2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 36:1-23

  • Yekoyakazi, kabaka wa Yuda (1-3)

  • Yekoyakimu, kabaka wa Yuda (4-8)

  • Yekoyakini, kabaka wa Yuda (9, 10)

  • Zeddeekiya, kabaka wa Yuda (11-14)

  • Yerusaalemi kizikirizibwa (15-21)

  • Kuulo ayisa ekiragiro okuddamu okuzimba yeekaalu (22, 23)

36  Awo abantu b’omu nsi ne baddira Yekoyakazi mutabani wa Yosiya+ ne bamufuula kabaka mu Yerusaalemi n’adda mu kifo kya kitaawe.+  Yekoyakazi yatandika okufuga ng’alina emyaka 23, era yafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu.  Naye kabaka wa Misiri yamuggya ku bwakabaka mu Yerusaalemi era ensi n’agitanza ttalanta* 100 eza ffeeza ne ttalanta emu eya zzaabu.+  Ate era kabaka wa Misiri yafuula Eriyakimu muganda wa Yekoyakazi kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi era n’akyusa erinnya lye n’amutuuma Yekoyakimu; naye muganda we Yekoyakazi Neeko+ n’amutwala e Misiri.+  Yekoyakimu+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 25, era yafugira mu Yerusaalemi emyaka 11. Yeeyongera okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa Katonda we.+  Nebukadduneeza+ kabaka wa Babulooni yamulumba amusibe empingu bbiri ez’ekikomo amutwale e Babulooni.+  Era Nebukadduneeza yatwala e Babulooni ebimu ku bintu by’omu nnyumba ya Yakuwa n’abiteeka mu lubiri lwe e Babulooni.+  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yekoyakimu, ebintu eby’omuzizo bye yakola n’ebintu ebibi ebimumanyiddwako, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Isirayiri n’aba Yuda. Awo Yekoyakini mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+  Yekoyakini+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 18, era yafugira mu Yerusaalemi emyezi esatu n’ennaku kkumi; yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa.+ 10  Ku ntandikwa y’omwaka, Kabaka Nebukadduneeza yatuma abasajja be bamutwale e Babulooni+ era batwale n’ebintu eby’omuwendo eby’omu nnyumba ya Yakuwa.+ Era yaddira Zeddeekiya muganda wa kitaawe n’amufuula kabaka wa Yuda ne Yerusaalemi.+ 11  Zeddeekiya+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 21 era yafugira mu Yerusaalemi emyaka 11.+ 12  Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa Katonda we. Teyeetoowaza mu maaso ga nnabbi Yeremiya,+ eyayogeranga nga Yakuwa bwe yamulagiranga. 13  Yajeemera ne Kabaka Nebukadduneeza+ eyali amulayizza mu linnya lya Katonda; yawaganyala* era n’akakanyaza omutima gwe n’agaana okudda eri Yakuwa Katonda wa Isirayiri. 14  Abakulu bonna aba bakabona n’abantu baayitiriza obutaba beesigwa; baakola eby’omuzizo byonna eby’amawanga, era baayonoona ennyumba ya Yakuwa+ gye yatukuza mu Yerusaalemi. 15  Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe yabalabulanga ng’ayitira mu babaka be, yabalabula enfunda n’enfunda, kubanga yali asaasira abantu be n’ekifo kye ky’abeeramu. 16  Naye baajereganga ababaka ba Katonda ow’amazima+ ne banyooma ebigambo bye+ era ne basekerera ne bannabbi be,+ okutuusa obusungu bwa Yakuwa lwe bwabuubuukira abantu be,+ okutuusa lwe kyali nti waali tewakyali ssuubi lyonna lya kubawonya. 17  Kyeyava abaleetera kabaka w’Abakaludaaya+ eyatta n’ekitala abavubuka baabwe+ mu kifo kyabwe ekitukuvu.+ Teyasaasira mulenzi wadde omuwala, omukadde wadde oyo aliko obulemu.+ Katonda yawaayo buli kimu mu mukono gwe.+ 18  Ebintu byonna eby’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima, ebinene n’ebitono, n’eby’obugagga eby’omu nnyumba ya Yakuwa n’eby’obugagga bya kabaka n’eby’abaami be, byonna yabitwala e Babulooni.+ 19  Yayokya ennyumba ya Katonda ow’amazima+ era n’amenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi;+ yayokya ebigo byamu byonna era n’ayonoona ebintu byonna eby’omuwendo.+ 20  Abo bonna abaawona ekitala yabatwala e Babulooni+ ne bafuuka baweereza be+ era baweereza ba batabani be, okutuusa obwakabaka bwa Buperusi lwe bwatandika okufuga,+ 21  okutuukiriza ekigambo Yakuwa kye yayogera okuyitira mu Yeremiya,+ okutuusa ensi lwe yamala okusasula ssabbiiti zaayo.+ Ennaku zonna ze yamala ng’eri matongo yali ekwata ssabbiiti, etuukirize emyaka 70.+ 22  Mu mwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Kabaka Kuulo+ owa Buperusi, ekigambo Yakuwa kye yayogera ng’ayitira mu Yeremiya+ okusobola okutuukirira, Yakuwa yateeka ekirowoozo mu mutima* gwa Kuulo kabaka wa Buperusi n’ayisa ekirango mu bwakabaka bwe bwonna era n’akissa ne mu buwandiike,+ nga kigamba nti: 23  “Bw’ati Kabaka Kuulo owa Buperusi bw’agamba, ‘Yakuwa Katonda w’eggulu ampadde obwakabaka bwonna obw’omu nsi+ era annonze okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda.+ Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Yakuwa Katonda we abeere naye, agende.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Ttalanta yali yenkana kilo 34.2. Laba Ebyong. B14.
Obut., “yakakanyaza ensingo.”
Obut., “yasiikuula omwoyo.”