EKIBUUZO 5
Bubaka Ki Obukulu Obuli mu Bayibuli?
“Nja kuteekawo obulabe wakati wo n’omukazi, ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde lye. Alikubetenta omutwe era naawe olimubetenta ekisinziiro.”
“Amawanga gonna ag’oku nsi galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lyo olw’okuba owulirizza eddoboozi lyange.”
“Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.”
“Mu kiseera kitono, Katonda agaba emirembe ajja kubetenta Sitaani wansi w’ebigere byammwe.”
“Ebintu byonna bwe birimala okussibwa wansi we, Omwana naye alyessa wansi w’Oyo eyassa ebintu byonna wansi we, Katonda alyoke abeere byonna eri buli omu.”
“Ebisuubizo byategeezebwa Ibulayimu ne muzzukulu we . . . , nga ye Kristo. Ate era, bwe kiba nti muli ba Kristo, ddala muli zzadde lya Ibulayimu.”
“Obwakabaka bw’ensi bufuuse Bwakabaka bwa Mukama waffe era bwa Kristo we, era ajja kufuga nga kabaka emirembe n’emirembe.”
“Ogusota ogunene, omusota ogw’edda oguyitibwa Omulyolyomi era Sitaani, alimbalimba ensi yonna, ne gusuulibwa ku nsi ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo.”
“N’akwata ogusota, omusota ogw’edda, Omulyolyomi era Sitaani, n’amusiba okumala emyaka 1,000.”