1 Timoseewo 4:1-16

  • Okulabula okukwata ku njigiriza za badayimooni (1-5)

  • Okufuuka omuweereza omulungi owa Kristo (6-10)

    • Okutendeka omubiri n’okwemalira ku Katonda (8)

  • Ssaayo omwoyo ku kuyigiriza kwo (11-16)

4  Naye ekigambo ekyaluŋŋamizibwa Katonda kigamba* nti, mu biseera eby’omu maaso abamu bajja kuva mu kukkiriza, olw’okuwuliriza ebigambo ebibuzaabuza ebyaluŋŋamizibwa,*+ n’okuyigiriza kwa badayimooni,  nga batwalirizibwa obunnanfuusi bw’abantu aboogera eby’obulimba,+ abalina omuntu ow’omunda alinga enkovu ey’oku mubiri ogwayokebwa ekyuma.  Bagaana abantu okufumbiriganwa+ n’okulya eby’okulya+ Katonda bye yatonda,+ abo abalina okukkiriza+ era abamanyidde ddala amazima babirye oluvannyuma lw’okwebaza.  Kubanga buli kitonde kya Katonda kirungi+ era tewali kirina kugaanibwa+ kasita kiriibwa oluvannyuma lw’okwebaza,  kubanga kitukuzibwa okuyitira mu kigambo kya Katonda ne mu kukisabira.  Bw’onoowa ab’oluganda amagezi gano ojja kuba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, aliisibwa ebigambo eby’okukkiriza n’eby’okuyigiriza okulungi kw’ogobereredde ddala.+  Naye weewalenga enfumo ez’obulimba era ezitalina mugaso,+ ng’ezo ezoogerwa abakazi abakadde. Wabula beera n’ekiruubirirwa eky’okwetendeka mu kwemalira ku Katonda.  Kubanga okutendeka omubiri kugasa kitono, naye okwemalira ku Katonda kugasa mu bintu byonna, kubanga kutuwa essuubi ery’obulamu obw’omu kiseera kino n’obwo obugenda okujja.+  Ebigambo ebyo byesigika era bisaana okukkirizibwa mu bujjuvu. 10  Olw’ensonga eyo, tukola nnyo era tufuba,+ kubanga essuubi lyaffe tulitadde mu Katonda omulamu, Omulokozi+ w’abantu aba buli ngeri,+ naddala abeesigwa. 11  Bawenga ebiragiro bino era obibayigirizenga. 12  Omuntu yenna takunyoomanga olw’obuvubuka bwo, naye beeranga kyakulabirako eri abeesigwa, mu kwogera, mu nneeyisa, mu kwagala, mu kukkiriza, ne mu bulongoofu. 13  Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde,+ okubuuliriranga, n’okuyigirizanga, okutuusa lwe ndijja. 14  Togayaaliriranga kirabo ekiri mu ggwe ekyakuweebwa okuyitira mu bunnabbi, akakiiko k’abakadde bwe kaakussaako emikono.+ 15  Ebintu bino bifumiitirizengako; byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna. 16  Ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo.+ Ebintu bino binywerereko, kubanga bw’onookola bw’otyo ojja kwerokola era olokole n’abo abakuwuliriza.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “omwoyo gugamba.”
Obut., “emyoyo egibuzaabuza.”