Ebikolwa 2:1-47
2 Awo ku lunaku lw’Embaga ya Pentekooti,+ bonna baali wamu mu kifo kimu,
2 amangu ago ne wabaawo okuwuuma okwava mu ggulu nga kulinga okw’embuyaga ey’amaanyi, ne kujjula enju yonna mwe baali batudde.+
3 Ne balaba ennimi eziringa ez’omuliro, era buli lulimi ne lutuula ku muntu,
4 bonna ne bajjula omwoyo omutukuvu,+ ne batandika okwogera mu nnimi ez’enjawulo ng’omwoyo bwe gwabasobozesa.+
5 Mu kiseera ekyo, mu Yerusaalemi mwalimu Abayudaaya abatya Katonda abaali bavudde mu mawanga gonna agali wansi w’eggulu.+
6 Okuwuuma bwe kwabaawo, abantu bangi ne bakuŋŋaana nga basobeddwa, kubanga buli omu yawulira abayigirizwa nga boogera olulimi lwe.
7 Ne beewuunya nnyo era ne batandika okwebuuza nti: “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya?+
8 Naye kijja kitya okuba nti buli omu ku ffe awulira nga boogera mu lulimi lwe olw’obuzaaliranwa?
9 Ffe Abapaazi, Abameedi,+ Abeeramu,+ abatuuze b’e Mesopotamiya, ab’e Buyudaaya, ab’e Kapadokiya, ab’e Ponto, era n’ab’omu ssaza ly’e Asiya;+
10 ab’e Fulugiya, ab’e Panfuliya, ab’e Misiri, ab’omu bitundu bya Libiya ebiri okumpi n’e Kuleene, awamu n’abagenyi abaava mu Rooma, Abayudaaya n’abakyufu,+
11 n’Abakuleete n’Abawalabu, ffenna tubawulira nga boogera mu nnimi zaffe ku bintu bya Katonda eby’ekitalo.”
12 Bonna beewuunya nnyo era ne basoberwa, ne bagambagana nti: “Kino kitegeeza ki?”
13 Naye abamu ne babasekerera ne bagamba nti: “Batamidde omwenge omusu.”
14 Naye Peetero n’ayimuka n’abatume ekkumi n’omu+ n’ayogerera waggulu nti: “Abasajja ab’e Buyudaaya n’abatuuze b’e Yerusaalemi mmwenna, muwulirize ebigambo byange.
15 Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’oku makya.
16 Naye kino kye kyayogerwa okuyitira mu nnabbi Yoweeri nti:
17 ‘“Mu nnaku ez’enkomerero,” Katonda bw’agamba, “Ndifuka omwoyo gwange ku bantu aba buli ngeri, era batabani bammwe ne bawala bammwe balyogera obunnabbi; abavubuka abali mu mmwe balyolesebwa, n’abasajja abakulu abali mu mmwe baliroota ebirooto,+
18 era abaddu bange abasajja n’abakazi ndibafukako omwoyo gwange mu nnaku ezo, era balyogera obunnabbi.+
19 Ndikola ebyewuunyisa ku ggulu n’obubonero ku nsi, walibaawo omusaayi, omuliro, n’omukka.
20 Enjuba erifuuka ekizikiza, n’omwezi gulifuuka musaayi ng’olunaku lwa Yakuwa* olukulu era olw’ekitiibwa lunaatera okutuuka,
21 era buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa* alirokolebwa.”’+
22 “Abasajja ba Isirayiri, muwulire ebigambo bino: Yesu Omunnazaaleesi ye musajja Katonda gwe yatuma, era nga kino yakiraga okuyitira mu bikolwa eby’amaanyi, n’ebyamagero, n’obubonero bye yamukozesa mu mmwe,+ nga nammwe bwe mumanyi.
23 Oyo ye musajja gwe mwakwata ne muwaayo eri abasajja abajeemu bamukomerere ku muti era bamutte.+ Katonda ye yakireetera okubaawo, n’olwekyo yali amanyi nti kyandimutuuseeko.+
24 Naye Katonda yamuzuukiza+ n’amuggya mu kufa, kubanga okufa kwali tekukyayinza kumunyweza.+
25 Kubanga Dawudi amwogerako nti, ‘Yakuwa* mmuteeka mu maaso gange bulijjo, ali ku mukono gwange ogwa ddyo nneme okusagaasagana.
26 N’olw’ensonga eyo omutima gwange gwasanyuka era nnayogera n’essanyu lingi. Ate era nja kubeeranga n’essuubi,
27 kubanga tolindeka magombe,* era tolireka mwesigwa wo kuvunda.+
28 Ommanyisizza ekkubo erituusa mu bulamu era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’+
29 “Ab’oluganda, ka njogere nammwe ku bikwata ku jjajjaffe Dawudi awatali kutya, nti yafa n’aziikibwa+ era amalaalo ge gali wano ewaffe n’okutuusa leero.
30 Olw’okuba yali nnabbi, era ng’amanyi nti Katonda yali amulayiridde nti agenda kutuuza omu ku baana be* ku ntebe ye ey’obwakabaka,+
31 yamanya ebiribaawo era n’ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nti teyalekebwa magombe* era omubiri gwe tegwavunda.+
32 Yesu oyo Katonda yamuzuukiza era ffenna tuli bajulirwa ku ekyo.+
33 N’olwekyo, olw’okuba yagulumizibwa n’ateekebwa ku mukono gwa Katonda ogwa ddyo,+ era n’afuna omwoyo omutukuvu Kitaawe gwe yasuubiza,+ atufuseeko omwoyo ogwo gwe mulaba era gwe muwulira.
34 Dawudi teyagenda mu ggulu, naye agamba nti, ‘Yakuwa* yagamba Mukama wange nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,
35 okutuusa lwe ndifuula abalabe bo ng’entebe y’ebigere byo.”’+
36 N’olwekyo, ennyumba ya Isirayiri yonna k’ekimanyire ddala nti Yesu oyo gwe mwakomerera ku muti,+ Katonda yamufuula Mukama waffe+ era Kristo.”
37 Bwe baawulira ebyo ne balumwa nnyo mu mitima gyabwe, ne bagamba Peetero n’abatume abalala nti: “Ab’oluganda, tukole ki?”
38 Peetero n’abagamba nti: “Mwenenye,+ era buli omu ku mmwe abatizibwe+ mu linnya lya Yesu Kristo musobole okusonyiyibwa ebibi byammwe,+ era mujja kufuna ekirabo eky’omwoyo omutukuvu.
39 Kubanga ekisuubizo kino+ kyaweebwa mmwe, abaana bammwe, era n’abo abali ewala, abo bonna Yakuwa* Katonda waffe b’aliyita gy’ali.”+
40 Peetero yayogera n’ebigambo ebirala bingi n’awa obujulirwa mu bujjuvu era n’abakubiriza ng’agamba nti: “Mweyawule ku mulembe guno ogwakyama muleme okuzikirizibwa.”+
41 Abo abakkiriza n’essanyu ebigambo bye ne babatizibwa,+ era ku lunaku olwo abantu nga 3,000 ne babeegattako.+
42 Ne beeyongeranga okussaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga, n’okubeeranga awamu,* n’okuliiranga awamu,+ era n’okusaba.+
43 Abantu bonna ne batandika okutya, era abatume ne bakola ebyamagero bingi n’obubonero bungi.+
44 Abo bonna abaafuuka abakkiriza baalinga wamu era baagabananga ebintu byonna bye baalina,
45 era baatundanga ebintu byabwe,+ ssente ezaavangamu ne bazigabana okusinziira ku bwetaavu bwa buli omu.+
46 Buli lunaku baakuŋŋaaniranga mu yeekaalu nga bonna bassa kimu, era baliiranga emmere mu maka ag’enjawulo nga basanyuka era ng’emitima gyabwe tegiriimu bukuusa,
47 nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Ate era Yakuwa* yabongerangako buli lunaku abantu abaalokolebwanga.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Obut., “omu ku bibala by’ekiwato kye.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Oba, “n’okugabananga.”
^ Laba Ebyong. A5.