1 Samwiri 2:1-36
2 Awo Kaana n’asaba ng’agamba nti:
“Omutima gwange musanyufu olw’ebyo Yakuwa by’ankoledde;+Yakuwa agulumizza ejjembe* lyange.
Akamwa kange kaasamye okuddamu abalabe bange,Kubanga nsanyuka olw’ebikolwa byo eby’obulokozi.
2 Tewali mutukuvu nga Yakuwa,Tewali n’omu okuggyako ggwe,+Era tewali lwazi lulinga Katonda waffe.+
3 Temwogezanga malala;Temumalanga googera,Kubanga Yakuwa ye Katonda amanyi byonna,+Era alamula na bwenkanya ebikolwa by’abantu.
4 Emitego gy’abasajja ab’amaanyi gimenyeddwamenyeddwa,Naye abo abanafu bafuuse ba maanyi.+
5 Abalya obulungi bajja kupakasa okufuna emmere,Naye abalumwa enjala, tejja kuddamu kubaluma.+
Omukazi omugumba azadde musanvu,+Naye oyo eyazaala abaana abangi ayongobedde.*
6 Yakuwa atta, era azzaawo obulamu;*Aserengesa emagombe,* era azuukiza.+
7 Yakuwa ayavuwaza, era agaggawaza;+Atoowaza, era agulumiza.+
8 Ayimusa omunaku okuva mu nfuufu;Aggya omwavu ku ntuumu y’evvu,*+Okubatuuza wamu n’abalangira,Okubawa entebe ez’ekitiibwa.
Ebiwanirira ensi bya Yakuwa,+Era okwo kw’atadde ensi.
9 Aluŋŋamya ebigere by’abo abeesigwa gy’ali;+Naye ababi basirisibwa mu kizikiza,+Kubanga omuntu tawangula lwa maanyi.+
10 Yakuwa ajja kubetenta abo abamulwanyisa;*+Ajja kubawulugumira ng’ayima mu ggulu.+
Yakuwa ajja kulamula ensi yonna,+Ajja kuwa kabaka we obuyinza,+Era agulumize ejjembe* ly’oyo gwe yafukako amafuta.”+
11 Awo Erukaana n’addayo ewuwe e Laama, naye omwana n’afuuka omuweereza wa* Yakuwa+ mu maaso ga Eli kabona.
12 Naye batabani ba Eli baali bantu babi nnyo,+ era baali tebawa Yakuwa kitiibwa.
13 Kino kye baakolanga ku bikwata ku mugabo bakabona gwe baalinanga okufuna okuva eri abantu:+ Buli omuntu lwe yabanga awaayo ssaddaaka, omuweereza wa kabona yajjanga n’ekkabi ery’amannyo asatu ng’ennyama ekyafumbibwa,
14 n’afumita mu kibya, oba mu nsaka, oba mu ntamu ey’emikono ebiri, oba mu ntamu ey’omukono ogumu. Ekyo kyonna ekyajjiranga ku kkabi, kabona kye yatwalanga. Bwe batyo bwe baayisanga Abayisirayiri bonna abaagendanga e Siiro.
15 Ate era omuntu eyabanga awaayo ssaddaaka ne bwe yabanga tannayokya masavu,+ omuweereza wa kabona yajjanga n’amugamba nti: “Wa kabona ennyama ey’okwokya. Tajja kutwala nnyama nfumbe; ayagala mbisi yokka.”
16 Omuntu bwe yamugambanga nti: “Ka basooke bookye amasavu,+ olyoke otwale kyonna ky’oyagala,” ng’amuddamu nti: “Nedda, gimpe kati; bw’ogaana, nja kugitwala lwa mpaka!”
17 Bwe kityo ekibi ky’abaweereza abo ne kiba kya maanyi nnyo mu maaso ga Yakuwa,+ kubanga abasajja abo tebaawa kiweebwayo kya Yakuwa kitiibwa.
18 Samwiri yaweererezanga+ mu maaso ga Yakuwa ng’ayambadde* efodi eya kitaani,+ wadde nga yali mwana muto.
19 Ate era maama we yamutungiranga ekizibaawo ekitaliiko mikono n’akimutwaliranga buli mwaka ng’agenze ne bba okuwaayo ssaddaaka eya buli mwaka.+
20 Eli yawa Erukaana ne mukazi we omukisa era n’agamba nti: “Yakuwa k’akuwe omwana mu mukazi ono olw’omwana gwe yawa* Yakuwa.”+ Awo ne baddayo ewaabwe.
21 Yakuwa n’akwatirwa Kaana ekisa, Kaana n’aba ng’asobola okufuna embuto,+ era n’azaala abaana ab’obulenzi abalala basatu n’ab’obuwala babiri. Omwana Samwiri ne yeeyongera okukulira mu maaso ga Yakuwa.+
22 Eli yali akaddiye nnyo, naye yali awulidde ebyo byonna batabani be bye baakolanga+ Abayisirayiri bonna, era ne bwe beegattanga n’abakazi abaaweererezanga ku mulyango gwa weema ey’okusisinkaniramu.+
23 Yabagambanga nti: “Lwaki mukola ebintu ng’ebyo? Ebintu bye mpulira abantu bonna bye baboogerako bibi.
24 Nedda baana bange, ebyo bye mpulira, ebiboogerwako mu bantu ba Yakuwa si birungi.
25 Omuntu bw’akola munne ekibi, omuntu omulala ayinza okwegayirira Yakuwa ku lulwe;* naye omuntu bw’ayonoona mu maaso ga Yakuwa,+ ani ayinza okumusabira?” Naye tebaawuliriza kitaabwe, era Yakuwa yali amaliridde okubatta.+
26 Omwana Samwiri yeeyongera okukula era n’okuganja mu maaso ga Yakuwa n’eri abantu.+
27 Omusajja wa Katonda yagenda eri Eli n’amugamba nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Seeyoleka eri ab’ennyumba ya jjajjaawo bwe baali abaddu b’ennyumba ya Falaawo mu Misiri?+
28 Yalondebwa okuva mu bika byonna ebya Isirayiri+ okumpeerezanga nga kabona n’okugendanga ku kyoto kyange+ okuwaayo ssaddaaka, okunyookerezanga obubaani,* n’okwambalanga efodi mu maaso gange; ate era nnawa ennyumba ya jjajjaawo ebiweebwayo byonna eby’Abayisirayiri* ebyokebwa n’omuliro.+
29 Lwaki munyooma* ssaddaaka yange n’ekiweebwayo kyange kye nnalagira mu kifo kyange eky’okubeeramu?+ Lwaki owa batabani bo ekitiibwa okusinga nze ne mwekkusa nga mulya ebisinga obulungi ku biweebwayo byonna abantu bange Abayisirayiri bye bawaayo?+
30 “‘Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa Katonda wa Isirayiri agamba nti: “Weewaawo nnagamba nti ab’ennyumba yo n’ab’ennyumba ya jjajjaawo banampeerezanga bulijjo.”+ Naye kaakano Yakuwa agamba nti: “Ekyo kikafuuwe, kubanga abo abanzisaamu ekitiibwa be nja okuwa ekitiibwa,+ naye abo abannyooma bajja kunyoomebwa.”
31 Laba! Ennaku zijja lwe ndikuggyako obuyinza* era ne mbuggya ne ku nnyumba ya kitaawo, waleme kubaawo mu nnyumba yo musajja awangaala n’akaddiwa.+
32 Ate era ojja kulaba akuvuganya mu kifo kyange eky’okubeeramu ng’ebirungi bikolerwa Isirayiri;+ era mu nnyumba yo temuliddamu kubaamu musajja mukadde.
33 Waliwo omusajja, omu ku bantu bo, gwe nja okulekawo okuweerezanga ku kyoto kyange; ajja kukuleetera okuziba amaaso era ajja kukuleetera ennaku, naye abasinga obungi ku b’ennyumba yo bajja kuttibwa n’ekitala.+
34 Ekyo ekinaatuuka ku batabani bo ababiri, Kofuni ne Fenekaasi, kye kinaaba akabonero gy’oli: Bombi bajja kufa ku lunaku lumu.+
35 Awo nja kwerondera kabona omwesigwa.+ Ajja kukolanga ebyo omutima gwange bye gwagala; nja kumuzimbira ennyumba ey’olubeerera, era ajja kutambuliranga mu maaso g’oyo gwe nnaafukako amafuta.
36 Oyo yenna anaasigalawo ku b’omu nnyumba yo ajja kujja amuvunnamire olw’okwagala okusasulwa ssente n’okufuna omugaati, era ajja kugamba nti: “Nkwegayiridde, nfuula omu ku bakabona ndyenga ku mugaati.”’”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “awotose.”
^ Oba, “alamya.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “awasuulibwa kasasiro.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Abo abawakanya Yakuwa bajja kufuna entiisa.”
^ Oba, “yali aweereza.”
^ Obut., “nga yeesibye.”
^ Obut., “gwe yayazika.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Katonda ayinza okumuwolereza.”
^ Obut., “abaana ba Isirayiri.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “okunyookerezanga omukka gwa ssaddaaka.”
^ Obut., “musamba.”
^ Obut., “lwe nditema omukono gwo.”