Eby’Abaleevi 21:1-24
21 Yakuwa era n’agamba Musa nti: “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti, ‘Tewabangawo kabona yenna eyeefuula atali mulongoofu olw’omuntu afudde mu bantu be.+
2 Naye ayinza okukikola olw’oyo amulinako oluganda olw’okumpi: nnyina, kitaawe, mutabani we, muwala we, muganda we;
3 era ayinza okukikola olwa mwannyina embeerera atannafumbirwa, alina enkolagana ey’oku lusegere naye.
4 Teyeefuulanga atali mulongoofu era teyeeyonoonanga olwa muka musajja ow’omu bantu be.
5 Tebamwangako nviiri za ku mitwe gyabwe,+ wadde okukomolanga ebirevu byabwe, era tebeesalanga misale ku mibiri gyabwe.+
6 Banaabanga batukuvu eri Katonda waabwe,+ era tebavvoolanga linnya lya Katonda waabwe,+ kubanga bawaayo ebiweebwayo bya Yakuwa ebyokebwa n’omuliro, omugaati* gwa Katonda waabwe, era banaabanga batukuvu.+
7 Tebawasanga malaaya+ oba omukazi atakyali mbeerera, oba omukazi eyagattululwa ne bba,+ kubanga kabona mutukuvu eri Katonda we.
8 Omutukuzanga,+ kubanga y’awaayo omugaati gwa Katonda wo. Anaabanga mutukuvu gy’oli, kubanga nze Yakuwa abatukuza ndi mutukuvu.+
9 “‘Muwala wa kabona bwe yeeyonoonanga ng’akola obwamalaaya, aba aweebuula kitaawe. Ayokebwanga omuliro.+
10 “‘Kabona asinga obukulu mu baganda be anaafukibwangako amafuta amatukuvu* ku mutwe gwe+ era n’atongozebwa* okwambala ebyambalo by’obwakabona,+ anaafangayo ku nviiri ze, era tayuzanga byambalo bye.+
11 Tasembereranga mulambo gwa muntu yenna.+ Teyeefuulanga atali mulongoofu olwa kitaawe wadde olwa nnyina.
12 Tavanga mu kifo ekitukuvu era tatyoboolanga ekifo kya Katonda we ekitukuvu,+ kubanga aliko akabonero ak’okwewaayo, kwe kugamba, amafuta amatukuvu aga Katonda.+ Nze Yakuwa.
13 “‘Omukazi gw’anaawasanga anaabanga mbeerera.+
14 Tawasanga nnamwandu, omukazi eyagattululwa ne bba, oyo atakyali mbeerera, oba malaaya. Naye awasanga omukazi embeerera okuva mu bantu be.
15 Taswazanga abaana be mu bantu be,+ kubanga nze Yakuwa amutukuza.’”
16 Yakuwa era n’ayogera ne Musa n’amugamba nti:
17 “Gamba Alooni nti, ‘Omuntu yenna mu zzadde lyo mu mirembe gyabwe gyonna eginaddawo anaabangako obulemu, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.
18 Omusajja yenna aliko obulemu, tasemberanga okuguwaayo: omuzibe w’amaaso, omulema, aliko obulemu mu maaso, alina amagulu oba emikono egitenkanankana,
19 eyamenyeka ekigere oba omukono,
20 ow’ebbango oba nnakampi, oba alina amaaso amalwadde oba ekiyobyo oba oluwumu oba eyayatika enjagi.+
21 Omusajja yenna aliko obulemu ow’omu zzadde lya Alooni kabona, tasemberanga okuwaayo ekiweebwayo kya Yakuwa ekyokebwa n’omuliro. Olw’okuba aliko obulemu, tasemberanga okuwaayo omugaati gwa Katonda we.
22 Asobola okulya ku mugaati gwa Katonda we, kwe kugamba, ebintu ebitukuvu ennyo+ n’ebintu ebitukuvu.+
23 Naye tagendanga okumpi n’olutimbe,+ era tasembereranga ekyoto,+ kubanga aliko obulemu; era tatyoboolanga ekifo kyange ekitukuvu,+ kubanga nze Yakuwa abatukuza.’”+
24 Awo Musa n’ayogera ne Alooni ne batabani be n’Abayisirayiri bonna.