Abaggalatiya 2:1-21
2 Oluvannyuma lw’emyaka 14 nnaddayo nate e Yerusaalemi nga ndi ne Balunabba,+ era ne Tito ne ŋŋenda naye.+
2 Naye nnagendayo olw’okubikkulirwa kwe nnafuna. Era nnabategeeza amawulire amalungi ge mbuulira mu b’amawanga. Kyokka nnagategeeza abo bokka abaali bassibwamu ennyo ekitiibwa, nga njagala okukakasa nti omulimu gw’obuweereza gwe nnali nkola, oba gwe nnali nkoze tegwali gwa bwereere.
3 Ate era, ne Tito+ eyali nange teyawalirizibwa kukomolwa+ wadde nga yali Muyonaani.
4 Naye ensonga eyo yajjawo olw’ab’oluganda ab’obulimba abajja mu ffe okuketta+ balabe eddembe lye tulina+ mu Kristo Yesu, basobole okutufuulira ddala abaddu;+
5 bano tetwabagondera wadde okumala akaseera akatono ennyo,*+ amazima g’amawulire amalungi gasobole okweyongera okubeera nammwe.
6 Naye abo abaali batwalibwa ng’abakulu+—ka babe nga baali bantu ba ngeri ki, si kikulu gye ndi, kubanga Katonda tatwalirizibwa ndabika ya muntu ey’okungulu—abo abaali bassibwamu ennyo ekitiibwa, sirina kipya kye nnafuna kuva gye bali.
7 Naye bwe baalaba nti nnali nkwasiddwa omulimu gw’okubuulira abatali bakomole+ amawulire amalungi nga Peetero bwe yali akwasiddwa ogw’okubuulira abakomole—
8 kubanga oyo eyawa Peetero obuyinza okuba omutume eri abakomole nange ye yampa obuyinza okuba omutume eri ab’amawanga+—
9 era bwe baategeera ekisa eky’ensusso ekyandagibwa,+ Yakobo,+ Keefa* ne Yokaana, abaali batwalibwa ng’empagi mu kibiina, ne batukwata mu ngalo, nze ne Balunabba+ okulaga nti baali bakikkirizza ffe tugende eri ab’amawanga naye bo bagende eri abakomole.
10 Kye baatusaba kyokka kwe kujjukiranga abaavu, era kino nfubye nnyo okukikola.+
11 Naye Keefa*+ bwe yajja mu Antiyokiya,+ nnamunenya* maaso ku maaso, kubanga kye yali akola tekyali kituufu n’akamu.
12 Kubanga abasajja abaava eri Yakobo+ bwe baali tebannajja, yali alya n’ab’amawanga;+ naye bwe bajja, n’alekera awo okulya nabo n’abeeyawulako olw’okutya abakomole.+
13 Abayudaaya abalala nabo baamwegattako mu bunnanfuusi buno, ne Balunabba naye n’atwalirizibwa obunnanfuusi bwabwe.
14 Naye bwe nnalaba nga baali tebatuukana na mazima ag’amawulire amalungi,+ ne ŋŋamba Keefa* mu maaso gaabwe bonna nti: “Bwe kiba nti ggwe, wadde oli Muyudaaya, weeyisa ng’ab’amawanga so si ng’Abayudaaya, oyinza otya okuwaliriza ab’amawanga okugoberera empisa z’Abayudaaya?”+
15 Ffe Abayudaaya ab’obuzaaliranwa, so si aboonoonyi okuva mu b’amawanga,
16 tukitegeera nti omuntu ayitibwa mutuukirivu si lwa kutuukiriza ebyo amateeka bye galagira naye olw’okukkiririza+ mu Yesu Kristo.+ N’olwekyo tukkiririza mu Kristo Yesu, tusobole okuyitibwa abatuukirivu lwa kukkiririza mu Kristo so si lwa kutuukiriza ebyo mateeka bye galagira, kubanga tewali muntu ajja* kuyitibwa mutuukirivu olw’okutuukiriza ebyo amateeka bye galagira.+
17 Kaakano bwe kiba nti ffe abaagala okuyitibwa abatuukirivu okuyitira mu Kristo tusangiddwa nga tuli boonoonyi, olwo ekyo kiba kitegeeza nti Kristo aba atukubiriza kwonoona? N’akatono!
18 Ebintu bye nnamenya bwe nziramu okubizimba, mba ndaga nti ndi mwonoonyi.
19 Kubanga okuyitira mu mateeka nnafa eri amateeka+ nsobole okubeera omulamu eri Katonda.
20 Nkomereddwa wamu ne Kristo ku muti.+ Si nze omulamu,+ naye Kristo ye mulamu mu nze. Mazima ddala, obulamu bwe nnina kati mu mubiri mbulina lwa kukkiririza mu Mwana wa Katonda+ eyanjagala ne yeewaayo ku lwange.+
21 Sigaana kisa kya Katonda eky’ensusso,+ kubanga bwe kiba nti obutuukirivu bufunibwa kuyitira mu mateeka, Kristo aba yafiira bwereere.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “essaawa.”
^ Era ayitibwa Peetero.
^ Oba, “nnamwaŋŋanga.”
^ Era ayitibwa Peetero.
^ Era ayitibwa Peetero.
^ Obut., “mubiri gujja.”