2 Abassessalonika 2:1-17

  • Omujeemu (1-12)

  • Babuulirirwa okubeera abanywevu (13-17)

2  Naye ab’oluganda, ku bikwata ku kubeerawo kwa Mukama waffe Yesu Kristo+ ne ku kukuŋŋaanyizibwa kwaffe gy’ali,+ tubasaba  obutaleka ndowooza yammwe kutabulwatabulwa mangu, n’obutacamuukirira lwa kigambo ekiruŋŋamiziddwa*+ oba obubaka obuli mu bigambo, oba ebbaluwa eyinza okulabika ng’evudde gye tuli, nga mutegeezebwa nti olunaku lwa Yakuwa*+ lutuuse.  Tewabangawo omuntu n’omu abawabya* mu ngeri yonna, kubanga terulijja okutuusa ng’obwewagguzi+ bumaze okubaawo era nga n’omujeemu,+ omwana ow’okuzikirizibwa, amaze okulabika.+  Alwanyisa era yeeguluumiriza ku buli ayitibwa “katonda” ne ku buli kintu kyonna ekisinzibwa, era ekivaamu, atuula mu yeekaalu ya Katonda ne yeeraga mu lujjudde okuba katonda.  Temujjukira nti bwe nnali nkyali nammwe nnababuuliranga ebintu bino?  Era kaakano mumanyi ekimuziyiza okulabika, okutuusa ekiseera lwe kirituuka n’alabika.  Kyo kituufu nti kaakano obujeemu buno obuli mu kyama weebuli bukola+ era bujja kusigala nga buli mu kyama okutuusa ng’ekiziyiza kivuddewo.  Olwo omujeemu ajja kulabika, Mukama waffe Yesu gw’alitta n’omwoyo gw’omu kamwa ke+ era amuzikirize n’okulabisibwa+ kw’okubeerawo kwe.  Naye okubeerawo kw’omujeemu kuwagirwa Sitaani+ ng’akozesa buli kikolwa eky’amaanyi, obubonero obw’obulimba, ebyamagero,+ 10  n’obutali butuukirivu era n’obulimba+ obwa buli ngeri eri abo abazikirizibwa, era nga kino kye kibonerezo kyabwe kubanga teebayagala mazima agandibalokodde. 11  Eyo ye nsonga lwaki Katonda abaleka okubuzaabuzibwa bakkirize obulimba,+ 12  bonna basalirwe omusango kubanga tebakkiriza mazima naye baasanyukira obutali butuukirivu. 13  Naye bulijjo tulina okwebaza Katonda ku lwammwe ab’oluganda Yakuwa* b’ayagala, kubanga Katonda yabalonda+ okuva ku ntandikwa musobole okufuna obulokozi. Yabatukuza+ n’omwoyo gwe olw’okuba mwakkiriza amazima. 14  Yabayitira ekyo okuyitira mu mawulire amalungi ge tubuulira, musobole okufuna ekitiibwa kya Mukama waffe Yesu Kristo.+ 15  N’olwekyo ab’oluganda, mube banywevu,+ era munywerere ku bintu bye mwayigirizibwa+ ka bibe mu bigambo oba mu bbaluwa gye twabawandiikira. 16  Ate era, Mukama waffe Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyatwagala+ n’atuwa okubudaabuda okw’olubeerera n’essuubi eddungi+ okuyitira mu kisa kye eky’ensusso, 17  ka babudaabudde emitima gyammwe era babanyweze mu buli kikolwa ekirungi ne mu buli kigambo ekirungi.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “olw’omwoyo.” Laba Awanny., “Omwoyo.”
Oba, “abasendasenda.”