1 Ebyomumirembe Ekisooka 2:1-55
2 Bano be baana ba Isirayiri:+ Lewubeeni,+ Simiyoni,+ Leevi,+ Yuda,+ Isakaali,+ Zebbulooni,+
2 Ddaani,+ Yusufu,+ Benyamini,+ Nafutaali,+ Gaadi+ ne Aseri.+
3 Bano be baana ba Yuda: Eli, Onani, ne Seera. Abasatu abo omukazi Omukanani+ muwala wa Suwa ye yabamuzaalira. Naye Eli mutabani wa Yuda omubereberye yali mubi mu maaso ga Yakuwa, era bw’atyo n’amutta.+
4 Tamali+ muka mwana we yamuzaalira Pereezi+ ne Zeera. Abaana ba Yuda bonna awamu baali bataano.
5 Abaana ba Pereezi be bano: Kezulooni ne Kamuli.+
6 Abaana ba Zeera be bano: Zimuli, Esani, Kemani, Kalukoli, ne Dala. Bonna awamu baali bataano.
7 Omwana* wa Kalumi yali Akali,* eyaleetera Isirayiri emitawaana,*+ bw’ataagondera kiragiro ekikwata ku bintu ebyali eby’okuzikirizibwa.+
8 Omwana* wa Esani yali Azaliya.
9 Abaana ba Kezulooni be bano: Yerameeri,+ Laamu,+ ne Kerubayi.*
10 Laamu yazaala Amminadaabu,+ Amminadaabu n’azaala Nakusoni+ omukulu w’ekika ky’abaana ba Yuda.
11 Nakusoni yazaala Saluma, ate Saluma+ n’azaala Bowaazi.+
12 Bowaazi yazaala Obedi, ate Obedi n’azaala Yese.+
13 Yese yazaala Eriyaabu, omwana we omubereberye, ow’okubiri Abinadaabu,+ ow’okusatu Simeeya,+
14 ow’okuna Nesaneeri, ow’okutaano Laddayi,
15 ow’omukaaga Ozemu, n’ow’omusanvu Dawudi.+
16 Bannyinaabwe be bano: Zeruyiya ne Abbigayiri;+ batabani ba Zeruyiya abasatu be bano: Abisaayi,+ Yowaabu,+ ne Asakeri.+
17 Abbigayiri yazaala Amasa; kitaawe wa Amasa+ yali ayitibwa Yeseri Omuyisimayiri.
18 Kalebu* mutabani wa Kezulooni yazaala abaana ab’obulenzi mu Azuba mukazi we ne mu Yeriyoosi; bano be baana ba Azuba: Yeseri, Sobabu, ne Aludoni.
19 Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi+ eyamuzaalira Kuli.+
20 Kuli yazaala Wuli, ate Wuli n’azaala Bezaleeri.+
21 Oluvannyuma Kezulooni yeegatta ne muwala wa Makiri+ kitaawe wa Gireyaadi.+ Kezulooni yalina emyaka 60 we yamuwasiza era yamuzaalira Segubi.
22 Segubi yazaala Yayiri+ eyalina ebibuga 23 mu kitundu ky’e Gireyaadi.+
23 Oluvannyuma abantu b’omu Gesuli+ n’ab’omu Busuuli+ baabaggyako Kavosu-yayiri+ ne Kenasi+ n’obubuga obwetooloddewo, ebibuga 60. Abo bonna be baava mu Makiri kitaawe wa Gireyaadi.
24 Oluvannyuma lwa Kezulooni+ okufiira mu Kalebu-efulaasa, Abiya mukazi we yamuzaalira Asukuli+ kitaawe wa Tekowa.+
25 Abaana ba Yerameeri omubereberye wa Kezulooni be bano: Laamu omubereberye, ne Buna ne Oleni ne Ozemu, ne Akiya.
26 Yerameeri yawasa omukazi omulala eyali ayitibwa Atala. Oyo ye yali nnyina wa Onamu.
27 Abaana ba Laamu omubereberye wa Yerameeri be bano: Maazi, Yamini, ne Ekeri.
28 Abaana ba Onamu be bano: Sammayi ne Yada. Abaana ba Sammayi be bano: Nadabu ne Abisuri.
29 Mukazi wa Abisuri yali ayitibwa Abikayiri, era yamuzaalira Abani ne Molidi.
30 Abaana ba Nadabu be bano: Seredi ne Appayimu. Naye Seredi yafa nga tazadde mwana.
31 Omwana* wa Appayimu yali Isi. Omwana* wa Isi yali Sesani, ate omwana* wa Sesani yali Alayi.
32 Abaana ba Yada muganda wa Sammayi be bano: Yeseri ne Yonasaani. Naye Yeseri yafa nga tazadde mwana.
33 Abaana ba Yonasaani be bano: Peresi ne Zaza. Abo be baava mu Yerameeri.
34 Sesani teyazaala mwana wa bulenzi wabula yazaala ba buwala bokka. Sesani yalina omuweereza we Omumisiri eyali ayitibwa Yaka.
35 Sesani yaddira muwala we n’amuwa Yaka omuweereza we amuwase, era omuwala n’amuzaalira Attayi.
36 Attayi yazaala Nasani, ate Nasani n’azaala Zabadi.
37 Zabadi yazaala Efulali, ate Efulali n’azaala Obedi.
38 Obedi yazaala Yeeku, ate Yeeku n’azaala Azaliya.
39 Azaliya yazaala Kerezi, ate Kerezi n’azaala Ereyaasa.
40 Ereyaasa yazaala Sisumaayi, ate Sisumaayi n’azaala Salumu.
41 Salumu yazaala Yekamiya, ate Yekamiya n’azaala Erisaama.
42 Abaana ba Kalebu*+ muganda wa Yerameeri be bano: Mesa omubereberye we eyazaala Zifu, n’abaana ba Malesa kitaawe wa Kebbulooni.
43 Abaana ba Kebbulooni be bano: Koola, Tappuwa, Lekemu, ne Seema.
44 Seema yazaala Lakamu kitaawe wa Yolukeyaamu, Lekemu n‘azaala Sammayi.
45 Sammayi yazaala Mawoni, ate Mawoni n’azaala Besu-zuli.+
46 Efa omuzaana wa Kalebu yazaala Kalani ne Moza ne Gazezi, Kalani n’azaala Gazezi.
47 Abaana ba Yadayi be bano: Legemu, Yosamu, Gesani, Pereti, Efa, ne Saafu.
48 Maaka omuzaana wa Kalebu yazaala Seberi ne Tirukaana.
49 Era yazaala ne Saafu kitaawe wa Madumanna+ ne Seva kitaawe wa Makubena, ne Gibeya.+ Muwala wa Kalebu+ yali ayitibwa Akusa.+
50 Abo be baava mu Kalebu.
Abaana ba Kuli+ omubereberye wa Efulaasa+ be bano: Sobali kitaawe wa Kiriyasu-yalimu,+
51 Saluma kitaawe wa Besirekemu,+ ne Kalefu kitaawe wa Besu-gaderi.
52 Abaana ba Sobali kitaawe wa Kiriyasu-yalimu be bano: Kalowe n’ekimu kya kubiri eky’Abamenukosi.
53 Empya za Kiriyasu-yalimu ze zino: Abayisuli,+ Abapusi, Abasumasi, n’Abamisulayi. Mu bano mwe mwasibuka Abazolasi+ n’Abesutawoli.+
54 Abaana ba Saluma be bano: Besirekemu,+ n’Abanetofa, ne Atulosu-besu-yowaabu, n’ekimu eky’okubiri eky’Abamanakasi, n’Abazooli.
55 Empya z’abawandiisi ababeera e Yabezi ze zino: Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Abo be Bakeeni+ abaava mu Kammasi kitaawe w’ab’ennyumba ya Lekabu.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ebizibu; okuboolebwa.”
^ Obut., “Abaana.”
^ Obut., “Abaana.”
^ Era ayitibwa Kalebu mu lunyiriri, 18, 19, 42.
^ Era ayitibwa Kerubayi mu lunyiriri 9.
^ Obut., “abaana.”
^ Obut., “Abaana.”
^ Obut., “Abaana.”
^ Era ayitibwa Kerubayi mu lunyiriri 9.