2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 28:1-27
28 Akazi+ yatandika okufuga ng’alina emyaka 20, era yafugira emyaka 16 mu Yerusaalemi. Teyakola birungi mu maaso ga Yakuwa nga jjajjaawe Dawudi bwe yakola.+
2 Naye yatambulira mu makubo ga bakabaka ba Isirayiri,+ era n’akola n’ebifaananyi bya Babbaali eby’ekyuma.*+
3 Yanyookereza omukka gwa ssaddaaka mu Kiwonvu ky’Omwana wa Kinomu* era n’ayokya abaana be mu muliro+ ng’agoberera eby’omuzizo ebyakolebwanga amawanga+ Yakuwa ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri.
4 Ate era yawangayo ssaddaaka era n’anyookereza omukka gwa ssaddaaka ku bifo ebigulumivu+ ne ku busozi ne wansi wa buli muti ogw’ebikoola ebingi.+
5 Yakuwa Katonda we kyeyava amuwaayo mu mukono gwa kabaka wa Busuuli,+ ne bamuwangula era ne bawamba abantu bangi ne babatwala e Ddamasiko.+ Era yaweebwayo ne mu mukono gwa kabaka wa Isirayiri, eyatta abantu be bangi.
6 Peka+ mutabani wa Lemaliya yatta abantu 120,000 mu Yuda ku lunaku lumu, nga bonna basajja bazira, kubanga baali balese Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe.+
7 Ne Zikuli omulwanyi ow’omu Efulayimu yatta Maaseya mutabani wa kabaka ne Azulikamu eyali alabirira olubiri* ne Erukaana eyali addirira kabaka.
8 Ate era abaana ba Isirayiri baawamba baganda baabwe 200,000—abakazi, n’abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala; baanyaga n’ebintu bingi ne babitwala e Samaliya.+
9 Naye waaliwo nnabbi wa Yakuwa ayitibwa Odedi eyagenda eri eggye eryali likomawo e Samaliya n’abagamba nti: “Olw’okuba Yakuwa Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abawaayo mu mukono gwammwe+ era mubasse n’obusungu obutumbidde okutuuka mu ggulu.
10 Kaakano abantu ba Yuda n’aba Yerusaalemi mwagala kubafuula baweereza bammwe abasajja n’abakazi.+ Naye nammwe temuliiko musango mu maaso ga Yakuwa Katonda wammwe?
11 Kaakano mumpulirize muzzeeyo abantu be muwambye ku baganda bammwe, kubanga Yakuwa abasunguwalidde nnyo.”
12 Awo abamu ku baami b’Abeefulayimu, Azaliya mutabani wa Yekokanani, Berekiya mutabani wa Mesiremoosi, Yekizukiya mutabani wa Salumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi, ne bagenda eri abo abaali bava okulwana,
13 ne babagamba nti: “Temuleeta wano bawambe kubanga kijja kutuleetako omusango mu maaso ga Yakuwa. Ekyo kye mwagala okukola kijja kwongera ku bibi byaffe ne ku musango gwe tulina; kubanga omusango gwe tulina munene era Isirayiri esunguwaliddwa.”
14 Awo abasirikale abaalina eby’okulwanyisa ne bawaayo abawambe n’omunyago+ eri abaami n’ekibiina kyonna.
15 Awo abasajja abaali balondeddwa ne bayimuka ne batwala abawambe; abo bonna abaali obwereere ne babawa engoye nga bazitoola ku munyago. Baabambaza ne babawa n’engatto n’eby’okulya n’eby’okunywa n’amafuta ag’okwesiiga. Ate era abo bonna abaali banafuye baabateeka ku ndogoyi ne babatwala eri baganda baabwe e Yeriko, ekibuga eky’enkindu. Oluvannyuma bo ne baddayo e Samaliya.
16 Mu kiseera ekyo Kabaka Akazi n’asaba bakabaka ba Bwasuli bamuyambe.+
17 Era Abeedomu baddamu okulumba Yuda ne bawamba abantu ne babatwala.
18 Abafirisuuti+ nabo baalumba ebibuga eby’omu Sefera+ ne mu Negebu ebya Yuda ne bawamba Besu-semesi+ ne Ayalooni+ ne Gederosi ne Soko n’obubuga obukyetoolodde ne Timuna+ n’obubuga obukyetoolodde ne Gimuzo n’obubuga obukyetoolodde; ne batandika okubibeeramu.
19 Yakuwa yatoowaza Yuda olwa Akazi kabaka wa Isirayiri olw’okuba yaleka abantu ba Yuda okweyisa nga bwe baagala, ne kibaviirako obutaba beesigwa n’akamu eri Yakuwa.
20 Awo Tirugasu-piruneseri kabaka wa Bwasuli+ n’amulumba n’amulabya ennaku+ mu kifo ky’okumuyamba.
21 Akazi yali yaggya ebintu mu nnyumba ya Yakuwa ne mu nnyumba* ya kabaka+ ne mu nnyumba z’abaami, n’abiwa kabaka wa Bwasuli ng’ekirabo, naye ekyo tekyamuyamba.
22 Kyokka ne mu kiseera mwe yalabira ennaku, Kabaka Akazi yeeyongera bweyongezi butaba mwesigwa eri Yakuwa.
23 Yatandika n’okuwaayo ssaddaaka eri bakatonda b’e Ddamasiko+ abaamuwangula,+ n’agamba nti: “Olw’okuba bakatonda ba bakabaka ba Busuuli babayamba, nange nja kuwaayo ssaddaaka gye bali bannyambe.”+ Naye baamuviirako ye ne Isirayiri yonna okwesittala.
24 Ate era Akazi yakuŋŋaanya ebintu ebyakozesebwanga mu nnyumba ya Katonda ow’amazima n’abitemaatema;+ n’aggala enzigi z’ennyumba ya Yakuwa,+ era ne yeekolera ebyoto mu makoona gonna ag’enguudo z’omu Yerusaalemi.
25 Era yazimba ebifo ebigulumivu mu bibuga bya Yuda byonna okunyookererezangamu omukka gwa ssaddaaka eri bakatonda abalala,+ bw’atyo n’anyiiza Yakuwa Katonda wa bajjajjaabe.
26 Ebyafaayo bye ebirala, ebintu byonna bye yakola okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, biwandiikiddwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda n’aba Isirayiri.+
27 Awo Akazi n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, ne bamuziika mu kibuga Yerusaalemi, naye tebaamuziika we baaziikanga bakabaka ba Isirayiri.+ Keezeekiya mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.