Kitaawo ne nnyoko bajja kusanyuka,Era omukazi eyakuzaala ajja kujaganya.
26 Mwana wange, mpa omutima gwo,Era amaaso go ka gasanyukirenga amakubo gange.+
27 Kubanga omukazi malaaya kinnya kiwanvu,N’omukazi omugwenyufu* luzzi lufunda.+
28 Ateega ng’omunyazi,+Era ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa.
29 Baani abalina ennaku? Baani abeeraliikirira?
Baani abayomba? Baani abeemulugunya?
Baani abalina ebiwundu eby’obwereere? Baani abalina amaaso agamyuse?
30 Abo abalwa ku mwenge;+Abo abanoonya omwenge* omuka.
31 Totunuulira bumyufu bwa mwengeNga gutangalijja mu kikopo era nga gukka bulungi mu mumiro,
32 Kubanga oluvannyuma gubojja ng’omusota,Era guvaamu obusagwa ng’obw’omusota.
33 Amaaso go gajja kulaba ebintu ebitategeerekeka,N’omutima gwo gujja kwogera ebitasaana.+
34 Era ojja kuba ng’omuntu agalamidde wakati mu nnyanja,Oba ng’omuntu agalamidde waggulu ku mulongooti gw’ekyombo.
35 Ojja kugamba nti: “Bankubye, naye sirumiddwa.
Bankubye naye ne simanya.
Nnaazuukuka ddi+Nzireyo ngunoonye nate?”
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “Oteekanga akaso ku mumiro gwo.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Teweesigama ku kutegeera kwo.”
^ Oba, “muntu yenna ow’eriiso ebbi.”
^ Obut., “ng’omutima gwe teguli naawe.”
^ Oba, “muvubuka.”
^ Obut., “ensigo zange.”
^ Oba, “Funa.”
^ Oba, “abakuŋŋaana okulega ku mwenge.”