Danyeri 10:1-21

  • Omubaka okuva eri Katonda ajja eri Danyeri (1-21)

    • Mikayiri ayamba malayika (13)

10  Mu mwaka ogw’okusatu ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo+ owa Buperusi, Danyeri, eyali ayitibwa Berutesazza,+ yafuna okubikkulirwa; obubaka obwo bwali bwa mazima era bwali bukwata ku lutalo olw’amaanyi. Danyeri yategeera obubaka obwo, era yayambibwa okutegeera bye yalaba.  Mu nnaku ezo, nze Danyeri nnali mmaze wiiki ssatu nnamba nga nkungubaga.+  Nnali sirya mmere nnungi, nga sirya nnyama, wadde okunywa omwenge, era mu wiiki ezo essatu seesiiga mafuta.  Ku lunaku olw’abiri mu ennya olw’omwezi ogusooka, bwe nnali ku lubalama lw’omugga omunene, Omugga Tiguliisi,*+  nnayimusa amaaso ne ndaba omusajja eyali ayambadde olugoye olwa kitaani+ era nga yeesibye mu kiwato omusipi ogwa zzaabu ow’e Yufazi.  Omubiri gwe gwalinga kirisoliti,+ obwenyi bwe bwali bwakaayakana ng’ekimyanso, amaaso ge gaali ng’emimuli egyaka, emikono gye n’ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule,+ ate eddoboozi lye lyali ng’eddoboozi ly’ekibiina ky’abantu ekinene.  Nze nzekka Danyeri, nze nnalaba okwolesebwa okwo; abasajja be nnali nabo tebaalaba kwolesebwa okwo.+ Naye baakankana nnyo era ne badduka ne beekweka.  Nnasigala nzekka, era bwe nnafuna okwolesebwa okwo okw’ekitalo ne nzigweeramu ddala amaanyi, endabika yange n’ekyukira ddala, era ne nnafuyira ddala.+  Awo ne mmuwulira ng’ayogera; naye bwe nnamuwulira, ne nneebaka otulo tungi nga nneevuunise ku ttaka.+ 10  Naye omukono ne gunkwatako+ ne gunnyeenya, ne nzuukuka ne nfukamira ku maviivi ne nsimba emikono ku ttaka. 11  Awo n’aŋŋamba nti: “Ggwe Danyeri, omusajja ow’omuwendo ennyo,*+ ssaayo omwoyo ku bye ŋŋenda okukugamba. Yimirira, kubanga ntumiddwa gy’oli.” Bwe yaŋŋamba ebigambo ebyo, ne nnyimirira nga nkankana. 12  Awo n’aŋŋamba nti: “Totya ggwe Danyeri,+ kubanga okuva ku lunaku lwe watandika okussaayo omutima okutegeera amakulu g’ebintu bino era n’okwetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era kaakano nzize olw’ebigambo byo.+ 13  Kyokka omulangira+ w’obwakabaka bwa Buperusi yanziyiza okumala ennaku 21. Naye Mikayiri,*+ omu ku balangira abakulu* yajja n’annyamba, era nnasigala eyo okumpi ne bakabaka ba Buperusi. 14  Nzize okukuyamba okutegeera ebirituuka ku bantu bo mu nnaku ezisembayo,+ kubanga okwolesebwa kukwata ku biribaawo mu biseera eby’omu maaso.”+ 15  Bwe yaŋŋamba ebigambo ebyo, ne ntunula wansi ne nnemererwa okwogera. 16  Awo oyo eyali afaanana ng’omuntu n’akwata ku mimwa gyange,+ ne njasamya akamwa ne ŋŋamba oyo eyali ayimiridde mu maaso gange nti: “Mukama wange, okwolesebwa kuno kundeetedde okukankana era mpeddemu amaanyi.+ 17  Kale nze omuweereza wo, nnyinza ntya okwogera naawe mukama wange?+ Kubanga mpeddemu amaanyi era n’omukka gumpeddemu.”+ 18  Oyo eyali afaanana ng’omuntu n’addamu n’ankwatako n’anzizaamu amaanyi.+ 19  N’aŋŋamba nti: “Totya+ ggwe omusajja ow’omuwendo ennyo.*+ Emirembe gibe naawe.+ Ddamu amaanyi, era guma.” Bwe yayogera nange ne nziramu amaanyi ne ŋŋamba nti: “Mukama wange k’ayogere, kubanga onzizizzaamu amaanyi.” 20  Awo n’aŋŋamba nti: “Omanyi lwaki nzize gy’oli? Kaakano ŋŋenda kuddayo nnwane n’omulangira wa Buperusi.+ Bwe nnaagenda, omulangira wa Buyonaani ajja kujja. 21  Naye ŋŋenda kukubuulira ebintu ebiwandiikiddwa mu biwandiiko eby’amazima. Tewali mulala annyamba mu bintu bino wabula Mikayiri,+ omulangira wammwe.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Kidekeri.”
Oba, “omwagalwa ennyo.”
Oba, “omulangira ow’eddaala erisooka.”
Litegeeza, “Ani Alinga Katonda?”
Oba, “omwagalwa ennyo.”