2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 16:1-14

  • Asa akola endagaano ne Busuuli (1-6)

  • Kanani anenya Asa (7-10)

  • Asa afa (11-14)

16  Mu mwaka ogw’asatu mu omukaaga ogw’obufuzi bwa Asa, Baasa+ kabaka wa Isirayiri yalumba Yuda n’atandika okuzimba* Laama+ aziyize omuntu yenna okuva eri Kabaka Asa owa Yuda+ oba okugenda gy’ali.*  Awo Asa n’aggya ffeeza ne zzaabu mu mawanika g’omu nnyumba ya Yakuwa+ n’ag’omu nnyumba ya* kabaka n’abiweereza Beni-kadadi kabaka wa Busuuli+ eyali abeera mu Ddamasiko, ng’agamba nti:  “Waliwo endagaano wakati wange naawe ne wakati wa kitange ne kitaawo. Nkuweerezza ffeeza ne zzaabu. Genda omenye endagaano eri wakati wo ne Baasa kabaka wa Isirayiri, anveeko.”  Beni-kadadi n’awuliriza Kabaka Asa, n’atuma abakulu b’amagye ge okulumba ebibuga bya Isirayiri; ne balwanyisa Yiyoni+ ne Ddaani+ ne Aberu-mayimu n’amaterekero gonna ag’omu bibuga bya Nafutaali.+  Baasa olwakiwulira n’alekera awo okuzimba* Laama, n’ayimiriza omulimu.  Awo Kabaka Asa n’atwala Yuda yonna ne baggyayo amayinja n’embaawo ebyali e Laama+ Baasa bye yali azimbisa,+ n’abizimbisa* Geba+ ne Mizupa.+  Awo Kanani+ omulabi n’ajja eri kabaka Asa owa Yuda n’amugamba nti: “Olw’okuba weesize* kabaka wa Busuuli n’oteesiga* Yakuwa Katonda wo, eggye lya kabaka wa Busuuli lisimattuse mu mukono gwo.+  Abeesiyopiya n’Abalibiya tebaali ggye ddene nnyo nga balina amagaali mangi n’abeebagazi b’embalaasi bangi? Naye olw’okuba weesiga Yakuwa, yabawaayo mu mukono gwo.+  Amaaso ga Yakuwa gatambulatambula mu nsi yonna+ okulaga amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.*+ Kino ky’okoze kya busirusiru, era okuva kati ojja kubeeranga n’entalo.”+ 10  Kyokka Asa n’anyiigira omulabi n’amuteeka mu kkomera,* kubanga yamusunguwalira olw’ekyo kye yamugamba. Era mu kiseera ekyo Asa n’atandika okuyisa obubi abamu ku bantu. 11  Ebyafaayo bya Asa, okuva ku byasooka okutuukira ddala ku byasembayo, byawandiikibwa mu Kitabo kya Bakabaka ba Yuda n’aba Isirayiri.+ 12  Mu mwaka ogw’asatu mu omwenda ogw’obufuzi bwe, Asa yalwala ebigere era obulwadde bwe ne bweyongerera ddala; kyokka ne mu bulwadde bwe teyanoonya Yakuwa wabula yanoonya bavumuzi. 13  Oluvannyuma Asa yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe;+ yafa mu mwaka ogw’ana mu ogumu ogw’obufuzi bwe. 14  Ne bamuziika mu ntaana ey’ekitiibwa gye yeekolera mu Kibuga kya Dawudi.+ Ne bamugalamiza ku kitanda kye baali bajjuzza amafuta ga basamu n’amafuta amalala ag’enjawulo agaali gatabuddwa obulungi.+ Ate era baakuma omuliro ogw’amaanyi okulaga nti bamuwa ekitiibwa.*

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okunyweza; okuddamu okuzimba.”
Oba, “okuva mu kitundu kya Asa kabaka wa Yuda oba okukiyingira.”
Oba, “lubiri lwa.”
Oba, “okunyweza; okuddamu okuzimba.”
Oba, “n’abikozesa okunyweza; n’abikozesa okuddamu okuzimba.”
Obut., “weesigamye ku.”
Obut., “n’oteesigama ku.”
Oba, “ogumwemaliddeko.”
Obut., “nnyumba y’envuba.”
Kirabika tebaayokya mulambo gwa Asa, wabula baayokya bya kaloosa.