1 Samwiri 3:1-21

  • Samwiri ayitibwa okuba nnabbi (1-21)

3  Mu kiseera ekyo, omwana Samwiri yali aweereza+ Yakuwa mu maaso ga Eli, naye mu nnaku ezo ekigambo kya Yakuwa kyali kya bbalirirwe; okwolesebwa+ tekwali kungi.  Amaaso ga Eli gaali gayimbadde nga takyalaba.+ Lwali lumu bwe yali ng’agalamidde mu kisenge kye,  ng’ettaala ya Katonda+ tennazikizibwa, kino ne kibaawo: Samwiri bwe yali agalamidde mu yeekaalu*+ ya Yakuwa omwali Essanduuko ya Katonda,  Yakuwa n’ayita Samwiri. Samwiri n’addamu nti: “Wangi!”  Awo n’adduka n’agenda eri Eli n’amugamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Naye n’amuddamu nti “Sikuyise. Ddayo weebake.” N’addayo ne yeebaka.  Yakuwa n’addamu n’amuyita nti: “Samwiri!” Awo Samwiri n’ayimuka n’agenda eri Eli n’amugamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Naye n’amuddamu nti: “Sikuyise mwana wange. Ddayo weebake.”  (Samwiri yali tannamanya bulungi Yakuwa, era n’ekigambo kya Yakuwa kyali tekinnamubikkulirwa.)+  Awo Yakuwa n’amuyita omulundi ogw’okusatu nti: “Samwiri!” Samwiri n’ayimuka n’agenda eri Eli n’amugamba nti: “Nzuuno, kubanga ompise.” Awo Eli n’akitegeera nti Yakuwa ye yali ayita omwana oyo.  Eli n’agamba Samwiri nti: “Genda weebake; bw’anaddamu okukuyita, ddamu nti, ‘Yogera Yakuwa, kubanga omuweereza wo awulira.’” Samwiri n’agenda ne yeebaka mu kifo kye. 10  Yakuwa n’addamu n’akoowoola nti: “Samwiri, Samwiri!” Samwiri n’addamu nti: “Yogera, kubanga omuweereza wo awulira.” 11  Yakuwa n’agamba Samwiri nti: “Laba! Ŋŋenda kukola ekintu mu Isirayiri ekinaawaawaaza amatu gombi ag’oyo yenna anaakiwulira.+ 12  Ku lunaku olwo nja kutuukiriza ku Eli ebyo byonna bye nnayogera ku nnyumba ye, okuva ku kisooka okutuuka ku kisembayo.+ 13  Ate era mugambe nti ennyumba ye ŋŋenda kugibonereza emirembe gyonna olw’ensobi gy’amanyi,+ olw’okuba batabani be bakolimira Katonda,+ naye tabakangavvudde.+ 14  Eyo ye nsonga lwaki ndayiridde ab’ennyumba ya Eli nti ensobi yaabwe teritangirirwa na ssaddaaka wadde ebiweebwayo.”+ 15  Samwiri ne yeebaka okutuusa ku makya, oluvannyuma n’aggulawo enzigi z’ennyumba ya Yakuwa. Samwiri yali atya okubuulira Eli ebyo bye yali ayoleseddwa. 16  Naye Eli n’ayita Samwiri nti: “Samwiri mwana wange!” Samwiri n’amuddamu nti: “Nzuuno.” 17  N’amubuuza nti: “Kiki kye yakugambye? Nkwegayiridde tokinkisa. Katonda akubonereze era ayongere ku kibonerezo kyo singa onkisa ekigambo kyonna ku ebyo byonna bye yakugambye.” 18  Awo Samwiri n’amubuulira byonna, era n’atamukisa kintu kyonna. Eli n’agamba nti: “Ye Yakuwa. K’akole ekyo ky’alaba nga kye kirungi mu maaso ge.” 19  Samwiri yeeyongera okukula era Yakuwa yali naye,+ era teyaganya kigambo kye kyonna butatuukirira.* 20  Abayisirayiri bonna okuva e Ddaani okutuuka e Beeru-seba baakitegeera nti Samwiri yali akakasiddwa okuba nnabbi wa Yakuwa. 21  Yakuwa yeeyongera okulabika mu Siiro, kubanga e Siiro Yakuwa gye yeeyolekeranga eri Samwiri okuyitira mu kigambo kya Yakuwa.+

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, weema entukuvu.
Obut., “kugwa ku nsi.”