1 Ebyomumirembe Ekisooka 10:1-14

  • Sawulo ne batabani be battibwa (1-14)

10  Awo Abafirisuuti ne balwana ne Isirayiri; abasajja Abayisirayiri ne badduka Abafirisuuti, era bangi battirwa ku Lusozi Girubowa.+  Abafirisuuti ne basemberera Sawulo ne batabani be, era Abafirisuuti ne batta Yonasaani ne Abinadaabu ne Malukisuwa,+ batabani ba Sawulo.  Olutalo ne luzitoowerera nnyo Sawulo; abalasi b’obusaale ne bamulaba ne bamutuusaako ebisago.+  Sawulo n’agamba oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa nti: “Sowolayo ekitala kyo onfumite, abasajja abo abatali bakomole baleme kujja bantulugunye.”+ Naye oyo eyamusituliranga eby’okulwanyisa n’agaana kubanga yali atidde nnyo. Awo Sawulo n’akwata ekitala n’akigwako.+  Oyo eyasitulanga eby’okulwanyisa bya Sawulo bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye n’agwa ku kitala kye n’afa.  Bw’atyo Sawulo n’afa ne batabani be basatu, era n’ab’omu nnyumba ye bonna abaali naye.+  Abantu ba Isirayiri bonna abaali mu kiwonvu bwe baalaba ng’abalwanyi bonna badduse era nga Sawulo ne batabani be bafudde, ne bava mu bibuga byabwe ne badduka; Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.  Ku lunaku olwaddako, Abafirisuuti bwe baagenda okunyaga ebintu by’abo abaali battiddwa, ne basanga omulambo gwa Sawulo n’egya batabani be ku Lusozi Girubowa.+  Ne bamwambula ne bamutemako omutwe, ne batwala n’ebyambalo bye eby’olutalo,* era ne baweereza obubaka mu nsi y’Abafirisuuti yonna okutegeeza ebifaananyi byabwe+ n’abantu amawulire ago. 10  Ne bateeka ebyambalo bye eby’olutalo* mu nnyumba* ya katonda waabwe, era ne basiba omutwe gwe mu nnyumba ya Dagoni.+ 11  Abo bonna abaali babeera e Yabesi+ mu Gireyaadi bwe baawulira ebyo byonna Abafirisuuti bye baali bakoze Sawulo,+ 12  abalwanyi bonna ne basituka ne bagenda ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n’emirambo gya batabani be, ne bagitwala e Yabesi ne baziika amagumba gaabwe wansi w’omuti omunene mu Yabesi,+ era ne basiiba okumala ennaku musanvu. 13  Bw’atyo Sawulo n’afa olw’obutaba mwesigwa eri Yakuwa, kubanga teyagondera kigambo kya Yakuwa+ era yeebuuza ne ku mulubaale+ 14  mu kifo ky’okwebuuza ku Yakuwa. Katonda kyeyava amutta, obwakabaka n’abuwa Dawudi mutabani wa Yese.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “n’eby’okulwanyisa bye.”
Oba, “eby’okulwanyisa bye.”
Oba, “yeekaalu.”