1 Ebyomumirembe Ekisooka 23:1-32

  • Dawudi ateekateeka Abaleevi (1-32)

    • Alooni ne batabani be baawulibwawo (13)

23  Dawudi bwe yali akaddiye era ng’anaatera okufa,* yafuula Sulemaani mutabani we kabaka wa Isirayiri.+  N’akuŋŋaanya abaami bonna aba Isirayiri ne bakabona+ n’Abaleevi.+  Abaleevi ne babalibwa, okuva ku b’emyaka 30 n’okudda waggulu;+ era omuwendo gwabwe, nga babaliddwa omu ku omu, baali abasajja 38,000.  Ku abo, 24,000 be baalabiriranga omulimu gw’oku nnyumba ya Yakuwa, ate abaami n’abalamuzi baali 6,000;+  abakuumi b’oku miryango+ baali 4,000, n’abalala 4,000 baatenderezanga+ Yakuwa nga bakozesa ebivuga Dawudi bye yayogerako nti: “Mbikoze bikozesebwe mu kukuba ennyimba ez’okutendereza.”  Dawudi n’abateeka* mu bibinja+ ng’abaana ba Leevi bwe baali: Gerusoni, Kokasi, ne Merali.+  Abagerusoni baali Ladani ne Simeeyi.  Batabani ba Ladani be bano: Yekyeri omukulu, Zesamu, ne Yoweeri;+ baali basatu.  Batabani ba Simeeyi be bano: Seromosi, Kaziyeri, ne Kalani; baali basatu. Abo be baali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe eza Ladani. 10  Batabani ba Simeeyi be bano: Yakasi, Zina, Yewusi, ne Beriya. Abo abana be batabani ba Simeeyi. 11  Yakasi ye yali omukulu, Ziza n’amuddirira. Naye olw’okuba Yewusi ne Beriya tebaazaala baana bangi ba bulenzi, baatwalibwa ng’ennyumba emu ne baweebwa omulimu gumu. 12  Batabani ba Kokasi be bano: Amulaamu, Izukali,+ Kebbulooni, ne Wuziyeeri;+ baali bana. 13  Batabani ba Amulaamu be bano: Alooni+ ne Musa.+ Naye Alooni yayawulibwawo+ okutukuzanga Awasinga Obutukuvu, ye ne batabani be emirembe n’emirembe, okuwangayo ssaddaaka mu maaso ga Yakuwa, okumuweerezanga, n’okuwanga abantu emikisa mu linnya lye bulijjo.+ 14  Ate batabani ba Musa omusajja wa Katonda ow’amazima baabalirwa mu kika ky’Abaleevi. 15  Batabani ba Musa be bano: Gerusomu+ ne Eriyeza.+ 16  Ku batabani ba Gerusomu, Sebuweri+ ye yali omukulu. 17  Ku baana ba Eriyeza, Lekabiya+ ye yali omukulu; Eriyeza teyazaala baana ba bulenzi balala, naye batabani ba Lekabiya baali bangi nnyo. 18  Ku batabani ba Izukali,+ Seromisi+ ye yali omukulu. 19  Batabani ba Kebbulooni be bano: Yeriya omukulu, ow’okubiri Amaliya, ow’okusatu Yakaziyeeri, n’ow’okuna Yekameyamu.+ 20  Batabani ba Wuziyeeri+ be bano: Mikka omukulu, ow’okubiri Issiya. 21  Batabani ba Merali be bano: Makuli ne Musi.+ Batabani ba Makuli be bano: Eriyazaali ne Kiisi. 22  Kyokka Eriyazaali yafa nga talina baana ba bulenzi wabula ba buwala; bannyinaabwe batabani ba Kiisi ne babawasa. 23  Batabani ba Musi be bano: Makuli, Ederi, ne Yeremosi; baali basatu. 24  Abo be baali abaana ba Leevi ng’ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era be baali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe, abaabalibwa ne bawandiikibwa amannya gaabwe era abaakolanga emirimu gy’obuweereza bw’ennyumba ya Yakuwa; baali bava ku myaka 20 n’okudda waggulu. 25  Kubanga Dawudi yagamba nti: “Yakuwa Katonda wa Isirayiri awadde abantu be ekiwummulo,+ era anaabeeranga mu Yerusaalemi emirembe n’emirembe.+ 26  Era Abaleevi tebajja kusitulanga weema entukuvu oba ekintu kyayo kyonna ekikozesebwa mu kusinza.”+ 27  Okusinziira ku biragiro bya Dawudi ebyasembayo, Abaleevi okuva ku b’emyaka 20 n’okudda waggulu baabalibwa. 28  Omulimu gwabwe gwali gwa kuyambangako abaana ba Alooni+ mu buweereza bw’ennyumba ya Yakuwa, nga bavunaanyizibwa okulabirira oluggya+ n’ebisenge ebiriirwamu, okutukuza buli kintu ekitukuvu, n’okukola emirimu emirala gyonna egyetaagisa mu nnyumba ya Katonda ow’amazima. 29  Baayambanga okuteekateeka emigaati egipangibwa,*+ obuwunga obutaliimu mpulunguse obw’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, emigaati egy’oluwewere egitali mizimbulukuse,+ obugaati obufumbirwa ku kikalango, obuwunga obukande+ obutabuddwamu amafuta g’ezzeyituuni, n’ebipima obuzito era n’ebigera ebya buli kika. 30  Baalinga ba kuyimirira buli ku makya+ na buli kawungeezi okwebaza n’okutendereza Yakuwa.+ 31  Baayambangako buli ssaddaaka ezookebwa lwe zaaweebwangayo eri Yakuwa ku Ssabbiiti,+ ne ku kuboneka kw’omwezi,+ ne mu biseera by’embaga,+ okusinziira ku byawandiikibwa mu mateeka. Bwe batyo bwe baakolanga mu maaso ga Yakuwa obutayosa. 32  Ate era baatuukirizanga obuvunaanyizibwa bwe baalina ku weema ey’okusisinkaniramu, ku kifo ekitukuvu, n’eri baganda baabwe batabani ba Alooni mu buweereza bw’oku nnyumba ya Yakuwa.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ng’akaddiye era ng’ennaku zimujjudde.”
Oba, “n’abagabanya.”
Kwe kugamba, emigaati egy’okulaga.