1 Samwiri 6:1-21
-
Abafirisuuti bakomyawo Essanduuko mu Isirayiri (1-21)
6 Essanduuko+ ya Yakuwa yali mu kitundu ky’Abafirisuuti okumala emyezi musanvu.
2 Awo Abafirisuuti ne bayita bakabona n’abalaguzi+ ne bababuuza nti: “Essanduuko ya Yakuwa tugikolere ki? Mutubuulire bwe tuba tugiweereza eddeyo mu kifo kyayo.”
3 Ne babaddamu nti: “Bwe muba muweereza essanduuko y’endagaano ya Yakuwa Katonda wa Isirayiri temugiweereza nga teriiko kiweebwayo. Mulina okumuwa ekiweebwayo olw’omusango.+ Olwo lwe mujja okuwonyezebwa, era kijja kumanyika lwaki omukono gwe tegubavuddeeko.”
4 Awo ne babuuza nti: “Kiweebwayo ki olw’omusango kye tuba tumuweereza? Ne babaddamu nti: “Ebibumbe by’ebizimba bitaano ebya zzaabu n’ebibumbe by’emmese bitaano ebya zzaabu, ng’omuwendo gw’abafuzi b’Abafirisuuti+ bwe guli, kubanga buli omu ku mmwe n’abafuzi bammwe mufunye ekibonyoobonyo kye kimu.
5 Mulina okukola ebibumbe ebifaanana ng’ebizimba byammwe n’ebifaanana ng’emmese zammwe+ ezoonoona ensi, era mulina okuwa Katonda wa Isirayiri ekitiibwa. Oboolyawo anaabaggyako ekibonerezo mmwe ne bakatonda bammwe n’ensi yammwe.+
6 Lwaki mukakanyaza emitima gyammwe ng’Abamisiri ne Falaawo bwe baakakanyaza emitima gyabwe?+ Yamala kubabonereza nnyo+ ne balyoka baleka Abayisirayiri ne bavaayo.+
7 Kaakano muteeketeeke ekigaali ekipya n’ente bbiri ezirina ennyana era ezitasibwangako kikoligo, muzisibe ku kigaali, naye muziggyeko ennyana zaazo muzizzeeyo eka.
8 Era muddire Essanduuko ya Yakuwa mugiteeke ku kigaali, era muteeke ebibumbe ebya zzaabu bye mumuweereza ng’ekiweebwayo olw’omusango mu bbookisi okumpi n’Essanduuko.+ Oluvannyuma mugisindike egende,
9 era mutunule: Bw’eneekwata oluguudo olugenda e Besu-semesi,+ mu kitundu kyayo, olwo y’anaaba atutuusizzaako ekintu kino ekibi ennyo. Naye bwe kitaabe bwe kityo, olwo nga tumanya nti si y’atubonerezza, wabula nti bitugwiridde bugwizi.”
10 Abasajja ne bakola bwe batyo, ne baddira ente bbiri ezaalina ennyana ne bazisiba ku kigaali, ennyana zaazo ne bazisibira awaka.
11 Bwe baamala, ne bateeka Essanduuko ya Yakuwa ku kigaali, ne bbookisi eyalimu ebibumbe by’emmese ebya zzaabu n’ebibumbe by’ebizimba byabwe.
12 Ente ne zigenda butereevu mu luguudo olugenda e Besu-semesi.+ Zaasigala ku luguudo lumu, era zaagenda ziŋooŋa; tezakyama ku ddyo oba ku kkono. Abafuzi b’Abafirisuuti baagenda bazivaako emabega okutuukira ddala ku nsalo ya Besu-semesi.
13 Abantu b’e Besu-semesi baali bakungula ŋŋaano mu lusenyi. Bwe baayimusa amaaso ne balaba Essanduuko, ne basanyuka nnyo.
14 Ekigaali ne kigenda mu kibanja kya Yoswa Omubesu-semesi ne kiyimirira okumpi n’ejjinja eddene. Awo ne batemaatema embaawo z’ekigaali, ente+ ne baziwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Yakuwa.
15 Awo Abaleevi+ ne basitula Essanduuko ya Yakuwa ne bbookisi eyali nayo omwali ebibumbe ebya zzaabu, ne babiteeka ku jjinja eddene. Abantu b’omu Besu-semesi+ ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, era ne bawaayo ne ssaddaaka eri Yakuwa ku lunaku olwo.
16 Abafuzi abataano ab’Abafirisuuti bwe baakiraba ne baddayo e Ekulooni ku lunaku olwo.
17 Bino by’ebibumbe by’ebizimba ebya zzaabu Abafirisuuti bye baaweereza ng’ekiweebwayo olw’omusango eri Yakuwa:+ ekya Asudodi+ kimu, ekya Gaaza kimu, ekya Asukulooni kimu, ekya Gaasi+ kimu, n’ekya Ekulooni+ kimu.
18 Omuwendo gw’ebibumbe by’emmese ebya zzaabu gwali gwenkana n’omuwendo gw’ebibuga byonna eby’Abafirisuuti eby’abafuzi abataano—ebibuga ebiriko bbugwe n’ebyalo ebitaliiko bigo.
Ejjinja eddene kwe baateeka Essanduuko ya Yakuwa bujulizi n’okutuusa leero mu kibanja kya Yoswa Omubesu-semesi.
19 Naye Katonda yatta abantu b’omu Besu-semesi, olw’okuba baatunula ku Ssanduuko ya Yakuwa. Yatta abantu 50,070* abantu ne bakungubaga olw’okuba Yakuwa yali asse abantu bangi nnyo.+
20 Awo abantu b’omu Besu-semesi ne babuuza nti: “Ani anaasobola okuyimirira mu maaso ga Yakuwa, Katonda ono omutukuvu,+ era anaagenda w’ani ng’avudde wano?”+
21 Ne batuma ababaka eri abantu b’omu Kiriyasu-yalimu+ ne babagamba nti: “Abafirisuuti bakomezzaawo Essanduuko ya Yakuwa. Mujje mugitwale ewammwe.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “abantu 70, abantu 50,000.”