2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 11:1-23
11 Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, amangu ago n’akuŋŋaanya ab’ennyumba ya Yuda n’eya Benyamini,+ abasajja 180,000 abalwanyi abatendeke,* balwanyise Isirayiri bakomyewo obwakabaka eri Lekobowaamu.+
2 Awo Yakuwa n’agamba Semaaya+ omusajja wa Katonda ow’amazima nti:
3 “Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda n’Abayisirayiri bonna abali mu Yuda ne mu Benyamini nti,
4 ‘Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Temugenda kulwanyisa baganda bammwe. Buli omu addeyo mu nnyumba ye, kubanga ekyo nze nnakireetedde okuba bwe kityo.”’”+ Ne bagondera ekigambo kya Yakuwa ne batagenda kulwana na Yerobowaamu.
5 Lekobowaamu n’abeera mu Yerusaalemi, n’azimba mu Yuda ebibuga ebiriko bbugwe.
6 Yazimba* Besirekemu+ ne Etamu ne Tekowa+
7 ne Besu-zuli ne Soko+ ne Adulamu+
8 ne Gaasi+ ne Malesa ne Zifu+
9 ne Adolayimu ne Lakisi+ ne Azeka+
10 ne Zola ne Ayalooni+ ne Kebbulooni,+ ebibuga ebyali mu Yuda ne mu Benyamini ebyaliko bbugwe.
11 Era yanyweza ebibuga ebyaliko bbugwe n’abiteekamu abakulembeze, n’abawa emmere n’amafuta n’omwenge.
12 Ate era mu bibuga eby’enjawulo yateekamu engabo ennene n’amafumu; yabinywereza ddala nnyo, era yeeyongera okufuga Yuda ne Benyamini.
13 Bakabona n’Abaleevi abaali mu Isirayiri yonna ne bava mu bitundu byabwe byonna ne bajja ne bamuwagira.
14 Abaleevi baaleka ettaka lyabwe n’ebintu byabwe+ ne bajja mu Yuda ne mu Yerusaalemi kubanga Yerobowaamu ne batabani be baabagoba ku gw’okuweereza nga bakabona ba Yakuwa.+
15 Yerobowaamu yeeteerawo bakabona ku bifo ebigulumivu+ okuweerezanga dayimooni ezaakula ng’embuzi*+ n’ennyana ze yali akoze.+
16 Era okuva mu bika byonna ebya Isirayiri, abo abaali bamaliridde mu mutima gwabwe okunoonya Yakuwa Katonda wa Isirayiri baagoberera bakabona n’Abaleevi ne bajja e Yerusaalemi okuwangayo ssaddaaka eri Yakuwa Katonda wa bajjajjaabwe.+
17 Baanyweza obwakabaka bwa Yuda ne bawagira Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani okumala emyaka esatu, kubanga baatambulira mu kkubo lya Dawudi ne Sulemaani okumala emyaka esatu.
18 Awo Lekobowaamu n’awasa Makalasi muwala wa Yerimosi mutabani wa Dawudi, era yali muwala wa Abikayiri muwala wa Eriyaabu+ mutabani wa Yese.
19 Yamuzaalira abaana ab’obulenzi bano: Yewusi, Semaliya, ne Zakamu.
20 Bwe yamala okuwasa oyo n’awasa ne Maaka muzzukulu wa Abusaalomu+ eyamuzaalira Abiya,+ ne Attayi, ne Ziza, ne Seromisi.
21 Lekobowaamu yayagala nnyo Maaka muzzukulu wa Abusaalomu okusinga bakazi be abalala bonna n’abazaana be.+ Yalina abakazi 18 n’abazaana 60, era yazaala abaana ab’obulenzi 28 n’ab’obuwala 60.
22 Lekobowaamu yalonda Abiya mutabani wa Maaka okukulira baganda be, kubanga gwe yayagala okufuula kabaka.
23 Naye yakozesa amagezi n’ateeka* abamu ku batabani be mu bitundu byonna ebya Yuda ne Benyamini, mu bibuga byonna ebyaliko bbugwe,+ n’abawa ebyetaago mu bungi era n’abawasiza abakazi bangi.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “abalondemu.”
^ Oba, “Yanyweza.”
^ Obut., “okuweerezanga embuzi.”
^ Oba, “n’asaasaanya.”