Ekyabalamuzi 18:1-31
18 Mu nnaku ezo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri,+ era mu nnaku ezo ab’ekika kya Ddaani+ baali banoonya obusika obw’okubeeramu; kubanga n’okutuusa mu kiseera ekyo baali tebannafuna busika mu bika bya Isirayiri.+
2 Awo Abadaani ne batuma abasajja bataano ab’ekika kyabwe, abasajja abazira, okuva mu Zola ne mu Esutawoli,+ okugenda okuketta ensi n’okugirambula. Ne babagamba nti: “Mugende mulambule ensi.” Oluvannyuma baatuuka mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi ku nnyumba ya Mikka,+ ne basula eyo.
3 Bwe baali okumpi n’ennyumba ya Mikka baawulira eddoboozi ly’omuvubuka Omuleevi, ne bagenda gy’ali ne bamubuuza nti: “Ani yakuleeta eno? Okola ki mu kifo kino, era kiki ky’oyagalayo?”
4 N’abaddamu nti: “Kino na kiri Mikka bye yankolera, n’ampangisa mbeere kabona we.”+
5 Ne bamugamba nti; “Tukwegayiridde tubuulize Katonda tumanye obanga olugendo lwaffe lunaaba lulungi.”
6 Kabona n’abagamba nti: “Mugende mirembe. Yakuwa ali nammwe mu lugendo lwammwe.”
7 Abasajja abataano ne beeyongerayo ne batuuka e Layisi,+ ne balaba ng’abantu baayo beemalirira ng’empisa y’Abasidoni bw’eri. Baali batudde ntende,+ nga tebalina kye beekengera, era nga mu nsi yaabwe temuli mufuzi mukambwe abakijjanya. Ate era baali wala okuva awaali Abasidoni era nga tebalina kakwate konna na bantu balala.
8 Bwe baddayo eri baganda baabwe mu Zola ne mu Esutawoli,+ baganda baabwe ne bababuuza nti: “Byagenze bitya?”
9 Ne babaddamu nti: “Tugende tubalumbe. Ensi tugirabye; nnungi nnyo. Lwaki mulonzalonza? Temulwa kugenda kugitwala.
10 Bwe munaatuukayo mujja kusanga abantu abatalina kye beekengera,+ era ensi ngazi. Katonda agiwaddeyo mu mukono gwammwe, era erimu buli kintu ekiri ku nsi.”+
11 Awo abasajja 600 ab’omu kika kya Ddaani ne bava mu Zola ne mu Esutawoli+ nga balina eby’okulwanyisa.
12 Ne bagenda ne basiisira okumpi ne Kiriyasu-yalimu+ mu Yuda. Eyo ye nsonga lwaki ekifo ekyo ekiri ebugwanjuba wa Kiriyasu-yalimu bakiyita Makanedani*+ n’okutuusa leero.
13 Oluvannyuma baavaayo ne bagenda mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.+
14 Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi y’e Layisi+ ne bagamba baganda baabwe nti: “Mubadde mukimanyi nti mu nnyumba zino mulimu efodi n’ebifaananyi bya baterafi* n’ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi eky’ekyuma?*+ Kaakano mulowooze ku kye mugwanidde okukola.”
15 Ne bakyama ne bagenda ku nnyumba y’omuvubuka Omuleevi+ eyali okumpi n’ennyumba ya Mikka, ne bamubuuza bw’ali.
16 Abasajja ba Ddaani+ olukaaga abaalina eby’okulwanyisa baali bayimiridde ku mulyango.
17 Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi+ ne bayingira okuggyamu ekifaananyi ekyole ne efodi+ n’ebifaananyi bya baterafi*+ n’ekifaananyi eky’ekyuma.*+ (Kabona+ yali ayimiridde ku mulyango n’abasajja olukaaga abaalina eby’okulwanyisa.)
18 Baayingira mu nnyumba ya Mikka ne baggyamu ekifaananyi ekyole ne efodi n’ebifaananyi bya baterafi* n’ekifaananyi eky’ekyuma.* Kabona n’ababuuza nti: “Mukola ki ekyo?”
19 Ne bamuddamu nti: “Sirika. Teeka engalo zo ku mumwa gwo ogende naffe obeere kitaffe* era kabona waffe. Kiki ekisinga obulungi, ggwe okubeera kabona w’ennyumba y’omuntu omu,+ oba okubeera kabona w’ekika ekiramba n’oluggya mu Isirayiri?”+
20 Kabona n’akkiriza, n’atwala efodi n’ebifaananyi bya baterafi* n’ekifaananyi ekyole,+ n’agenda nabo.
21 Awo ne bakyusa, ne bagenda nga bakulembezzaamu abaana abato n’ensolo n’ebintu eby’omuwendo.
22 Bwe baali batambuddeko akabanga okuva ku nnyumba ya Mikka, abasajja abaali mu mayumba agaali okumpi n’ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana wamu ne bawondera Abadaani ne babasanga.
23 Bwe baakoowoola Abadaani, Abadaani ne bakyuka ne batunula gye bali, ne bagamba Mikka nti: “Mutawaana ki? Lwaki mukuŋŋaanye wamu?”
24 N’abaddamu nti: “Mututte bakatonda bange be nnakola era mugenze ne kabona. Kaakano nsigazza ki? Kale muyinza mutya okumbuuza nti, ‘Mutawaana ki?’”
25 Abadaani ne bamugamba nti: “Totuleekaanira, si kulwa ng’abasajja abaliko ekiruyi babalumba, n’ofiirwa obulamu bwo ggwe n’ab’ennyumba yo.”
26 Awo Abadaani ne beeyongerayo; Mikka bwe yalaba nga bamusinga amaanyi, n’akyuka n’addayo ewuwe.
27 Bwe baamala okutwala bakatonda Mikka be yali akoze era ne kabona we, ne boolekera Layisi+ okulumba abantu abaali batudde entende nga tebalina kye beekengera.+ Ne babatta n’ekitala era ekibuga ne bakyokya omuliro.
28 Tewaaliwo ayinza kukinunula kubanga kyali wala okuva e Sidoni, era ng’abantu baamu tebalina bantu balala be bakolagana nabo; kyali mu lusenyi lwa Besu-lekobu.+ Abadaani ne baddamu okuzimba ekibuga ekyo ne bakibeeramu.
29 Era ekibuga ekyo baakituuma Ddaani,+ erinnya lya kitaabwe Ddaani mutabani wa Isirayiri.+ Kyokka edda kyayitibwanga Layisi.+
30 Oluvannyuma Abadaani beeteerawo ekifaananyi ekyole;+ era Yonasaani+ mutabani wa Gerusomu,+ mutabani wa Musa, awamu n’abaana be ne baba bakabona b’ekika kya Ddaani okutuusa ku lunaku abantu b’omu nsi eyo lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
31 Bassaawo ekifaananyi ekyole Mikka kye yakola, era ne kisigala eyo ennaku zonna ennyumba ya Katonda ow’amazima ze yamala ng’eri mu Siiro.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Litegeeza, “Olusiisira lwa Ddaani.”
^ Oba, “ne bakatonda b’awaka; n’ebifaananyi ebisinzibwa.”
^ Oba, “ekisaanuuse.”
^ Oba, “ekisaanuuse.”
^ Oba, “ne bakatonda b’awaka; n’ebifaananyi ebisinzibwa.”
^ Oba, “ne bakatonda b’awaka; n’ebifaananyi ebisinzibwa.”
^ Oba, “ekisaanuuse.”
^ Oba, “omuwi waffe ow’amagezi.”
^ Oba, “ne bakatonda b’awaka; n’ebifaananyi ebisinzibwa.”