2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 22:1-12
22 Awo abantu b’omu Yerusaalemi ne bafuula Akaziya* omwana we asembayo obuto kabaka mu kifo kye, kubanga ekibinja ky’abazigu ekyajja n’Abawalabu mu lusiisira, kyatta abaana be bonna abakulu.+ Bw’atyo Akaziya mutabani wa Yekolaamu n’atandika okufuga nga kabaka wa Yuda.+
2 Akaziya yalina emyaka 22 we yafuukira kabaka, era yafugira omwaka gumu mu Yerusaalemi. Nnyina yali ayitibwa Asaliya+ muzzukulu* wa Omuli.+
3 Era naye yatambulira mu makubo g’ab’ennyumba ya Akabu+ kubanga nnyina ye yamuwanga amagezi okukola ebintu ebibi.
4 Yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, kubanga kitaawe bwe yafa, ab’ennyumba ya Akabu be baamuwanga amagezi era ne gamuviirako okuzikirira.
5 Ate era yakolera ku magezi ge baamuwa n’agenda ne Yekolaamu mutabani wa Akabu kabaka wa Isirayiri okulwanyisa Kazayeeri+ kabaka wa Busuuli e Lamosi-gireyaadi,+ era eyo abalasi gye baalasiza Yekolaamu.
6 Awo Yekolaamu n’addayo e Yezuleeri+ awone ebisago bye baamutuusaako ng’ali e Laama bwe yali alwanyisa Kabaka Kazayeeri owa Busuuli.+
Akaziya* mutabani wa Yekolaamu+ kabaka wa Yuda n’agenda e Yezuleeri okulaba Yekolaamu+ mutabani wa Akabu olw’okuba yali atuusiddwako ebisago.*+
7 Naye Katonda yaleetera Akaziya okufa, Akaziya bwe yagenda okukyalira Yekolaamu. Era bwe yatuukayo n’agenda ne Yekolaamu eri Yeeku+ muzzukulu* wa Nimusi Yakuwa gwe yali afuseeko amafuta okuzikiriza ennyumba ya Akabu.+
8 Yeeku bwe yali atuukiriza omusango ogwali gusaliddwa ennyumba ya Akabu, n’asanga abaami ba Yuda n’abaana ba baganda ba Akaziya, abaweereza ba Akaziya, n’abatta.+
9 N’anoonya ne Akaziya; ne bamukwatira e Samaliya gye yali yeekwese, ne bamuleeta eri Yeeku. Ne bamutta era ne bamuziika,+ kubanga baagamba nti: “Muzzukulu wa Yekosafaati eyanoonya Yakuwa n’omutima gwe gwonna.”+ Tewaali n’omu mu nnyumba ya Akaziya eyali asobola okufuga nga kabaka.
10 Asaliya+ nnyina wa Akaziya bwe yalaba nga mutabani we afudde, n’atta abaana ba kabaka bonna ab’ennyumba ya Yuda.+
11 Kyokka Yekosabeyaasi muwala wa kabaka yaggya Yekowaasi+ mutabani wa Akaziya mu baana ba kabaka abaali bagenda okuttibwa, n’amutwala mu bubba, ye n’omulezi we n’abateeka mu kisenge ekisulwamu. Yekosabeyaasi muwala wa Kabaka Yekolaamu+ (yali muka Yekoyaada+ kabona era nga mwannyina wa Akaziya) yasobola okumukweka Asaliya, bw’atyo n’atamutta.+
12 Omwana oyo n’abeera nabo okumala emyaka mukaaga ng’akwekeddwa mu nnyumba ya Katonda ow’amazima, nga Asaliya afuga eggwanga.
Obugambo Obuli Wansi
^ Ono ye Yekoyakazi ayogerwako mu 21:17.
^ Obut., “muwala.”
^ Oba, “yali mulwadde.”
^ Mu mizingo egimu egy’Olwebbulaniya ayitibwa “Azaliya.”
^ Obut., “mutabani.”